LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 10/15 lup. 32
  • Olina Ekiseera mw’Osomera Baibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Olina Ekiseera mw’Osomera Baibuli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • Enteekateeka Eganyula Amaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Kikulu Nnyo Okwesomesa Baibuli n’Okugisomera Awamu ng’Amaka!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Enteekateeka y’Amaka—Okusoma kw’Amaka
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Amaka Amakristaayo—“Mubeere Beeteefuteefu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 10/15 lup. 32

Olina Ekiseera mw’Osomera Baibuli?

OMWAKA oguwedde Akakiiko Akafuzi kaalangirira enkyukakyuka mu nkuŋŋaana z’ekibiina, tusobole okufuna obudde obw’okusomera awamu Baibuli ng’amaka. Bw’oba oli mutwe gw’amaka, kakasa nti osoma Baibuli ne mukyala wo awamu n’abaana bammwe obutayosa. Bwe muba bafumbo naye nga temulina baana, mukozese ekiseera ekyo okusomera awamu Baibuli. Baganda baffe ne bannyinaffe abali obwannamunigina nabo basobola okukozesa ekiseera kino okusoma Baibuli.

Bangi balaze okusiima olw’enteekateeka y’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka. Ng’ekyokulabirako, Kevin, aweereza ng’omukadde mu kibiina, yawandiika nti: “Okubagamba obugambi nti ‘mwebale nnyo’ tekimala kulaga kusiima kwaffe ng’ekibiina. Ng’abakadde, twatuula ne tulaba engeri gye tuyinza okukozesaamu akawungeezi ako ng’Akakiiko Akafuzi bwe kaakubiriza​—okusomera awamu ng’amaka.”

Jodi alina bba aweereza ng’omukadde yawandiika nti: “Tulina bawala baffe basatu, ng’asooka wa myaka 15, omulala wa 11, n’asembayo wa 2. Emabegako twakyusa ne tudda mu kibiina ky’olulimi lwa bakiggala. Bwe kityo, okuteekateeka enkuŋŋaana zonna kitwetaagisa okufuba ennyo era kitutwalira ebiseera bingi. Naye kati enkyukakyuka eno etuyambye okuba n’akawungeezi ak’okusinzizaamu ng’amaka!”

John ne mukyala we JoAnn abaweereza nga bapayoniya aba bulijjo baawandiika nti: “Okusoma Baibuli ng’amaka tubadde tukikola lumu na lumu olw’emirimu gy’ekibiina egitali gimu gye tulina okukola. Enteekateeka eno empya Yakuwa yagituwa nga kirabo okutunyweza mu by’omwoyo​—singa tunaaba tugikozesezza bulungi.”

Tony, ow’oluganda ali obwannamunigina era atemera mu myaka 20, yasalawo okwesomesanga buli Lwakubiri akawungeezi. Akozesa ebiseera ebirala okuteekateeka ebisomebwa mu nkuŋŋaana. Kyokka Tony agamba nti, “Olw’okubiri ndwesunga nnyo kubanga akawungeezi ako kaba kaseera kange ne Yakuwa ak’enjawulo.” Tony annyonnyola nti: “Okumala essaawa nga bbiri, nsoma ebintu ebinyweza enkolagana yange ne Yakuwa. Okuba n’ebiseera ebimala kinnyamba okufumiitiriza obulungi ku byawandiikibwa bye nsoma.” Kiki ekivuddemu? “Kati okubuulirira kwa Yakuwa kuntuukira ddala ku mutima okusinga bwe kyali.” Ng’awa ekyokulabirako, agamba nti: “Bwe nnasoma ku mukwano gwa Dawudi ne Yonasaani mu kitabo Insight, nnayiga nti Yonasaani yali muntu ateerowoozaako yekka. Ekyo kyannyamba okulaba engeri y’okulagamu omukwano ogwa namaddala. Mu butuufu nneesunga nnyo okuyiga ebintu ebirala eby’omuwendo ng’ebyo buli Lwakubiri akawungeezi!”

Awatali kubuusabuusa, abaweereza ba Yakuwa bonna bajja kuganyulwa nnyo mu kukozesa ekiseera ekyo okusoma Baibuli n’okusinziza awamu ng’amaka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share