Kikulu Nnyo Okwesomesa Baibuli n’Okugisomera Awamu ng’Amaka!
1. Akakiiko Akafuzi kalaga katya nti katufaako nnyo mu kiseera kino, era lwaki?
1 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, Akakiiko Akafuzi kafaayo nnyo ku mbeera y’abantu ba Yakuwa. (Bik. 15:6, 28) Ng’ekibonyoobonyo ekinene kigenda kisembera, kikulu nnyo buli mubuulizi w’Obwakabaka okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Onookozesa otya ebiseera ebibadde eby’Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina? Ffenna tukubirizibwa okukozesa ebiseera bino mu kusinza kw’amaka. Bwe tunaakozesa obulungi ebiseera bino, kijja kutusobozesa okweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa era n’okukiganyulwamu.—Zab. 1:1-3; Bar. 11:33, 34.
2. Okusinza kwaffe okw’amaka kuyinza kutegekebwa kutya?
2 Ekiseera eky’Okusinza kw’Amaka: Emitwe gy’amaka bakubirizibwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Yakuwa nga bassaawo enteekateeka ennungi ey’okusoma Baibuli okw’amaka. (Ma. 6:6, 7) Baganda baffe ne bannyinaffe abali obwannamunigina era nga tebalina buvunaanyizibwa bw’amaka, bajja kusobola okukozesa ebiseera ebyo okwesomesa Baibuli n’okunoonyereza. Kikulu nnyo ffenna ‘okwegulira ebiseera’ eby’okwesomesa n’okufumiitiriza kitusobozese okuba abanywevu mu by’omwoyo wadde nga tuli mu ‘nnaku zino embi.’—Bef. 5:15, 16.
3, 4. Bintu ki ebiyinza okukozesebwa mu kusoma okw’amaka, era kiki kye tusaanidde okussaako ennyo essira?
3 Ebiyinza Okusomebwa: Ekitabo ekiyitibwa Watch Tower Publications Index oba Watchtower Library eri ku CD-ROM bisobola okukuyamba okuzuula ebyo ebinaasobozesa okusoma kw’amaka okuba okunyuvu. Amaka gayinza okwekenneenya ebitundu ebiri mu Watchtower, gamba nga “Engeri y’Okufunamu Essanyu mu Maka,” “Yigiriza Abaana Bo,” ne “Eri Abavubuka Baffe,” ebitera okufulumira mu magazini eyo. Ate era, ne mu Awake! mubaamu ekitundu ekirina omutwe “Abavubuka Babuuza” awamu n’ebitundu ebirala ebisikiriza ebikwata ku bitonde.
4 Bwe muneekenneenya Baibuli nga muli wamu ng’amaka, buli omu ajja kusobola okutegeera obulungi emisingi gya Baibuli era n’okugiteeka mu nkola. (Beb. 4:12) Ebiseera ebimu muyinza okulaba emu ku vidiyo ezaafulumizibwa ekibiina kya Yakuwa era ne muzikubaganyaako ebirowoozo. Kijja kukwetaagisa okulonda obulungi ebyo bye munaasoma era n’okusalawo ku ngeri gye munaabisomamu. Kyandibadde kirungi n’obuuza ab’omu maka go ekyo kye bandyagadde okusoma?
5. Lwaki kikulu nnyo gye tuli leero okwesomesa Baibuli era n’okugisomera awamu ng’amaka?
5 Ensonga Lwaki Kikulu Nnyo Kati: Okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa kijja kutuyamba ‘okuyimirira obutengerera tulabe obulokozi bwa Yakuwa.’ (Kuv. 14:13, NW) Abazadde beetaaga obulagirizi bwa Katonda okusobola okukuza abaana baabwe ‘mu mulembe guno ogwakyama.’ (Baf. 2:15) Abaana beetaaga okuyambibwa basobole okwaŋŋanga empisa ezeeyongedde okwonooneka mu masomero. (Nge. 22:3, 6) Kiba kirungi abafumbo ne banyweza obufumbo bwabwe ‘obw’emiyondo esatu’ obulimu Yakuwa. (Mub. 4:12) N’olwekyo, ka tukozese bulungi ekiseera ekisigaddeyo tusobole okwezimbira ku ‘kukkiriza kwaffe okutukuvu ennyo’!—Yuda 20.