Eri Abavubuka Baffe
Siima Ebintu Ebitukuvu!
Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Ba ng’alaba ebigenda mu maaso. Wuliriza amaloboozi. Weeteeke mu bigere by’abo aboogerwako. By’osoma bitwale ng’ebiriwo kati.
Abasinga okwogerwako: Isaaka, Lebbeeka, Yakobo, ne Esawu
Mu bufunze: Esawu aguza muganda we Yakobo, obusika bwe.
1 WEKKAANYE EBYALIWO.—SOMA OLUBEREBERYE 25:20-34.
Yakobo ne Esawu baayoleka ngeri ki ne bwe baali bakyali mu lubuto lwa nnyaabwe?
․․․․․
Bw’okuba akafaananyi, olowooza Yakobo ne Esawu baali bafaanana batya nga bakyali bavubuka?
․․․․․
Yakobo ne Esawu booleka nneewulira ki nga banyumya, okusinziira ku lunyiriri 30 okutuuka 33?
․․․․․
NOONYEREZA.
Ng’okozesa ebitabo by’olina ebiyinza okukuyamba okunoonyereza, noonyereza ebikwata ku busika bw’omwana omulenzi omubereberye. Lwaki obusika buno bwali bukulu nnyo? Okutunda obusika buno olw’omugoyo kyali kiraga ki?
․․․․․
2 WEKKAANYE EBYALIWO.—SOMA OLUBEREBERYE 27:1-10, 30-38.
Olowooza eddoboozi lya Esawu lyali lyoleka nneewulira ki oluvannyuma lw’okukitegeera nti muganda we yali afunye omukisa ogw’omwana omubereberye?
․․․․․
NOONYEREZA.
Kyali kikyamu Lebbeeka ne Yakobo okusala amagezi okulaba nti Yakobo y’afuna omukisa? Lwaki kyali kikyamu oba lwaki tekyali kikyamu? (Olubereberye 25:23, 33.)
․․․․․
SSA MU NKOLA BY’OYIZE. WANDIIKA BY’OYIZE EBIKWATA KU . . .
Bizibu ebiva mu kwagala obwagazi okwekkusa mu kaseera ako kokka naye nga tolowoozezza ku ebyo ebiyinza okuvaamu mu biseera eby’omu maaso.
․․․․․
EBIRALA BY’ONOSSA MU NKOLA
Bintu ki ebitukuvu ebikuweereddwa?
․․․․․
Biki by’oyinza okukola okulaga nti osiima ebintu ebitukuvu? ․․․․․
MU EBYO BY’OSOMYE KIKI EKISINZE OKUKUGANYULA, ERA LWAKI?
․․․․․
bw’oba tolina Bayibuli, gisomere ku mukutu www.watchtower.org