Apuli—Ekiseera eky’Okunyiikirira Ebikolwa Ebirungi!
1 Embuyaga ey’amaanyi bw’esemberera ekifo omuli abantu, obwetaavu bw’okulabula abantu ku kabi akabindabinda bweyongera. Embuyaga eyo gy’ekoma okweyongera okusembera, okulabula gye kukoma okubeera okw’amaanyi. Lwaki? Olw’okuba obulamu bw’abantu buba mu kabi! Abantu abamu bayinza okuba tebaawulira kulabula okwasooka. Abalala bayinza okuba baakuwulira naye ne batabaako kye bakolawo. Kye kimu eri okulabula okuva eri Katonda kwe twagambibwa okuwa nga ‘embuyaga’ y’obusungu bwa Katonda obw’obutuukirivu tennazikiriza nsi yonna eno embi. (Nge. 10:25, NW) Obulamu bw’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu buli mu kabi! Okulabula kuteekwa okuweebwa. Tuteekwa ‘okunyiikirira ebikolwa ebirungi.’—Tito 2:11-14.
2 Okumala amakumi g’emyaka, abantu ba Yakuwa bakubiriziddwa okufuula ekiseera ky’Ekijjukizo ekiseera eky’okuba abanyiikivu mu buweereza mu ngeri ey’enjawulo. Mu ttoggo w’omu 1939, akatabo Informant, akaddirirwa Our Kingdom Ministry, kaakubiriza bwe kati: “Nga ttoggo asembera, era nga bujja kuba budde obulungi, twandisuubidde ababuulizi [mu kibiina] okukubisaamu emirundi ebiri essaawa ze bawaayo mu nnimiro, era n’essaawa za bapayoniya okweyongera ennyo. Apuli mwezi ogulimu Ssande taano. Era gulimu n’ennaku z’Olw’Omukaaga ttaano. Fuula buli Lwamukaaga ne Ssande mu Apuli . . . ekiseera eky’enjawulo eky’okuwa obujulirwa.” Ng’ekyo kyali kiruubirirwa ekisoomooza ekyateekerwawo ab’oluganda emyaka 60 egiyiseewo! Omwaka guno, nga bwe kyali mu 1939, omwezi gwa Apuli gulimu wiikendi ttaano. Olina nteekateeka ki omwezi guno? Biki by’olambye ku kalenda yo by’onookola mu Apuli 2000? Teekateeka okwenyigira mu bikolwa ebirungi awamu n’abantu ba Yakuwa bonna mu mwezi guno ogw’enjawulo omuli emirimu egy’eby’omwoyo emingi.
3 Kye Tusuubira Okutuukiriza: Olunaku olusingayo obukulu mu mwaka 2000 luli mu mwezi guno. Olunaku olwo lwe lwa Apuli 19, olunajjuukirirwako okufa kwa Yesu. Tufube mu ngeri ey’enjawulo okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka ku Kijjukizo. Nga bwe twaweebwa amagezi omwezi ogwayita, kola olukalala lw’abo abayinza okujja ku Kijjukizo era laba nti tewali n’omu abuusibwa amaaso. Abo abayitibwa mwandibaddemu abo abatakyabuulira, abayizi ba Baibuli, be tuddiŋŋana, abaayigako naffe, be tukola nabo, be tusoma nabo, baliraanwa, ab’eŋŋanda n’abamanyi abalala. Abo abaagala okujja balina entambula? Bwe baba tebalina, oyinza okubayambako? Mu kiro ky’Ekijjukizo, ffenna tujja kubeera n’enkizo ey’okwaniriza abanaabaawo. Oluvannyuma lw’Ekijjukizo, tuyinza okweyongera okuwa obuyambi bw’eby’omwoyo abo ababaddewo.
4 ‘Okunyiikirira ebikolwa ebirungi’ ng’Ekijjukizo kinaatera okutuuka era n’oluvannyuma lwakyo, ngeri nnungi ey’okulaga Yakuwa nti ddala tusiima byonna by’atukoledde. Bangi ku ffe tujja kusobola okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Bw’oba oweereza nga payoniya omuwagizi, ojja kufuba nnyo okuwaayo essaawa 50 oba n’okusingawo mu buweereza. (Mat. 5:37) Nywerera ku nteekateeka gye wakola ku ntandikwa y’omwezi. (Mub. 3:1; 1 Kol. 14:40) Abalala ffenna ka tukole kyonna kye tusobola okuwagira bapayoniya bonna, nga tubazzaamu amaanyi era nga tukola nabo mu nnimiro. (Geraageranya 2 Bassekabaka 10:15, 16.) Singa tunyiikira okusiga mu Apuli, tuyinza okusuubira okufuna essanyu lingi era n’emikisa okuva eri Yakuwa. (Mal. 3:10) Oboolyawo kino kye kinaatusobozesa okuweereza nga payoniya omuwagizi awatali kusirisaamu oba okuweereza nga payoniya ow’enkalakkalira. Obunyiikivu bwe twoleka mu Apuli tubwoleke ne mu myezi egiddirira nga tweyongera okuweereza ng’ababuulizi b’Obwakakaba obutayosa.
5 Awatali kubuusabuusa, enkumi n’enkumi z’abantu ba Yakuwa bajja kufuna be bayigiriza Baibuli awaka abasingawo omwezi guno. Wandyagadde okufuna gw’oyigiriza? Saba okufuna gw’oyigiriza, era kolera ku ebyo by’osaba. Oyinza okubeera omukakafu nti Yakuwa ajja kusiima okusaba kwo okw’okufuna omuntu ow’omutima omwesigwa ow’okuyigiriza.—1 Yok. 3:22.
6 Eno wammanga ye nnyanjula egezeseddwa mu nnimiro era ebadde ey’omuganyulo mu kutandika emboozi. Otandika ng’obuuza: “Olowooza ettemu lyonna mu masomero liva ku bikolwa bya balubaale, oba liva ku bazadde okulemererwa okutendeka abaana baabwe?” Muleke abeeko ky’addamu. Singa omuntu addamu nti “bikolwa bya balubaale,” soma Okubikkulirwa 12:9, 12, era yogera ku kifo Omulyolyomi ky’alina mu kuleetawo akavuyo mu nsi. Oluvannyuma lw’ekyo, bikkula essomo 4 mu brocuwa Atwetaagisa, era mubuuze obanga yali yeebuuzizzaako Omulyolyomi gye yava. Ddako osome obutundu obubiri obusooka era mubukubaganyeko ebirowoozo. Singa omuntu agamba nti “bazadde okulemererwa okutendeka abaana baabwe” kye kiviiriddeko ettemu mu masomero, soma 2 Timoseewo 3:1-3 era yogera ku bintu ebiviirako ekizibu kino. Olwo nno bikkula brocuwa Atwetaagisa mu ssomo 8, osome akatundu 5, era mweyongere okukubaganya ebirowoozo. Singa okola enteekateeka okuddayo, oyinza n’okwesanga ng’otandise okumuyigiriza Baibuli obutayosa. Ng’ozzeeyo okumukyalira, mubuuze obanga alina gw’amanyi omulala eyandisanyukidde okuwulira ebyo by’ayiga.
7 Engeri endala ‘ey’okunyiikirira ebikolwa ebirungi’ mu Apuli kwe kwenyigira mu ngeri ez’enjawulo ez’okubuulira. Olowoozezzaako ku kuwa obujulirwa mu ppaaka oba emmotoka we zisimba? Mu kifo bbaasi oba eggaali z’omukka we zisimba? Oba wandyagadde okuwa obujulirwa ku ssimu, ku nguudo, oba mu bifo ekolerwa bizineesi? By’olowoozezza lwaki tobiteeka mu nkola omwezi guno? Yakuwa ajja kukuyamba okufuna obuvumu bwe weetaaga. (Bik. 4:31; 1 Bas. 2:2b) Oboolyawo oyinza okukola enteekateeka okukola ne payoniya oba omubuulizi alina obumanyirivu mu ngeri zino ez’okubuulira.
8 Omuntu yenna ayagala okukola ekisingawo mu mulimu gw’okuwa obujulirwa ajja kwenyigira mu kuwa obujulirwa embagirawo. Emirundi mingi ekyetaagisa kyokka kwe kutandika emboozi n’omuntu mu ngeri ey’omukwano. Yogera ku kintu ekisikiriza, oboolyawo ng’okozesa ennyanjula eyayogeddwako mu katundu 6. Fuba okukozesa n’ebiseera ebitono by’oba nabyo. Tetusuula siringi 5, 10 oba 50 olw’okuba ntono. Lwaki tokozesa bulungi eddakiika ettaano, eddakiika ekkumi, oba eddakiika ekkumi n’ettaano okuwa obujulirwa embagirawo?
9 Ekiseera eky’Okufumiitiriza: Lowooza ku nsonga enkulu ezaali mu muzannyo mu Lukuŋŋaana lwa District Olwa “Ekigambo kya Katonda eky’Obunnabbi” omwaka ogwayita. Omuzannyo, ogwalina omutwe Okusiima Obusika Bwaffe obw’Eby’omwoyo, gwatuleetera okulowooza ku njawulo eyaliwo wakati wa Yakobo ne Esawu. Esawu yagamba nti okufaananako Yakobo yali ayagala ebintu eby’eby’omwoyo, naye ebikolwa bya Esawu tebyakiraga. (Lub. 25:29-34) Nga kulabula kwa maanyi nnyo gye tuli! Okufaananako Yakobo, tubeere beetegefu okufuba, n’okumeggana, okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa. (Lub. 32:24-29) Lwaki tetukozesa Apuli n’emyezi egiddako okuzza obuggya obunyiikivu bwaffe, nga tetulagajjalira busika bwaffe obw’eby’omwoyo?
10 “Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.” (Zef. 1:14) Amawulire amalungi ag’Obwakabaka gateekwa okubuulirwa. Obulamu bw’abantu buli mu kabi! Omwezi guno ka gubeere gwa ssanyu eri abantu ba Yakuwa bonna nga ffenna wamu tulaga nti ‘tunyiikirira ebikolwa ebirungi.’
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Okwejjukanya Okukwata ku Kijjukizo
Ekijjukizo ky’omwaka guno kijja kubaawo ku Lw’Okusatu, nga Apuli 19. Abakadde bandifuddeyo nnyo ku nsonga zino wammanga:
◼ Mu kuteekateeka ekiseera ky’olukuŋŋaana, mukakase nti obubonero tebuyisibwa okutuusa ng’enjuba egudde.
◼ Bonna, nga mw’otwalidde n’omwogezi, basaanidde okutegeezebwa ekiseera kyennyini n’ekifo awanaabeera omukolo.
◼ Omugaati n’enviinyo ebisaanira byandifuniddwa era ne bitegekebwa.—Laba Watchtower aka Febwali 5, 1985 olupapula 19.
◼ Amasowaani, amagiraasi, emmeeza esaanira n’ekitambaala ekibikkako byandireeteddwa mu kifo awanaabeera omukolo nga bukyali.
◼ Kingdom Hall oba ekifo ekirala kyonna
omunaabeera olukuŋŋaana byandiyonjeddwa bulungi nga bukyali.
◼ Abaaniriza n’abayisa obubonero bandirondeddwa nga bukyali era ne bategeezebwa emirimu gyabwe n’enkola esaanira.
◼ Enteekateeka zandikoleddwa okutwalira obubonero abaafukibwako amafuta abateesobola abataasobole kubaawo.
◼ Ebibiina ebisukka mu kimu bwe biba eby’okukozesa Kingdom Hall, wandibaddewo enteekateeka ennungi mu bibiina waleme kubaawo mujjuzo mu miryango n’emmotoka we zisimba.