Bategekeddwa ‘Bulungi’
1 Olukuŋŋaana lwa district okubeera olulungi, bonna bateekwa okukolera awamu. Abakubiriza olukuŋŋaana olunene bakola enteekateeka ez’okufuna ekifo ekirungi we lunaabeera era n’aw’okusula. Abantu kinnoomu era ng’amaka bakola enteekateeka zaabwe ez’eby’entambula n’aw’okusula. Era ebibiina bikolaganira wamu okufuna abantu abanaakola mu bitongole ebitali bimu ebyetaagisa mu lukuŋŋaana olunene. Ekiruubirirwa kiba ‘okukola ebintu byonna obulungi era mu ngeri entegeke.’—1 Kol. 14:40.
2 Nga mukolaganira wamu n’abo abavunaanyizibwa ku kukola enteekateeka ez’olukuŋŋaana olunene, mujjukire nti kitwala emyezi egiwerako, oluusi myaka, okukola enteekateeka ezo. Ebikumi n’ebikumi by’ab’oluganda bawaayo ebiseera bingi okusobola okukola enteekateeka ezo. Kino kitwaliramu okupangisa ebifo olukuŋŋaana we lunaabeera, okukuŋŋaanya ebintu eby’okukozesa, era n’okufuna abanaakola emirimu egy’enjawulo. Okuteekateeka bino nga bukyali kuviiramu bonna emiganyulo egy’eby’omwoyo. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba?
3 Goberera Enteekateeka z’Eby’Ensula: Kikulu nnyo ffenna okugoberera enteekateeka z’olukuŋŋaana olunene. Kino kikulu nnyo nnaddala nga tukola enteekateeka ez’aw’okusula. Ebifo bingi nnyo eby’okusulamu biba byetaagisa mu buli lukuŋŋaana olunene. Baganda baffe abasinga obungi tebalina ssente zimala, bwe kityo kibeetaagisa okufuna ebifo eby’okusulamu ebitali bya ssente nnyingi. Wabaddewo okufuba okw’amaanyi okufuna ebifo eby’emiwendo emirungi. Mu ngeri y’okwagala, tuteekwa okufaayo ku bwetaavu bw’abalala ‘nga tetutunuulira buli muntu ebibye yekka, naye buli muntu n’eby’abalala.’—Baf. 2:4.
4 Bwe tugoberera obulungi obulagirizi bw’olukuŋŋaana olunene obukwata ku kufuna aw’okusula, kiviiramu bonna be kikwatako emiganyulo. Okubuusa amaaso obulagirizi obwo, kivaamu ebizibu ebitandibaddewo. Mu ngeri ki? Bwe tugoberera obulagirizi obwo, abo abavunaanyizibwa ku kukola enteekateeka z’aw’okusula, basobola okumanya nga bukyali omuwendo gw’ebisenge bye balina okufuna era n’abagenyi be basuubira. Kino kibayamba mu kukola enteekateeka era kivaamu enkolagana ennungi mu biseera eby’omu maaso.
5 Lowooza ku Birungi Bino Ebyavaamu: Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lumu olunene, omukulu w’essomero yagamba: “Nkirabye nti Abajulirwa ba Yakuwa beesigwa nnyo mu byonna bye bakola. Nga bali mu ssomero lyange, tebaaleetawo kizibu kyonna. Okwawukana ku ekyo, beeyisa bulungi nnyo era tewali kintu kyonna kyayonoonebwa. Abaana baabwe baali tebamala gaddukira buli wantu wonna. Ndi musanyufu okuba nabo nate mu ssomero lino.” Nga kyandibadde kirungi singa bonna be tupangisaako ebifo batwogerako bulungi bwe batyo! Nga kyandiwadde obujulirwa bwa maanyi nnyo!
6 Omukulu wa wooteeri omu lumu yagamba: “Sijjukira nga nnali mbaddeko wano n’abantu abangi bwe batyo abateeka mu nkola enzikiriza zaabwe ng’Abajulirwa ba Yakuwa. Tusuubira nti mujja kudda.” Ebigambo ebyo biraga nti empisa ennungi tezisanyusa ffe ffekka wabula zisanyusa n’abalala bangi mu nsi abatulaba.
7 Engeri Gye Tuyinza Okukolaganira Awamu: Waliwo ebintu ebyangu bye tusobola okukola, okusobola okukolaganira awamu n’ab’oluganda abakola ku nteekateeka z’aw’okusula mu lukuŋŋaana olunene, singa tuteekateeka okusula mu wooteeri. (1) Tosaba kukukuumira bisenge bingi mu wooteeri nga byonna tojja kubikozesa. (2) Weereza ssente ezimala ez’okukukuumira ekisenge, okuyitira mu Kitongole Ekikola ku by’Ensula mu lukuŋŋaana olunene lw’oyagala okubeeramu. (3) Tokozesa bubi bintu bya mu wooteeri. (4) Jjukira nti bannannyini wooteeri batusuubira okugoberera obulagirizi bwabwe.
8 Ng’abaweereza ba Yakuwa Katonda, tulina omukisa okwolesa engeri ze mu byonna bye tukola. Kino kitwaliramu okukola enteekateeka n’okubaawo mu nkuŋŋaana ennene ezikwata ku linnya lya Katonda. Jjukira nti, ‘si Katonda wa kuyoogaana, naye wa mirembe.’ (1 Kol. 14:33) N’olwekyo, ka ffenna tubeere bamalirivu okulaga abatulaba engeri eno eya Yakuwa mu ngeri gye tweyisaamu nga tuteekateeka okubaawo mu Lukuŋŋaana lwa District olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda.” Abantu ab’emitima emyesigwa abatulaba ka bakitegeere nti abantu ba Yakuwa abakuŋŋaanye baba bategekeddwa ‘bulungi.’—Zab. 68:26.