“Ndi Munywevu Ddala!”
1 Ebigambo ebyo eby’Omukristaayo omwesigwa eyasimattuka okutta okw’ekikungo bitujjukiza obumalirivu bw’enkumi n’enkumi z’Abajulirwa ba Yakuwa abakyali abalamu era n’abafu abaanywerera ku nzikiriza zaabwe wadde nga baayisibwa mu ngeri ey’obukambwe mu bufuzi bwa Hitler. (Baf.6:11, 13) Ebyafaayo byabwe ebiwuniikiriza ebikwata ku buvumu n’obuzira bye baalina byogerwako mu vidiyo Jehovah’s Witnesses Stand Firm Against Nazi Assault (Abajulirwa ba Yakuwa Basigala nga Banywevu Wansi w’Obufuzi bwa Hitler). Bonna abali mu kibiina bakubirizibwa okugiraba era bagikubaganyeko ebirowoozo.
2 Ka ebibuuzo bino bikuleetere okulowooza: (1) Nsonga ki ezaaleetera Abajulirwa ba Yakuwa okusigala nga banywevu wansi w’obufuzi bwa Hitler? (2a) Ndowooza ki ezikontana ezaaliwo ezaali zikwata ku kulamusa, era lwaki? (2b) Ekyo kyayisa kitya ab’omu maka g’Abajulirwa? (3) Bajulirwa bameka abaatwalibwa mu nkambi z’abasibe, baamanyibwanga batya, era abaserikale baabayisa batya? (4) Kiki baganda baffe kye baagaana okukola bafune eddembe? (5a) Mu ngeri ki era ddi Abajulirwa ba Yakuwa lwe baayogera n’obuvumu ku bikolobero ebyakolebwanga mu bufuzi bwa Hitler? (5b) Hitler yakola ki? (6) Obunywevu bw’abantu ba Yakuwa bwawonya butya obulamu bwabwe n’obw’abalala mu by’omubiri ne mu by’omwoyo? (7) Luyimba ki olw’Obwakabaka olwawandiikibwa nga bali mu nkambi z’abasibe? (8) Byakulabirako ki eby’abasajja, abakazi n’abavubuka abeesigwa ebikuleetera okukuuma obugolokofu bwo eri Yakuwa ka kibe ki oba ki? (Laba akatabo 1999 Yearbook, empapula 144-7.) (9) Ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, vidiyo eno ekuleetera kuwulira otya ku bikwata ku butaba kitundu kya nsi?
3 Ekyokulabirako ekirungi eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiragibwa mu vidiyo Stand Firm kiyinza okuyamba abavubuka, wadde n’abo abatali Bajulirwa, okwaŋŋanga ensonga enkulu gamba ng’ezikwata ku busosoze, okupikirizibwa, n’omuntu ow’omunda. Bw’oba ng’oli muvubuka ali mu ssomero lya sekendule oba mu ttendekero erya waggulu, abasomesa bo oyinza okubawa omukisa okukozesa vidiyo eno mu kibiina? Oboolyawo oyinza okubawa vidiyo eyo bw’eba nga weeri era n’obategeeza nti erimu ebyafaayo ebitamanyiddwa nnyo oba eby’okuyiga ebikwata ku mpisa.
4 Vidiyo Stand Firm, kya kukozesa kirungi nnyo ekiraga engeri okuyigiriza kwa Katonda gye kutunywezaamu mu by’omwoyo era ne kutuleetera okusanyusa Katonda nga tunywerera ku kituufu. (1 Kol. 16:13) Mugirabire wamu n’abo bonna abaagala amazima.