Kye Tulina Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okit. 15
“Kiki ekyandyetaagisizza okufuula ensi ekifo ekisingawo obulungi era ekisanyusa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Omuntu agezezzaako okulongoosa embeera y’ebintu ng’akozesa buli kika kya gavumenti. Naye weetegereze Katonda ky’ayogera ku nsonga eyo. [Soma Yeremiya 10:23.] Ekitundu kino kiraga ‘Ekinaaleeta Essanyu mu Nsi,’ era kiraga engeri kino bwe kiri okumpi okubaawo.”
Awake! Okit. 22
“Okikkiriza nti abantu leero balabika nga balina ebizibu bingi nnyo okusinga bwe kyali kibadde? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli yalagula ku nsonga eyo. [Soma 2 Timoseewo 3:1.] Abantu bangi bazibuwalirwa nnyo mu bulamu ne batuuka n’okulekulira. Magazini eno ezzaamu amaanyi. Eraga engeri y’okwolekaganamu n’embeera emalamu essuubi era n’okufuna amakulu mu bulamu.”
The Watchtower Nov. 1
Oluvannyuma lw’okwogera ku mawulire agatali malungi, buuza ekibuuzo: “Lwaki abantu bakola ebintu ebibi ng’ebyo? Ffenna twandibadde tumanya ekirungi n’ekibi. Naye lwaki abantu bakyakola ebintu ebibi? [Ng’amaze okubaako ky’addamu, soma Okubikkulirwa 12:9.] Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okwewalamu ebizibu nga tukuuma omuntu waffe ow’omunda.”
Awake! Nov. 8
“Oyinza okuba ng’okikkiriza nti tuli mu biseera ebirimu ebikolwa eby’obukambwe. [Ng’amaze okubaako ky’addamu, soma 2 Timoseewo 3:3.] Ebikolwa eby’obukambwe bitera okubaawo ne mu maka. Ekitundu kino ekirina omutwe ogugamba, ‘Obuyambi eri Abakazi Abatulugunyizibwa,’ kirimu obubaka obuwa essuubi. Oyinza okuba ng’omanyi gw’oyinza okukatwalira.”