Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Seb. 15
“Nnandyagadde okumanya endowooza yo ku nsonga eno. [Soma Ekyamateeka 32:4.] Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki ensi ejjudde obubi n’okubonaabona bwe kiba nti Katonda y’asingayo okuba ow’amaanyi era nga mwenkanya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki Katonda akyaleseewo obubi.”
Awake! Seb.
“Abasinga obungi ku ffe twagala okuba abalamu obulungi era n’okuwangaala. Olowooza okubeera abasanyufu kiyinza okutuyamba okuba n’obulamu obulungi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 17:22.] Ekitundu kino kinnyonnyola ensonga lwaki kirungi okuba n’endowooza ennuŋŋamu.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 26.
The Watchtower Okit. 1
“Waliwo ekintu kyonna kye waali okoze, oluvannyuma ne wejjusa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ensonga eweebwa mu kyawandiikibwa kino etuviirako ffenna oluusi okubaako bye tukola kyokka oluvannyuma ne twejjusa. [Soma Yeremiya 10:23.] Magazini eno ennyonnyola engeri amagezi agaweebwa mu Baibuli gye gayinza okutuyamba okusalawo obulungi.”
Awake! Okit.
“Olowooza obulamu bw’abaana leero buli mu kabi okusinga bwe kyali edda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi balowooza nti tuli mu biseera ebyogerwako mu kyawandiikibwa kino. [Soma 2 Timoseewo 3:1-5.] Magazini eno ewa amagezi ku ngeri abazadde gye bayinza okukuumamu abaana baabwe baleme kusobezebwako.”