Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Seb. 15
“Obukadde n’obukadde bw’abantu bakkiriza nti ‘abatuukirivu’ balina amaanyi ag’enjawulo era nti kya muganyulo okubayitiramu nga tusaba. Gwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Yesu Kristo kye yagamba. [Soma Yokaana 14:6.] Ekyo kireetera abamu okwebuuza lwaki abalala basaba nga bayitira mu ‘batuukirivu.’ Magazini eno eyogera ku nsonga eyo enkulu.”
Awake! Seb. 22
“Bangi leero beeraliikirira ebikolwa bya bannalukalala ebizingiramu n’okukozesa omukka ogw’obutwa. Olowooza gavumenti z’abantu zisobola okumalawo ebikolwa bya bannalukalala ku nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga Katonda ky’agenda okukola. [Soma Ezeekyeri 34:28.] Ka magazini kano aka Awake! kannyonnyola ensonga ezimu ezizingirwa mu ekyo Katonda ky’agenda okukola.”
The Watchtower Okit. 1
“Bangi beewuunya oba nga ddala emitawaana gye tulaba egitwetoolodde girikoma, okugeza entalo, obumenyi bw’amateeka, n’ebikolwa eby’ettemu. Gwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli etuwa essuubi lino eribudaabuda. [Soma Zabbuli 37:10, 11.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki Katonda tannakomya bubi n’okubonaabona.”
Awake! Okit. 8
“Kirabika leero omuwendo gw’amaka omuli omuzadde omu gweyongedde nnyo. Baibuli eraga nti Omutonzi waffe afaayo ku bantu abo. [Soma Zabbuli 146:9.] Magazini eno eraga engeri emisingi gya Baibuli gye giyinza okuyamba abazadde abali obwannamunigina okukuzaamu abaana baabwe obulungi.”