Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Seb. 15
Yogera ku kintu ekinakuwaza ekyakabaawo mu kitundu. Oluvannyuma mubuuze: “Olowooza olunyiriri luno kye lwogera ku biseera byaffe kituufu? [Soma 2 Timoseewo 3:1, era muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kyogera ku ebyo ebiraga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma era kiraga ne kye tusaanidde okukola mu nnaku zino.”
Awake! Seb.
“Bangi bakkiriza nti twatondebwa. Abalala bagamba nti twajja tufuukafuuka okuva mu bintu ebirala. Gwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze olunyiriri luno kye lugamba ekituyamba okutegeera ekituufu. [Soma Yobu 12:7, 8.] Awake! eno ey’enjawulo eraga kye tusobola okuyigira ku ngeri ey’amagezi ebintu gye byatondebwamu.”
The Watchtower Okit. 1
“Bannasayansi bagezaako okumalawo endwadde n’okwongera ku myaka gye tuwangaala. Olowooza kirisoboka abantu okuwangaala emirembe gyonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ensonga lwaki twagala okuwangaala. [Soma Omubuulizi 3:11.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki Katonda yatutonda nga twagala okuba abalamu emirembe gyonna.”
Awake! Okit.
“Kumpi buli omu anyumirwa okulaba ttivi. Naye olowooza kyetaagisa okweroboza mu bye tulaba? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 13:20.] Magazini eno eraga engeri gye tukwatibwako ebyo bye tulaba ku ttivi, ne kye tuyinza okukola okusobola okwefuga mu ngeri gye tugikozesaamu.”