Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okit. 15
“Bye tusalawo birina kinene nnyo kye bikola ku bulamu bwaffe. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 3:6.] Magazini eno eya Watchtower ewa ensonga ttaano ezeesigamiziddwa ku Baibuli eziyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.”
Awake! Okit. 22
“Weetegerezza nti tweyongera okuwulira ebikwata ku buwuka obusaasaanya obulwadde, obutasobola kulwanyisibwa na bujjanjabi obw’ekisawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga ensonga eziviiriddeko kino era ne kye tuyinza okukola okwekuuma obuwuka obwo. Ate era ennyonnyola ekisuubizo kya Baibuli eky’ensi omutalibeera mulwadde n’omu.” Soma Isaaya 33:24.
The Watchtower Nov. 1
“Ffenna twali tuliiriddwamu olukwe abantu be twali twesiga. Wali weebuuzizzaako, ‘Waliwo omuntu yenna gwe nnyinza okwesiga?’ [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuuma soma Engero 3:5.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki tuyinza okwesigira ddala Katonda. Ate era eyogera ku engeri gye tuyinza okumanyamu abantu be tuyinza okwesiga.”
Awake! Nov. 8
“Ebintu ebikolebwa mu mafuta bikwata ku buli mbeera ya bulamu bwaffe. Wali weebuuzizzaako obulamu bwe bwandibadde singa tewaaliwo bintu ebikolebwa mu mafuta? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri amafuta gye gajjamu okukozesebwa ennyo mu nsi ya leero. Ate era eraga ensonga lwaki tetwetaaga kutya nti olunaku lumu amafuta gajja kugwaawo.”