Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Seb. 15
“Abantu bukadde na bukadde bakozesa ebigambo bino ebimanyiddwa ennyo mu ssaala zaabwe. [Soma Matayo 6:10.] Olowooza obulamu bwandibadde butya singa Katonda by’ayagala byali bikolebwa ku nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga amakulu g’Essaala ya Mukama waffe, nga mw’otwalidde n’aga bino bye twakasoma.”
Awake! Seb. 22
“Abantu bangi beeraliikirivu olw’ekizibu ekibaluseewo mu bavubuka eky’okunywa omwenge omungi. Naawe ekizibu ekyo okiwuliddeko? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 20:1.] Okunywa omwenge omungi kireetedde abavubuka emitawaana mingi. Akatabo kano kalimu amagezi agayamba abavubuka okwewala okupikirizibwa okunywa omwenge omungi.”
The Watchtower Okit. 1
“Ffenna twagala nnyo obumenyi bw’amateeka n’entalo okuggwaawo. Olowooza ekiseera kirituuka ebigambo bino ne bituukirizibwa? [Soma Zabbuli 37:11. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri ekisuubizo kino gye kikwataganyizibwa n’ekigendererwa kya Katonda ekyasooka eri olulyo lw’omuntu n’engeri gye kitukwatako.”
Awake! Okit. 8
“Tekinakuwaza nnyo okuba nti buli mwaka obukadde n’obukadde bw’abavubuka abatannafumbirwa bafuna embuto? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku ebyo bye bayinza okukola okusobola okwaŋŋanga ebizibu eby’okubeera maama omuvubuka. Era kalaga n’engeri abazadde gye basobola okuyambamu abaana baabwe okwewala ekizibu kino.” Soma 2 Timoseewo 3:15.