Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower May. 15
“Olowooza kisoboka okumanya Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kyo kituufu nti kizibu okukkiririza mu muntu gwe tutamanyi bulungi. Mu butuufu, Baibuli etukubiriza okunoonya Katonda. [Soma Ebikolwa 17:27.] Ebitundu bino bitulaga engeri gye tuyinza okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda.”
Awake! May. 22
“Abakulembeze b’ensi bagezezzaako ebintu ebitali bimu okusobola okugonjoola ebizibu byaffe. Enkola empya eriwo ekwata ku kugonjoola ebizibu mu nsi yonna. Mu magazini eno, ojja kulaba enkola eno empya ky’ekoze ku bulamu bwo. Era ojja kusoma ku ekyo ekinaagonjoola ebizibu by’ensi nga bwe kyalagulibwa mu Baibuli.” Oluvannyuma soma Matayo 6:9, 10.
The Watchtower Jjun. 1
“Ebintu ebyakabaawo bireetedde abantu bangi okwebuuza ensonga lwaki abantu abataliiko musango bafa ekibwatukira. Wali olowoozezza ku nsonga lwaki abantu bafa? [Muleke abeeko ky’addamu, oluvannyuma bikkula awali ekipande ku lupapula 7.] Wandyagadde okumanya Baibuli ky’eyogera ku ndowooza ezimu ku zino?” Bwe kiba kisoboka, soma ebyawandiikibwa ebiragiddwa.
Awake! Jjun. 8
“Abantu bangi balowooza nti sayansi n’eddiini bikubagana empawa. Era abamu balowooza nti si kyangu omuntu alowooleza ennyo mu sayansi okukkiririza mu Katonda. Gwe ekyo, okyogerako ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyitibwa Awake! ennyonnyola ensonga eno mu bujjuvu.”