Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Akatabo Draw Close to Jehovah
◼ Ng’okutte Baibuli mu ngalo, gamba: “Abantu bangi abakkiririza mu Katonda bandyagadde okufuna enkolagana nnungi naye. Obadde okimanyi nti Katonda atukubiriza okufuna enkolagana ennungi naye? [Soma Yakobo 4:8.] Akatabo kano kakubiddwa okuyamba abantu okukozesa Baibuli zaabwe okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda.” Soma akatundu 1 ku lupapula 16.
◼ Ng’okutte Baibuli mu ngalo, gamba: “Leero obutali bwenkanya bukyase nnyo. Kiri nga bwe kyogerwako wano. [Soma Omubuulizi 8:9b.] Bangi beebuuza oba nga Katonda afaayo. [Soma ennyiriri ebbiri ezisooka mu katundu 4 ku lupapula 119.] Essuula eno ennyonnyola lwaki Katonda akkirizza obutali bwenkanya okubaawo.”