Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu
Ennaku zino waliwo bingi ebimanyiddwa ku ngeri ey’okukuumamu emitima gyaffe nga giri mu mbeera nnungi tusobole okunyumirwa obulamu n’okuwangaala. Naye ate ekisingawo n’obukulu, y’embeera ey’eby’omwoyo ey’omutima gwaffe. N’olwekyo, ng’omutwe gwa programu y’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu ennatandika mu Ssebutemba 2003 gutuukirawo bulungi nnyo! Gugamba nti: “Weerezanga Yakuwa n’Omutima Ogutuukiridde.” (1 Byom. 28:9) Biki bye twesunga okuyiga?
Omulabirizi w’ekitundu ajja kwogera ku mutwe ogugamba “Okuyamba Abalala Okuweereza Yakuwa n’Essanyu.” Okubuuza ebibuuzo kujja kulaga essanyu eriva mu kuddiŋŋana era n’okusoma Baibuli n’abantu abaagala okuweereza Yakuwa. Emboozi y’omugenyi enaasooka erina omutwe, “Okukuuma Emitima Gyaffe mu Nsi Erimu Ebizibu.” Awatali kubuusabuusa ejja kubudaabuda era ezzeemu amaanyi bonna abanaabaawo. Ekitundu eky’oku makya kijja kukomekkerezebwa n’emboozi ekwata ku kubatizibwa.
Olw’eggulo, emboozi erina omutwe, “Okuyamba Abalala” ejja kulaga engeri gye tusobola okuyambamu abalala. Abazadde basobola kukola ki okuyamba abaana baabwe obutatwalirizibwa ebintu ebibi n’okubayamba okufuuka mikwano gwa Yakuwa? Emboozi egamba nti “Yamba Abaana Bo Okusanyukira Yakuwa” ejja kutuwa ebirowoozo ebirungi n’okulaga engeri kino gye kiyinza okukolebwamu.
Tukozesa enteekateeka zonna Yakuwa zaatuwa okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero nga munywevu? Emboozi y’omugenyi enneesembayo erina omutwe, “Beera n’Omutima Ogutuukiridde ng’Oweereza Yakuwa,” ejja kutulaga ebintu ebikulu bina ebinaatuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. Kufuba ki era biseera byenkana wa bye tuwaayo mu kusaba, okusoma Ekigambo kya Katonda, okubuulira n’obunyikivu, era n’okubeera awamu ne Bakristaayo bannaffe? Waliwo we tusobola okulongoosamu mu ebyo ebimenyeddwa?
Yakuwa atukubiriza bw’ati: “Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, n’amatu go eri ebigambo eby’okumanya.” (Nge. 23:12) N’olwekyo, kola kati enteekateeka osobole okubeerawo ku lunaku olwo kwe tunaayigirizibwa Ebyawandiikibwa. Bw’onookola bw’otyo kijja kukunyweza osobole okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima ogutuukiridde era n’essanyu.