Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jan. 15
“Ffenna wamu n’abaana baffe twagala obulamu obulungi, naye bangi balowooza nti ekyo tekisoboka. Olowooza tulina kye tuyinza okukolawo ku biseera byaffe eby’omu maaso? [Muleke abeeko kyaddamu.] Magazini eno eraga okuva mu Baibuli nti tulina kye tuyinza okukolawo era nti ebiseera byaffe eby’omu maaso, byesigamye ku ebyo bye tusalawo kati.” Soma Ekyamateeka 30:19.
Awake Jan. 22
“Bwe tulwala, ffenna tusiima nnyo omusawo afaayo ku nneewulira yaffe. Naye olowooza abalwadde abasinga obungi bafaayo ku nneewulira y’abasawo baabwe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebizibu abasawo bye bayitamu ate n’eraga n’ekinaatuuka ku by’ekisawo mu biseera eby’omu maaso.” Soma Isaaya 33:24.
The Watchtower Feb. 1
“Tekikwenyamiza okulaba nti abantu bangi leero banyigirizibwa era ne bakolebwako ebikolwa eby’obukambwe? [Waayo ekyokulabirako ekyakabaawo mu kitundu, era omuleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri Katonda gy’atwalamu obulamu bw’omuntu. Ate era ennyonnyola engeri gy’anaamalawo okubonaabona okuliwo leero.” Soma Zabbuli 72:12-14.
Awake! Feb. 8
“Ekimu ku bizibu eby’amaanyi bye twolekaganye nabyo leero kwe kweraliikirira. Ekyo okkiriziganya nakyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli yalagula nti ekyo kye kyandibaddewo. [Soma 2 Timoseewo 3:1.] Magazini eno erimu ebirowoozo ebiyinza okukuyamba gwe n’ab’omu maka go okwaŋŋanga ekizibu ky’okweraliikirira.”