Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Agu. 15
“Oluvannyuma lw’okufiirwa omwagalwa waabwe, abantu bangi beebuuza ekyo ekibaawo omuntu bw’afa. Gwe olowooza kisoboka okumanya embeera omuntu gy’abaamu ng’afudde? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ekyo Baibuli ky’eyogera ku mbeera y’abafu. Ate era eyogera ku kisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abaagalwa baffe abaafa.” Soma Yokaana 5:28, 29.
Awake! Agu. 22
“Obadde okimanyi nti ekitongole eky’eby’obulambuzi kye kisinga okuba n’abakozi abangi mu nsi yonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okututumuka kw’eby’obulambuzi kuvuddemu emiganyulo n’ebizibu. Magazini eno eyogera ku bizibu n’emiganyulo egiri mu kitongole ky’eby’obulambuzi. Ate erimu ebintu ebiyinza okuba eby’omuganyulo eri abo abatambula eŋŋendo empanvu nga bagenda mu nsi endala.”
The Watchtower Seb. 1
“Mu nsi y’akakyo kano, abantu boogera bwogezi ku ky’okuba omwesigwa. Olowooza tekyandibadde kirungi nnyo singa abantu bangi baali beeyisa ng’ow’omukwano ayogerwako mu kyawandiikibwa kino? [Soma Engero 17:17. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola emiganyulo egiva mu kubeera abeesigwa eri ab’omu maka gaffe n’eri mikwano gyaffe.”
Awake! Seb. 8
“Oboolyawo wali weewuunyizzaako engeri ebitonde gye bikolaganamu. [Yogera ekimu ku byokulabirako ebiri mu magazini.] Olowooza si kya nnaku nnyo okulaba ng’abantu bangi tebakolagana? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri Katonda gy’ajja okuleeta emirembe n’obumu ku nsi.” Soma Isaaya 11:9.