Obuyambi mu Kiseera Ekituufu
1. Omuntu ayinza atya okunafuwa mu by’omwoyo?
1 Mwannyinaffe ayitibwa Anna, alina omwami atali mukkiriza, era nga n’omulimu gw’akola gumutwalako ebiseera bingi, yazibuwalirwa okubeerangawo mu nkuŋŋaana zonna, okugenda mu buweereza bw’ennimiro, n’okwesomesa Ekigambo kya Katonda. Wadde nga yali akyayagala Yakuwa, yaggwaamu amaanyi. Eky’essanyu yafuna obuyambi obw’eby’omwoyo okuva eri abakadde.
2. Abakristaayo bonna bayinza kukolawo ki okusobola okuyamba abalala?
2 Omuntu bw’akkiriza obuyambi obw’eby’omwoyo obumuweebwa okuyitira mu kibiina Ekikristaayo, kiba kiraga nti yeesiga Yakuwa. Nga bakoppa ekyokulabirako kya Yesu Kristo eky’okwagala, abakadde mu kibiina bakozesa buli kakisa ke bafuna okuzzaamu amaanyi n’okuyamba abo abazibuwalirwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’eby’omwoyo. (1 Bas. 5:14) Emirundi egisinga obungi, abantu ng’abo baba beetaaga ebigambo ebizzaamu amaanyi nga byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abo ababa baweddemu amaanyi mu by’omwoyo si bwa bakadde bokka, wabula bwa Bakristaayo bonna. Awatali kubuusabuusa, buli omu ku ffe yali azziddwamu amaanyi ‘olw’ekigambo ekyayogerwa mu kiseera ekituufu.’—Nge. 25:11; Is. 35:3, 4.
3, 4. Okuyamba abalala kizingiramu ki, era tuyinza kukikola tutya?
3 Baako ky’Okolawo: Ekiraga nti tufaayo ku abo abeetaaga obuyambi, kwe kubalaga nti tubalumirirwa era ne tubaako kye tukolawo. Yonasaani bwe yakitegeera nti Dawudi ali mu mbeera nzibu, ‘yagolokoka, n’agenda eri Dawudi mu kibira, n’amuzzaamu amaanyi.’ (1 Sam. 23:15, 16) Bw’oyoleka ekisa ng’oyamba abalala era n’okozesa ebigambo ebiraga nti obafaako, kivaamu ebirungi. Ate era, ne Yesu yakiraga nti okusobola okufuna muganda wo, kyetaagisa okufuba ennyo. (Luk. 15:4) Bwe wabaawo omuntu gwe twagala okuyamba, tetujja kulekulira wadde nga enkyukyuka z’akola tezeeyoleka mangu.
4 Nga kizzaamu nnyo amaanyi bwe tusaba abo be tuli nabo mu kibinja gye tusomera ekitabo, okukolako naffe mu buweereza obw’ennimiro! Bwe tuba nga tuyamba muweereza munnaffe okwenyigira mu buweereza obw’ennimiro, tuyinza okukozesa akakisa ako okumukubiriza okwongeramu amaanyi mu buweereza bwe. Ekiseera kye tumala nga tukolera wamu n’omuntu ng’oyo eyeetaaga okuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo, kiba kya muganyulo nnyo gyali.
5. Mu mbeera ezimu, buyambi ki abakadde bwe bayinza okuwa?
5 Enteekateeka ey’Okwagala: Omuntu aba amaze ekiseera nga teyeenyigira mu kubuulira oba aludde nga tajja mu nkuŋŋaana, ayinza okwetaaga obuyambi obusingawo okusobola okunyweza okukkiriza kwe. Kiyinza okwetaagisa okumusomesa Baibuli nga mukozesa obutabo nga Sinza Katonda Omu ow’Amazima, Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa oba Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Olw’okuba omuntu ng’oyo aba yabatizibwa dda, ayinza obuteetaaga kusomesebwa bbanga ddene. Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza ke kasalawo ani yeetaaga obuyambi ng’obwo.—Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1998 ne aka 2000.
6. Mwannyinaffe omu yaddamu atya amaanyi mu by’omwoyo?
6 Anna, eyayogeddwako ku ntandikwa yakkiriza enteekateeka abakadde gye baamukolera ey’okuba nti mwannyinaffe akuze mu by’omwoyo addamu okumuyigiriza Baibuli. Oluvannyuma lw’okusoma emirundi ena gyokka, yaddamu okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. Yaddamu okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina era n’okutendereza Yakuwa Katonda mu lujjudde. Mwannyinaffe oyo omukulu mu by’omwoyo era yamuyamba ne mu buweereza obw’omu nnimiro ng’amutwala ku bayizi be aba Baibuli okutuusa lwe yafuna obuvumu okutandika okubuulira nnyumba ku nnyumba. Obuyambi ng’obwo bwe yali yeetaaga okusobola okuddamu amaanyi!
7. Tuganyulwa tutya bwe tuzzaamu abalala amaanyi mu by’omwoyo?
7 Ffenna tuganyulwa bwe tuyamba abo abaweddemu amaanyi. Oyo ayambibwa addamu okufuna essanyu ery’okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era n’okwenyigira mu nteekateeka z’ekibiina Kye. Abakadde basanyuka okulaba omuntu ng’oyo ng’akulaakulana mu by’omwoyo. (Luk. 15:5, 6) Bonna abali mu kibiina baba bumu olw’okuba buli omu aba afaayo ku munne. (Bak. 3:12-14) Mazima ddala, tulina ensonga ennungi okukoppa Yakuwa, oyo omwetegefu okutuyamba!—Bef. 5:1.