LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/06 lup. 6
  • Omwoyo ogw’Obwannakyewa Guleeta Emikisa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omwoyo ogw’Obwannakyewa Guleeta Emikisa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Similar Material
  • Okuyambako mu Kuzimba Ebizimbe Ebikozesebwa Ekibiina kya Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Osobola Okuwaayo Ebiseera Byo n’Amaanyi Go?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka —Mulimu Mukulu Nnyo mu Buweereza Obutukuvu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bwe Weewaayo Kyeyagalire Oleetera Yakuwa Ettendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 12/06 lup. 6

Omwoyo ogw’Obwannakyewa Guleeta Emikisa

1. Dawudi ne Nekkemiya baayoleka batya omwoyo ogw’obwannakyewa?

1 Goliyaasi bwe yasoomooza eggye lya Isiraeri, omuntu yenna okuva mu ggye eryo yandisobodde okwewaayo okumulwanyisa. Naye tewali n’omu eyakikola, wabula omulenzi omusumba w’endiga ataali mutendeke mu kulwana entalo. (1 Sam. 17:32) Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse bwe baddayo e Yerusaalemi kyokka ne balemererwa okuddamu okuzimba bbugwe, omusenero wa kabaka wa Buperusi ye yeewaayo n’aleka ekifo kye eky’ekitiibwa mu lubiri n’agenda e Yerusaalemi okusobola okuteekateeka omulimu gw’okuzimba bbugwe. (Nek. 2:5) Yakuwa yawa omukisa abasajja bano bombi, Dawudi ne Nekkemiya, olw’omwoyo gwe baalaga.​—1 Sam. 17:45, 50; Nek. 6:15, 16.

2. Lwaki Abakristaayo basaanidde okwoleka omwoyo gw’obwannakyewa?

2 Leero, abantu batono nnyo mu nsi abalina omwoyo ogw’obwannakyewa. Mu nnaku zino “ez’oluvannyuma,” abantu balina bingi eby’okukola, era bangi “beeyagala bokka.” (2 Tim. 3:1, 2) Kyangu omuntu okwemalira ku ebyo ebimukwatako n’abuusa amaaso eky’okuweereza nga nnakyewa nga wazzeewo obwetaavu obw’okuyamba abalala. Kyokka, ng’Abakristaayo, twagala okukoppa Yesu, ataalinda balala kusooka kujja gy’ali okubayamba. (Yok. 5:5-9; 13:12-15; 1 Peet. 2:21) Tusobola tutya okulaga omwoyo gw’obwannakyewa, era mikisa ki gye tujja okufuna?

3. Mu ngeri ki omwoyo gw’obwannakyewa gye guli ogw’omuganyulo mu nkuŋŋaana z’ekibiina?

3 Ku lwa Baganda Baffe: Tusobola okuwa abalala ‘ekirabo eky’omwoyo’ nga twewaayo okubaako kye tuddamu mu bitundu by’enkuŋŋaana ebyetaagisa abawuliriza okubaako bye baddamu. (Bar. 1:11) Okubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana kiweesa Yakuwa ekitiibwa, kyongera okunyweza amazima mu mitima gyaffe ne mu birowoozo byaffe era ne kituleetera okweyongera okunyumirwa enkuŋŋaana. (Zab. 26:12) Era tusobola okukola nga bannakyewa nga tuwa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, oyo abadde ow’okugiwa bw’aba nga taliiwo. Kino kijja kutuyamba okwongera okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu.

4. Ngeri ki endala mwe tusobolera okwoleka omwoyo gw’obwannakyewa?

4 Ab’oluganda basobola okwoleka omwoyo gw’obwannakyewa ngabafuba okufuna ebisaanyizo ebibasobozesa okulabirira emirimu gy’ekibiina. (Is. 32:2; 1 Tim. 3:1) Bonna basobola okuleetera enkuŋŋaana ennene okuddukanyizibwa obulungi nga beewaayo okukola nga bannakyewa mu bitongole eby’enjawulo. Bwe twewaayo okubuulira awamu n’omulabirizi atambula oba okumusembeza ku kijjulo, kiyinza okuvaamu ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:12) Bwe twewaayo okuyamba bamulekwa, bannamwandu, abalwadde n’abalina obulemu ku mubiri, abazadde abalina abaana abato, n’abalala mu kibiina, tufuna essanyu era ne tusiimibwa Yakuwa.​—Nge. 19:17; Bik. 20:35.

5. Bintu ki ebikwataganyizibwa n’Ebizimbe by’Obwakabaka ebyetaagisa bannakyewa?

5 Engeri endala mwe tusobolera okuwaayo ebiseera byaffe n’amaanyi kwe kuyonja n’okudaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Okugatta ku ekyo, olw’okuba abantu bangi bajja mu mazima, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’Ebizimbe by’Obwakabaka ebirala era ne bannakyewa abanaabizimba. Omugogo ogumu ogw’abafumbo beewaayo okuyamba Akakiiko Akazimbi ak’omu Kitundu kyabwe wadde nga baali tebamanyi kuzimba. Abafumbo abo baafuna okutendekebwa era kati bayamba mu kuzimba. Omukyala yagamba: “Okukolera awamu n’abalala kivuddemu okukola nabo omukwano ogw’okulusegere. Ku nkomerero y’olunaku, tuba tukooye mu mubiri naye mu by’omwoyo tuba tuzziddwa buggya.”

6. Lwaki okubuulira gwe mulimu ogw’obwannakyewa ogusingayo okuba omukulu?

6 Nga Tubuulira: Omulimu ogw’obwannakyewa ogusingayo obukulu gwe tusobola okukola leero, kwe kubuulira Obwakabaka. Abantu bwe bayambibwa okutegeera n’okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli, bafuna ekigendererwa mu bulamu era n’obusobozi bw’okuvvuunuka emize emibi. Bategeera ekisuubizo kya Baibuli eky’ebiseera eby’omu maaso ekizzaamu amaanyi. Bwe tuyigiriza abantu Baibuli, tuba tukola omulimu ogw’obwannakyewa oguleeta essanyu era oguviirako abalala okufuna emiganyulo egy’olubeerera. (Yok. 17:3; 1 Tim. 4:16) Oboolyawo embeera zaffe ziyinza okutusobozesa okwenyigira ennyo mu mulimu guno nga tukola nga bapayoniya abawagizi oba ab’ekiseera kyonna, nga tusengukira mu bifo awali obwetaavu obungi, oba nga tuyiga olulimi olulala.

7. Lwaki kikulu nnyo okukola nga bannakyewa naddala leero?

7 Kabaka Dawudi yalagula nti Masiya bwe yanditandise okufuga, abantu ba Katonda ‘bandyewaddeyo n’omwoyo ogutawalirizibwa.’ (Zab. 110:3) Mu kiseera kino nga Yakuwa ayanguyaako omulimu ogusembayo ogw’amakungula ag’eby’omwoyo, waliwo emirimu mingi egitwetaagisa okukola nga bannakyewa. (Is. 60:22) Oyogedde nti: “Nze nzuuno: ntuma nze”? (Is. 6:8) Mazima ddala, bwe twoleka omwoyo ogw’obwannakyewa, tusanyusa Yakuwa era tufuna empeera ya maanyi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share