Goberera Ekyokulabirako kya Yesu
1. Kyakulabirako ki Yesu kye yassaawo?
1 Bwe tuba tukola omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa, tulina okukijjukira nti ekyokulabirako kyaffe kirina kinene kye kikola ku abo abatulaba. Yesu yayigirizanga mu bigambo n’emu bikolwa. Abo abaamulabanga baali basobola okitegeera nti munyiikivu, ayagala abantu, ayagala nnyo okutukuza erinnya lya Kitaawe, era nga mumalirivu okutuukiriza ebyo Kitaawe by’ayagala.—1 Peet. 2:21.
2. Ekyokulabirako kyaffe, kikwata kitya ku abo be tukola nabo mu buweereza?
2 Nga Tubuulira Nnyumba ku Nnyumba: Nga bwe kyali eri Yesu, ekyokulabirako kyaffe kirina kye kikola ku abo be tukola nabo. Ababuulizi abapya n’abo abatalina bumanyirivu, bwe balaba obunyiikivu bwaffe mu kubuulira kibaleetera okulowooza ku ngeri gye bayinza okulongoosa mu buweereza bwabwe obw’omu nnimiro. Bwe batulaba nga tuli basanyufu era nga tufaayo nnyo ku bantu, kibaleetera okutegeera nti kikulu okwoleka engeri ng’ezo mu buweereza bwabwe. Bwe batulaba nga tufuba okukozesa Ebyawandiikibwa, nga tunyiikira okuddiŋŋana abo abaagala okumanya ebisingawo era nga tuyigiriza abayizi baffe aba Baibuli, nabo bajja kukola kye kimu.
3. Mu ngeri ki abayizi ba Baibuli gye bayinza okuyigira ku kyokulabirako kyaffe?
3 Nga Tuyigiriza Abayizi ba Baibuli: N’okusingira ddala, abayizi baffe aba Baibuli bajja kwetegereza nnyo enneeyisa yaffe. Ng’ekyokulabirako, wadde nga tuyinza okubannyonnyola nti kikulu nnyo okutegeka, okukebera ebyawandiikibwa, era n’okusaza ku nsonga enkulu, bajja kwetegereza balabe obanga naffe twategese. (Bar. 2:21) Bwe tukwata ebiseera bye tubayigiririzaamu Baibuli, tekijja kubabeerera kyangu kukola bintu birala mu budde obw’okusoma. Era awatali kubuusabuusa bajja kulaba okukkiriza kwaffe okunywevu n’engeri gye twerekerezaamu okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe. Tekyewuunyisa nti abayizi b’abo abagoberera ekyokulabirako kya Yesu batera okuba ababuulizi abanyiikivu era ababala ebibala.
4. Bwe tuba mu nkuŋŋaana z’ekibiina, kiki abalala kye bayinza okuyigira ku kyokulabirako kyaffe?
4 Nga Tuli mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina: Abo bonna abali mu kibiina Ekikristaayo basobola okubaako kye bayigiriza mu nkuŋŋaana z’ekibiina nga bayitira mu kyokulabirako ekirungi kye bassaawo. Abapya ababaawo mu nkuŋŋaana baganyulwa nnyo mu kyokulabirako ekirungi kye balaba mu kibiina. Bajja kwetegereza okwagala okuli mu b’oluganda, obumu obw’Ekikristaayo, era balabe ennyambala n’okwekolako ebisaanira. (Zab. 133:1) Era bajja kwetegereza ekyokulabirako kyaffe ekirungi eky’okubaawo obutayosa mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’okuzeenyigiramu nga tubaako bye tuddamu. Omugenyi eyajja ku lumu ku nkuŋŋaana zaffe yeetegereza engeri akawala akato gye kaabikkulangamu amangu ebyawandiikibwa ebyalinga bijulizibwa era n’engeri gye kaagobererangamu nga bisomebwa. Ekyokulabirako ky’akawala ako kyaleetera omwami oyo okusaba okuyigirizibwa Baibuli.
5. Lwaki twandikitutte nga kikulu nnyo okussaawo ekyokulabirako ekirungi?
5 Ebyawandiikibwa bitukubiriza okukoppa ekyokulabirako ky’abalala ekirungi. (Baf. 3:17; Beb. 13:7) N’olwekyo, tusaanidde okukijjukira nti singa tugoberera ekyokulabirako kya Yesu, abalala bajja kukiraba era kibaleetere okukola enkyukakyuka ennungi mu bulamu bwabwe. N’olw’ensonga eyo, ka tugoberere ebigambo ebiri mu 1 Timoseewo 4:16 ebigamba nti: “Weekuumenga wekka n’okuyigiriza kwo.”