Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu
Tusobola tutya okwaŋŋanga abo abaziyiza okusinza okw’amazima? Tuyinza tutya okuwangula enkwe Setaani z’akozesa entakera ng’agezaako okutuzzaayo mu nsi y’abantu abatatya Katonda? Olukuŋŋaana lw’ekitundu olunaabaawo mu mwaka gw’obuweereza 2009 lujja kuddamu ebibuuzo ebyo ebikulu. Omutwe gw’olukuŋŋaana olwo gujja kuba: “Wangulanga Obubi olw’Obulungi.” (Bar. 12:21) Bino wammanga bye bimu ku ebyo ebijja okuba mu programu eyo.
Omulabirizi wa disitulikiti ajja kuwa okwogera okulina omutwe “Tuweebwa Amaanyi Okuwangula Obubi olw’Obulungi,” “Weewale Okwekakasa Ekisukkiridde!,” “Obubi Bwonna Buli Kumpi Okukoma!,” ne “Okunyweza Okukkiriza Kwaffe Tusobole Okuwangula Ensi.” Omulabirizi w’ekitundu ajja kuwa okwogera okulina omutwe “Kino kye Kiseera Okubeera Obulindaala!,” ogwesigamiziddwa ku Abaruumi 13:11-13, ne ‘Toggwaamu Maanyi ng’Ofunye Ebizibu,” nga gwesigamiziddwa ku Engero 24:10, NW. Era twesunga nnyo okwogera kw’omulabirizi w’ekitundu okulina omutwe “Okwekenneenya Ebyetaago by’Ekitundu.” Okwogera okulala okujja okutuzzaamu ennyo amaanyi kwekwo okulina omutwe “Osobola ‘Okunyiikirira Obuweereza’ ng’Okola nga Payoniya?” Okwogera okwawuziddwamu okunaasooka kulina omutwe “Ziyiza Enkwe z’Omulyolyomi.” Okwogera kuno kujja kutuyamba okumanya era n’okwewala enkwe z’Omulyolyomi eziri mu tekinologiya, mu by’okwesanyusaamu, ne mu buyigirize. Okwogera okwawuziddwamu okulina omutwe “Funa Amaanyi Okusobola Okuba Omunywevu mu Biseera Bino Ebibi” kujja kutuyamba okutegeera engeri y’okugoberera mu bujjuvu okubuulirira okwaluŋŋamizibwa okuli mu Abaefeso 6:10-18.
Waliwo akakwate k’amaanyi wakati w’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka n’okuwangula obubi okuviira ddala ku nsibuko yaabwo. (Kub. 12:17) Tekyewuunyisa nti buli kiseera Setaani yeeyongera okulumba Abajulirwa ba Yakuwa! (Is. 43:10, 12) Naye Omulyolyomi ajja kulemererwa kubanga tuli bamalirivu ‘okuwangula obubi olw’obulungi.’ Kola enteekateeka ezinaakusobozesa okuganyulwa mu bujjuvu mu lukuŋŋaana luno olw’ekitundu.