LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 3/09 lup. 1
  • Weeteekereteekere Bulungi Ekijjukizo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weeteekereteekere Bulungi Ekijjukizo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Laba Ebirala
  • Okwejjukanya Ebikwata ku Kijjukizo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Ebirango
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Okwejjukanya Ebikwata ku Kijjukizo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Okwejjukanya Ebikwata ku Kijjukizo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 3/09 lup. 1

Weeteekereteekere Bulungi Ekijjukizo

Nga kya ssanyu nnyo era nga nkizo y’amaanyi abagoberezi ba Kristo okuba nga beeteeseteese bulungi okusobola okujjukira okufa kwa Yesu Kristo! (Luk. 22:19) Bintu ki bye tusaanidde okukola nga tweteekerateekera Ekijjukizo?

◼ Ekiseera n’Ekifo: Buli muntu asaanidde okuba ng’amanyi bulungi ekiseera n’ekifo kyennyini awanaabeera omukolo gw’Ekijjukizo. Bwe kiba nti Ekizimbe ky’Obwakabaka kijja kukozesebwa ebibiina ebisukka mu kimu, kiba kirungi okutuuka nga bukyali era n’okuvaawo amangu kisobozese abalala okutandikira mu budde. Musaanidde okukola enteekateeka ennungi waleme okubaawo omujjuzo ku mulyango, mu nkuubo, mu luggya, n’awasimba emmotoka.

◼ Okuyita Abantu Okubaawo: Ababuulizi bonna bamaze okufuna obupapula obuyita abantu, era bamanyi bulungi ebibulimu? Omaze okwegezaamu engeri gy’onoobukozesaamu ng’oyita abantu ku Kijjukizo? Baani b’onooyita? Mufube okugaba obupapula bwonna.

◼ Eby’entambula: Abamu ku abo abandyagadde okubaawo ku Kijjukizo nga mw’otwalidde baganda baffe ne bannyinaffe bayinza okwetaaga obuyambi obw’eby’entambula oba obw’engeri endala yonna. Nteekateeka ki ezikoleddwa okusobola okukola ku byetaago byabwe?

◼ Obubonero: Mukakase nti obubonero tebuyisibwa ng’enjuba tennaggwa. Enteekateeka zisaanidde okukolebwa okusobola okutwala obubonero eri eyafukibwako amafuta yenna ataasobole kubeerawo olw’obulwadde. Ekika ky’omugaati n’enviinyo ebisaanira birina okufunibwa era n’okutegekebwa nga bukyali.​—Laba Omunaala gw’Omukuumi aka Maaki 1, 2003, lup. 10-11, kat. 14, 17.

◼ Ekizimbe ky’Obwakabaka: Ekizimbe kisaanidde okuyonjebwa obulungi nga bukyali. Essowaani, amagiraasi, emmeeza esaanira, awamu n’ekitambaala kyakwo birina okuleetebwa awanaaba omukolo era bitegekebwe nga bukyali. Bwe kiba nti mujja kukuŋŋaanira mu kifo ekirala, mukakase nti wakolebwawo enteekateeka ennungi eneesobozesa bonna abanaabaawo okuwulira obulungi ebyo omwogezi by’ayogera. Abaaniriza abagenyi n’abo abanaayisa obubonero balina okulondebwa era n’okutegeezebwa nga bukyali ebikwata ku mirimu gyabwe, enkola eneegobererwa, awamu n’ennyambala n’okwekolako ebinaaweesa omukolo ekitiibwa.

Abantu kinnoomu era ng’ekibiina, tusaanidde okweteekerateekera obulungi omukolo guno omukulu ennyo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu Kristo. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ajja kuwa emikisa abo bonna abalaga okusiima okwa nnamaddala olw’ebyo byonna by’akoledde olulyo ly’omuntu ng’ayitira mu ssaddaaka y’Omwana we omwagalwa ennyo, Yesu Kristo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza