Okozesezza Ebyo Ebiri ku Lupapula olw’Emabega?
Abantu bwe bafuna magazini, batera okutunula kungulu n’emabega waayo. Olupapula olw’emabega olwa Watchtower eya bonna, luliko ebibuuzo n’eby’okuyiga ebirala ebireetera omuntu okwagala okumanya ebisingawo era lulaga empapula kwe binnyonnyolebwa.
Tuyinza okukozesa ebimu ku bibuuzo ebiri ku lupapula olw’emabega mu nnyanjula zaffe, okutandika okunyumya n’abantu. Bwe kiba nti ekitundu kyaffe tukibuuliramu enfunda n’enfunda, tuyinza okukyusakyusa mu nnyanjula zaffe nga tukozesa ebibuuzo eby’enjawulo omwezi gwonna. Nnyinimu bw’aba ng’alina eby’okukola bingi, tuyinza okufunza mu nnyanjula yaffe nga tumulaga ebibuuzo ebiri ku lupapula olw’emabega, era ne tumugamba nti, “Bw’oba nga wandyagadde okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino, nsobola okulekera magazini zino, era nja kukomawo lw’onooba n’ebiseera.” Ababuulizi abamu bayinza okwagala okutandika okunyumya n’abantu nga babalaga ebiri ku lupapula olw’emabega era ne babagamba okulonda ekibuuzo kye bandyagadde kiddibwemu. Oluvannyuma bayinza okubalaga olupapula awaddibwamu ekibuuzo ekyo era ne babasomera n’ekyawandiikibwa. Oboolyawo oyinza okulowooza ku ngeri endala ez’okukozesaamu ebiri ku lupapula olw’emabega okusikiriza abantu okutwala magazini ya Watchtower eya bonna.