‘Erinnya lya Katonda Litukuzibwe’
1. Omutwe gw’olukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza 2012 gwe guluwa, era gwesigamiziddwa ku ki?
1 Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okuyitibwa erinnya ly’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa! Katonda kennyini ye yatutuuma erinnya lye, era tuzze tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa, naddala okuva mu mwaka 1931. (Is. 43:10) Yesu, Omwana wa Katonda omu yekka, yatwala erinnya lya Katonda nga kkulu nnyo, ne kiba nti lye yasoosa mu ssaala ye ey’okulabirako. (Mat. 6:9) Ebigambo bya Yesu ebiri mu ssaala eyo, bye byesigamiziddwako omutwe gwa programu y’olukuŋŋaana lwaffe olw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza 2012 ogugamba nti: ‘Erinnya lya Katonda Litukuzibwe.’
2. Biki bye twesunga okuwulira mu lukuŋŋaana lw’ekitundu?
2 Bye Tunaawulira: Ku Lwomukaaga wajja kubaawo okwogera okulina omutwe ogugamba nti: “Mumanyise Erinnya lya Katonda ng’Abaweereza ab’Ekiseera Kyonna” okujja kulaga ensonga lwaki obuweereza obw’ekiseera kyonna bulimu emiganyulo mingi. Ate era, tujja kuwuliriza okwogera okwawuziddwamu okulina omutwe ogugamba nti: “Weegendereze Oleme Kuleeta Kivume ku Linnya lya Yakuwa,” okujja okutuyamba okwewala okugwa mu mitego egy’emirundi ena. Ebibuuzo: Kiki ekinaatuyamba okubuulira n’obunyiikivu abantu ne bwe baba balaga okusiima kutono? ne Kiki ekinaatuyamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe? bijja kuddibwamu mu kwogera okulina omutwe ogugamba nti: “Ensonga Lwaki Erinnya lya Katonda Lirina Okutukuzibwa.” Ku Ssande tujja kuba n’okwogera okwawuziddwamu okw’ebitundu ebina okukwata ku ngeri gye tuyinza okutukuzaamu erinnya lya Katonda okuyitira mu bye tulowooza, bye twogera, bye tusalawo, n’enneeyisa yaffe. Okusingira ddala, abapya bajja kuganyulwa nnyo mu kuwuliriza okwogera kwa bonna, okulina omutwe ogugamba nti: “Yakuwa Ajja Kutukuza Erinnya Lye Ekkulu ku Kalumagedoni.”
3. Nkizo ki gye tulina, era programu eneetuyamba etya?
3 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kubaako ne kyakolawo okutukuza erinnya lye. (Ez. 36:23) Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tulina enkizo ey’ekitalo ey’okweyisa mu ngeri ereetera erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa. Tuli bakakafu nti programu y’olukuŋŋaana luno olw’ekitundu ejja kuyamba buli omu ku ffe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obukulu ng’abo abayitibwa erinnya lya Katonda.