LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/11 lup. 3
  • ‘Katonda by’Ayagala Bikolebwe’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Katonda by’Ayagala Bikolebwe’
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Similar Material
  • Fuba Okukuuma Omuntu Wo ow’Omunda
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Ekigambo kya Katonda Kigasa mu Kuyigiriza
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Wuliriza era Oyige
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 8/11 lup. 3

‘Katonda by’Ayagala Bikolebwe’

1. Omutwe gw’olukuŋŋaana lwaffe olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2012 gwe guluwa, era lwaki gutuukirawo?

1 Yakuwa okututonda kwali kusiima kwe. (Kub. 4:11) N’olwekyo, ffe okusobola okutuukiriza ekigendererwa Katonda kye yalina ng’atutonda tuba tulina okuyiga n’okukola Katonda by’ayagala. Kino si kyangu okuva bwe kiri nti tulwanagana n’okwegomba okw’okukola “ebintu omubiri n’ebirowoozo bye byagala” oba “ebyo amawanga bye gaagala.” (Bef. 2:3; 1 Peet. 4:3; 2 Peet. 2:10) Awatali buyambi bwa Katonda, ‘Omulyolyomi yandibadde atukwasa nga tuli balamu tusobole okutuukiriza by’ayagala.’ (2 Tim. 2:26) Programu y’olukuŋŋaana lwaffe olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2012, ejja kuyamba buli omu ku ffe okutuukana obulungi n’ekimu ku bintu ebisatu ebikulu ennyo bye tusaba mu ssaala ey’okulabirako. (Mat. 6:9, 10) Omutwe gwalwo gugamba nti: “Katonda by’Ayagala Bikolebwe.”

2. Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu programu?

2 Ebibuuzo Ebijja Okuddibwamu: Bw’onooba owuliriza programu, noonya eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Kintu ki ekirala ekikulu kye tulina okukola ng’oggyeko okuwuliriza Ekigambo kya Katonda? Tuyinza tutya okweyongera okutegeera Yakuwa by’ayagala? Lwaki tulina okuba abeetegefu okubuulira abantu aba buli ngeri? Tuyinza tutya okufuna essanyu mu bulamu? Abavubuka, kiki kye mwagala Yakuwa ategeere ku bikwata ku buweereza bwammwe? Miganyulo ki egiva mu kukola Yakuwa by’ayagala? Lwaki kyetaagisa nnyo kati okuzimba abalala n’okubazzaamu amaanyi?

3. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu nteekateeka eno ey’eby’omwoyo?

3 Fuba okubeerawo era osseeyo omwoyo nga programu egenda mu maaso. Wayinza okubaawo omwogezi anaakyala okuva ku Beseri oba omulabirizi atambula. Nga programu tennatandika oba ng’ewedde, oli wa ddembe okwogerako naye awamu ne mukyala we, bw’aba mufumbo. Nga muzzeeyo eka, temubeera ‘bawulizi abeerabira,’ wabula mwejjukanye ebibadde mu programu ng’amaka era mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye muyinza okukola mu bujjuvu Katonda by’ayagala.—Yak. 1:25.

4. Lwaki kikulu nnyo okukulembeza Katonda by’ayagala?

4 Mu kiseera ekitali kya wala, abo abagoberera okwegomba kwabwe era abagaana okukola Yakuwa by’ayagala bajja kuzikirizibwa. (1 Yok. 2:17) N’olwekyo, tuli basanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa atuteekeddeteekedde emmere ey’eby’omwoyo ejjidde mu kiseera ekituufu okutuyamba okukulembeza Katonda by’ayagala!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share