EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 25-26
Esawu Atunda Omugabo Gwe ogw’Omwana Omubereberye
Esawu ‘teyasiima bintu bitukuvu.’ (Beb 12:16) N’ekyavaamu yatunda omugabo gwe ogw’omwana omubereberye. Ate era yawasa abakazi babiri abaali batasinza Yakuwa.—Lub 26:34, 35.
WEEBUUZE: ‘Nnyinza ntya okukiraga nti nsiima ebintu bino ebitukuvu?’
Enkolagana yange ne Yakuwa
Omwoyo omutukuvu
Okuyitibwa erinnya lya Katonda ettukuvu
Omulimu gw’okubuulira
Enkuŋŋaana
Obufumbo