Yusufu yeesiga Yakuwa bwe yali mu kkomera e Misiri
Bye Tuyinza Okwogerako
●○○ OMULUNDI OGUSOOKA
Ekibuuzo: Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
Ekyawandiikibwa: Mub 9:5a
Eky’okulekawo: Waliwo essuubi lyonna nti abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
○●○ OKUDDIŊŊANA OKUSOOKA
Ekibuuzo: Waliwo essuubi lyonna nti abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
Ekyawandiikibwa: Yob 14:14, 15
Eky’okulekawo: Obulamu buliba butya nga Katonda azuukizza abantu baffe abaafa?
○○● OKUDDIŊŊANA OKW’OKUBIRI
Ekibuuzo: Obulamu buliba butya nga Katonda azuukizza abantu baffe abaafa?
Ekyawandiikibwa: Is 32:18
Eky’okulekawo: Katonda anaaleeta atya emirembe ku nsi?