LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
Announcement
New languages available: Betsimisaraka (Northern), Betsimisaraka (Southern), Konkomba, Matses, Mi'kmaq
  • Leero

Lwakusatu, Okitobba 15

Nze Alufa era nze Omega.—Kub. 1:8.

Ennukuta alufa y’esooka mu walifu y’Oluyonaani, ate omega y’esembayo. Yakuwa bwe yagamba nti ye ‘Alufa era nti ye Omega,’ yali ategeeza nti bw’atandika ekintu aba alina okukimaliriza. Oluvannyuma lwa Yakuwa okutonda Adamu ne Kaawa, yabagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo.” (Lub. 1:28) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yakuwa yali ng’agamba nti “Alufa.” Yayoleka bulungi ekigendererwa kye kino: Ekiseera kyandituuse bazzukulu ba Adamu ne Kaawa, abatuukiridde era abawulize, ne bajjuza ensi era ne bagifuula Olusuku lwa Katonda. Ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, Yakuwa ajja kuba ng’agamba nti “Omega.” Yakuwa bwe yamala okutonda “eggulu n’ensi n’ebintu byonna ebibirimu,” yawa obukakafu obulaga nti ekigendererwa kye yalina mu kutonda ensi n’abantu kijja kutuukirira ddala mu bujjuvu ku nkomerero y’olunaku olw’omusanvu.—Lub. 2:​1-3. w23.11 5 ¶13-14

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakuna, Okitobba 16

Mwerule ekkubo lya Yakuwa! Mukolere Katonda waffe oluguudo olutereevu oluyita mu ddungu.—Is. 40:3.

Abayisirayiri kyandibatwalidde emyezi ng’ena okutambula okuva e Babulooni okutuuka mu Isirayiri. Era olugendo olwo terwandibadde lwangu. Kyokka Yakuwa yasuubiza nti yandiggyeewo emisanvu gyonna egyandibadde gibalemesa okuddayo. Abayudaaya abeesigwa baali bakimanyi nti emiganyulo gye bandifunye nga bazzeeyo mu Isirayiri gyandisingidde wala ekintu kyonna kye bandyefiirizza. Omuganyulo ogusinga gyonna gwali gukwata ku kusinza. Mu Babulooni tewaaliyo yeekaalu ya Yakuwa. Tewaaliyo kyoto Abayisirayiri kwe baali basobola okuweerayo ssaddaaka nga bwe baali balagiddwa mu Mateeka ga Musa, era tewaaliyo na bakabona abaali bateekeddwateekeddwa okuwaayo ssaddaaka ezo. Ate era abantu ba Yakuwa mu kibuga ekyo baali batono nnyo bw’obageraageranya ku bantu abaali basinza bakatonda ab’obulimba era abaali batassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. N’olwekyo, Abayudaaya bangi abaali baagala Yakuwa baali beesunga nnyo okuddayo mu nsi yaabwe bazzeewo okusinza okulongoofu. w23.05 14-15 ¶3-4

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakutaano, Okitobba 17

Mweyongere okutambula ng’abaana b’ekitangaala.—Bef. 5:8.

Twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu tusobole okweyongera okweyisa “ng’abaana b’ekitangaala.” Lwaki? Kubanga kizibu nnyo okusigala nga tuli balongoofu mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu. (1 Bas. 4:​3-5, 7, 8) Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okwewala endowooza y’ensi ezingiramu obufirosoofo n’ebintu ebikyamu ebikontana n’endowooza ya Katonda. Ate era gusobola okutuyamba okukulaakulanya “obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.” (Bef. 5:9) Engeri emu gye tuyinza okufunamu omwoyo omutukuvu kwe kusaba Katonda agutuwe. Yesu yagamba nti Yakuwa awa “omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Luk. 11:13) Ate era bwe tutendereza Yakuwa nga tuli wamu ne bannaffe mu nkuŋŋaana, tufuna omwoyo omutukuvu. (Bef. 5:​19, 20) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gutuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda. w24.03 23-24 ¶13-15

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share