LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 40
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ebigambo ebibudaabuda abantu ba Katonda (1-11)

        • Eddoboozi mu ddungu (3-5)

      • Katonda tageraageranyizika (12-31)

        • Amawanga galinga ettondo mu kalobo (15)

        • Katonda abeera waggulu “w’ensi enneetooloovu” (22)

        • Emmunyeenye zonna ziyitibwa amannya (26)

        • Katonda takoowa (28)

        • Yakuwa awa amaanyi abo abamwesiga (29-31)

Isaaya 40:1

Marginal References

  • +Is 49:13; 51:3; 2Ko 1:3, 4

Isaaya 40:2

Footnotes

  • *

    Oba, “mu ngeri ebudaabuda.”

Marginal References

  • +Zb 79:8, 9; Yer 31:34; 33:8
  • +Yer 16:18; Dan 9:11, 12

Isaaya 40:3

Footnotes

  • *

    Oba, “Muteeketeeke.”

Marginal References

  • +Is 35:8; 57:14; Mal 3:1
  • +Is 11:16
  • +Mat 3:1, 3; Mak 1:2-4; Luk 3:3-6; Yok 1:23

Isaaya 40:4

Marginal References

  • +Is 42:16

Isaaya 40:5

Marginal References

  • +Is 24:15
  • +Is 49:6; 52:10

Isaaya 40:6

Marginal References

  • +Yob 14:1, 2; Zb 90:5, 6

Isaaya 40:7

Footnotes

  • *

    Oba, “omwoyo.”

Marginal References

  • +Yak 1:11
  • +Zb 103:15, 16

Isaaya 40:8

Marginal References

  • +Is 46:10; 1Pe 1:24, 25

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 5

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2017, lup. 18-22

Isaaya 40:9

Marginal References

  • +Is 52:7
  • +Is 12:2; 25:9

Isaaya 40:10

Marginal References

  • +Is 53:1; Yok 12:37, 38
  • +Is 62:11; Kub 22:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2019, lup. 5-6

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 27

Isaaya 40:11

Footnotes

  • *

    Oba, “ajja kulunda.”

Marginal References

  • +Is 49:10; Ezk 34:15, 16; 1Pe 2:25
  • +Lub 33:13; 1Pe 5:2, 3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2019, lup. 7

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 20-21, 68-70

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2013, lup. 27

    4/1/2007, lup. 27

    7/1/2003, lup. 18

    9/1/1993, lup. 21

Isaaya 40:12

Footnotes

  • *

    Ebbanga eririwo okuva ku mutwe gw’ekigalo ekisajja okutuuka ku mutwe gwa nnaswi ng’engalo zanjuluziddwa. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Nge 30:4
  • +Yob 38:4, 5

Isaaya 40:13

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “eyali ategedde.”

Marginal References

  • +Yob 36:22, 23; Bar 11:34; 1Ko 2:16

Isaaya 40:14

Marginal References

  • +Zb 147:5

Isaaya 40:15

Marginal References

  • +Zb 62:9

Isaaya 40:17

Marginal References

  • +Dan 4:35
  • +Is 41:11, 12

Isaaya 40:18

Marginal References

  • +Kuv 8:10; Zb 86:8; Yer 10:6, 7
  • +Ma 4:15, 16; Bik 17:29

Isaaya 40:19

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisaanuuse.”

Marginal References

  • +Zb 115:4-8

Isaaya 40:20

Marginal References

  • +Is 44:14, 15
  • +Is 41:7; 46:6, 7; Yer 10:3, 4

Isaaya 40:21

Marginal References

  • +Zb 19:1; Bar 1:20

Isaaya 40:22

Marginal References

  • +Is 66:1
  • +Is 44:24; Yer 10:12; Zek 12:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 1 2018 lup. 6

    Okumanya, lup. 17

Isaaya 40:23

Footnotes

  • *

    Oba, “N’abafuzi.”

Isaaya 40:24

Marginal References

  • +1Sk 21:20, 21; 2Sk 10:10, 11; Yer 22:24, 30

Isaaya 40:26

Marginal References

  • +Zb 102:25
  • +Zb 147:4
  • +Zb 89:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2018, lup. 8

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 50-51

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2011, lup. 6-7

    4/1/1996, lup. 13-14

Isaaya 40:27

Marginal References

  • +Is 49:14; Ezk 37:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 5

Isaaya 40:28

Footnotes

  • *

    Oba, “tekutegeerekeka.”

Marginal References

  • +Lub 21:33; Zb 90:2; Yer 10:10; 1Ti 1:17
  • +Zb 121:4; Is 27:3
  • +Zb 139:4, 6; 147:5; Is 55:9; Bar 11:33; 1Ko 2:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2018, lup. 8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2012, lup. 16

Isaaya 40:29

Marginal References

  • +Zb 29:11; Is 40:26; Baf 4:13; Beb 11:33, 34

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2018, lup. 8-9

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    5/2007, lup. 1

Isaaya 40:30

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2018, lup. 9

Isaaya 40:31

Marginal References

  • +Zb 103:5
  • +1Sk 18:46; Zb 84:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2018, lup. 9

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    1/2017, lup. 6

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 6 2016 lup. 9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1995, lup. 18-23

General

Is. 40:1Is 49:13; 51:3; 2Ko 1:3, 4
Is. 40:2Zb 79:8, 9; Yer 31:34; 33:8
Is. 40:2Yer 16:18; Dan 9:11, 12
Is. 40:3Is 35:8; 57:14; Mal 3:1
Is. 40:3Is 11:16
Is. 40:3Mat 3:1, 3; Mak 1:2-4; Luk 3:3-6; Yok 1:23
Is. 40:4Is 42:16
Is. 40:5Is 24:15
Is. 40:5Is 49:6; 52:10
Is. 40:6Yob 14:1, 2; Zb 90:5, 6
Is. 40:7Yak 1:11
Is. 40:7Zb 103:15, 16
Is. 40:8Is 46:10; 1Pe 1:24, 25
Is. 40:9Is 52:7
Is. 40:9Is 12:2; 25:9
Is. 40:10Is 53:1; Yok 12:37, 38
Is. 40:10Is 62:11; Kub 22:12
Is. 40:11Is 49:10; Ezk 34:15, 16; 1Pe 2:25
Is. 40:11Lub 33:13; 1Pe 5:2, 3
Is. 40:12Nge 30:4
Is. 40:12Yob 38:4, 5
Is. 40:13Yob 36:22, 23; Bar 11:34; 1Ko 2:16
Is. 40:14Zb 147:5
Is. 40:15Zb 62:9
Is. 40:17Dan 4:35
Is. 40:17Is 41:11, 12
Is. 40:18Kuv 8:10; Zb 86:8; Yer 10:6, 7
Is. 40:18Ma 4:15, 16; Bik 17:29
Is. 40:19Zb 115:4-8
Is. 40:20Is 44:14, 15
Is. 40:20Is 41:7; 46:6, 7; Yer 10:3, 4
Is. 40:21Zb 19:1; Bar 1:20
Is. 40:22Is 66:1
Is. 40:22Is 44:24; Yer 10:12; Zek 12:1
Is. 40:241Sk 21:20, 21; 2Sk 10:10, 11; Yer 22:24, 30
Is. 40:26Zb 102:25
Is. 40:26Zb 147:4
Is. 40:26Zb 89:13
Is. 40:27Is 49:14; Ezk 37:11
Is. 40:28Lub 21:33; Zb 90:2; Yer 10:10; 1Ti 1:17
Is. 40:28Zb 121:4; Is 27:3
Is. 40:28Zb 139:4, 6; 147:5; Is 55:9; Bar 11:33; 1Ko 2:16
Is. 40:29Zb 29:11; Is 40:26; Baf 4:13; Beb 11:33, 34
Is. 40:31Zb 103:5
Is. 40:311Sk 18:46; Zb 84:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 40:1-31

Isaaya

40 “Mubudeebude abantu bange; mubabudeebude,” Katonda wammwe bw’agamba.+

 2 “Mwogere ne Yerusaalemi mu ngeri ey’ekisa,*

Era mumugambe nti emirimu gye egy’obuwaze giwedde,

Era nti takyaliko musango.+

Yakuwa amubonerezza mu bujjuvu olw’ebibi bye byonna.”+

 3 Eddoboozi ery’omwanguka ery’oyo ayogerera mu ddungu ligamba nti:

“Mwerule* ekkubo lya Yakuwa!+

Mukolere Katonda waffe oluguudo olutereevu+ oluyita mu ddungu.+

 4 Buli kiwonvu kijjuzibwe,

Na buli lusozi n’akasozi biseetezebwe.

Ekifo ekirimu ebisirikko kijja kufuuka kitereevu,

N’ekifo ekitali kitereevu kijja kufuuka kya museetwe.+

 5 Ekitiibwa kya Yakuwa kijja kubikkulwa,+

Era abantu bonna bajja kukiraba,+

Kubanga akamwa ka Yakuwa ke koogedde.”

 6 Wulira! Waliwo agamba nti: “Langirira!”

Omulala n’abuuza nti: “Kiki kye mba nnangirira?”

“Abantu bonna balinga omuddo.

Era okwagala kwabwe kwonna okutajjulukuka kulinga ekimuli eky’oku ttale.+

 7 Omuddo gukala,

Ekimuli kiwotoka,+

Kubanga omukka* gwa Yakuwa gubifuuwa.+

Mazima ddala abantu muddo buddo.

 8 Omuddo gukala,

Ekimuli kiwotoka,

Naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerawo emirembe gyonna.”+

 9 Genda ku lusozi oluwanvu,

Ggwe omukazi aleetera Sayuuni amawulire amalungi.+

Yimusa eddoboozi lyo oyogeze maanyi,

Ggwe omukazi aleetera Yerusaalemi amawulire amalungi.

Yogerera waggulu, totya.

Langirira eri ebibuga bya Yuda nti: “Katonda wammwe+ wuuno.”

10 Laba! Yakuwa Mukama Afuga Byonna ajja kujja n’amaanyi,

Era omukono gwe gujja kufuga.+

Laba! Alina empeera,

Era empeera gy’asasula eri mu maaso ge.+

11 Okufaananako omusumba, ajja kulabirira* ekisibo kye.+

Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe,

Era ajja kuzisitulira mu kifuba kye.

Ajja kukulembera n’obwegendereza ezo eziyonsa.+

12 Ani yali apimye amazzi gonna agali mu nnyanja mu kibatu kye+

Era eyali apimye eggulu n’oluta lw’engalo ze?*

Ani yali akuŋŋaanyizza enfuufu y’ensi mu kigera+

Oba eyali apimye ensozi ku minzaani

N’obusozi ku kipima?

13 Ani eyali apimye* omwoyo gwa Yakuwa,

Era ani ayinza okuba omuwabuzi we n’amuyigiriza?+

14 Ani gwe yeebuuzaako asobole okutegeera,

Oba ani amuyigiriza mu kkubo ery’obwenkanya,

Oba ani amuyigiriza asobole okufuna okumanya,

Oba ani amulaga ekkubo ery’okutegeera okutuufu?+

15 Laba! Amawanga galinga ettondo ly’amazzi eriri mu kalobo,

Era ng’olufufugge oluli ku minzaani.+

Laba! Asitula ebizinga ng’asitula enfuufu.

16 N’emiti gy’omu Lebanooni gyonna tegisobola kuvaamu nku zimala,

N’ensolo zaamu ez’omu nsiko tezimala kuba kiweebwayo ekyokebwa.

17 Mu maaso ge amawanga gonna galinga ekintu ekitaliiwo;+

Agatwala ng’ekintu ekitaliimu nsa.+

18 Katonda muyinza kumugeraageranya ku ani?+

Kiki kye muyinza okumufaananya?+

19 Omukozi akola ekifaananyi eky’ekyuma,*

Omuweesi n’akibikkako zzaabu+

Era n’akola obujegere obwa ffeeza.

20 Yeeroboza omuti gw’anaawaayo,+

Omuti ogutayinza kuvunda.

Anoonya omukozi omukugu

Okukola ekifaananyi ekyole ekiyinza okuyimirira ne kitagwa.+

21 Temumanyi?

Temuwuliranga?

Tekyababuulirwa okuva ku lubereberye?

Temwakitegeera okuva emisingi gy’ensi lwe gyateekebwawo?+

22 Waliwo abeera waggulu w’ensi enneetooloovu,+

Era abagibeeramu balinga amayanzi.

Abamba eggulu ng’olutimbe olw’oluwewere,

Era alyanjuluza nga weema ey’okubeeramu.+

23 Abakungu abaggyako obuyinza,

N’abalamuzi* b’ensi abafuula ng’ekintu ekitaliimu nsa.

24 Baba baakasimbibwa,

Baba baakasigibwa,

Ekikolo kyabwe kiba tekinnasimba mirandira mu ttaka,

Ne bafuuyibwako empewo ne bakala,

Era embuyaga n’ebafuumuula ng’ebisubi.+

25 “Ani gwe muyinza okunfaananya? Ani annenkana?” Omutukuvu bw’agamba.

26 “Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe.

Ani yatonda ebintu ebyo?+

Y’Oyo aggyayo eggye lyabyo okusinziira ku muwendo gwabyo;

Byonna abiyita amannya.+

Olw’amaanyi ge amangi ennyo n’olw’amaanyi ge agawuniikiriza,+

Tewali na kimu ku byo kibulako.

27 Ggwe Yakobo, kiki ekikwogeza, era ggwe Isirayiri lwaki ogamba nti,

‘Ekkubo lyange Yakuwa limukwekeddwa,

Era Katonda si mwenkanya gye ndi’?+

28 Tomanyi? Towuliranga?

Yakuwa Omutonzi w’ensi yonna ye Katonda ow’emirembe n’emirembe.+

Takoowa era tatendewalirwa.+

Okutegeera kwe tekunoonyezeka.*+

29 Oyo akooye amuwa amaanyi,

N’abo abatalina maanyi abawa amaanyi mangi nnyo.+

30 Abalenzi bajja kukoowa era batendewalirwe,

N’abavubuka bajja kwesittala bagwe,

31 Naye abo abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa bajja kuddamu okufuna amaanyi.

Bajja kutumbiira waggulu nga balinga abalina ebiwaawaatiro by’empungu.+

Bajja kudduka naye nga tebaggwaamu maanyi;

Bajja kutambula naye nga tebakoowa.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share