OLUYIMBA 22
Obwakabaka Bwassibwawo—Ka Bujje!
Printed Edition
	- 1. Yakuwa, ggwe obeerawo - Emirembe gyonna. - Walonda dda Omwana wo - Okuba Kabaka. - Wateekawo ’Bwakabaka; - Bwa kufuga ensi yonna. - (CHORUS) - Obwakabaka bwo - Bwatandika okufuga, - Kuba bwassibwawo. - Kati tusaba nti: “Bujje.” 
- 2. Ye Sitaani asigazza - ’Kaseera katono. - Bino biseera bya nnaku, - Eby’essanyu bijja. - Wateekawo ’Bwakabaka; - Bwa kufuga ensi yonna. - (CHORUS) - Obwakabaka bwo - Bwatandika okufuga, - Kuba bwassibwawo. - Kati tusaba nti: “Bujje.” 
- 3. Bamalayika mu ggulu - Bayimba n’essanyu. - Sitaani Omulyolyomi - Yagobwa mu ggulu. - Wateekawo ’Bwakabaka; - Bwa kufuga ensi yonna. - (CHORUS) - Obwakabaka bwo - Bwatandika okufuga, - Kuba bwassibwawo. - Kati tusaba nti: “Bujje.” 
(Laba ne Dan. 2:34, 35; 2 Kol. 4:18.)