Abalala bwe Bakutunuulira Bakuyigirako Ki?
1. Abayigirizwa ba Yesu bwe baamutunuulira baamuyigirako ki?
1 Yesu yagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze.” (Mat. 11:29) Awatali kubuusabuusa, teyayogeranga bwogezi wabula yayigirizanga abalala ng’abateerawo ekyokulabirako ekirungi. Lowooza ku ekyo abayigirizwa be kye baamuyigirako nga bamutunuulira. Yali mukkakkamu, wa kisa, era ng’alina okwagala. (Mat. 8:1-3; Mak. 6:30-34) Yali muwombeefu nnyo. (Yok. 13:2-5) Abayigirizwa ba Yesu bwe baabanga bagenze naye mu buweereza, baalabanga nti mukozi mulungi era munyiikivu ng’ayigiriza abalala amazima. (Luk. 8:1; 21:37, 38) Abalala bakwatibwako batya bwe batutunuulira nga tuli mu buweereza bw’ennimiro?
2. Mu ngeri ki endabika n’enneeyisa yaffe ennungi gye biwa ekifaananyi ekirungi abo be tubuulira?
2 Be Tubuulira: Bwe twambala obulungi, ne tweyisa bulungi, era ne tufaayo ku bantu kirina kinene nnyo kye kikola ku abo be tubuulira. (2 Kol. 6:3; Baf. 1:27) Abalala bakwatibwako nnyo bwe balaba nti tukozesa Baibuli buli kiseera, tubawa ekitiibwa era tubawuliriza bwe baba boogera. Kikulu nnyo okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri ezo ez’enjawulo kubanga kiyinza okusikiriza abantu okuwuliriza obubaka bw’obwakabaka.
3. Ekyokulabirako kyaffe ekirungi kiyinza kitya okuyamba baganda baffe?
3 Baganda Baffe: Era lowooza ku ngeri ekyokulabirako kyaffe ekirungi gye kiyinza okuyambamu baganda baffe. Obunyiikivu bwaffe mu buweereza buyinza okukubiriza abalala okubeera abanyiikivu. Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, ennyanjula zaffe ezitegekeddwa obulungi zikubiriza abalala okulongoosa mu ngeri gye babuuliramu. (Nge. 27:17) Bwe tufuba okuwandiika ebikwata ku abo ababa balaze okusiima era ne tubaddira mangu ddala, kikubiriza abalala okukola kye kimu. Bwe tutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu kijja kukubiriza babuulizi bannaffe okugoberera ekyokulabirako kyaffe ekirungi.—2 Tim. 4:5.
4. Lwaki twetaaga buli kiseera okufumiitiriza ku kyokulabirako kye tuteerawo abalala?
4 Lwaki buli luvannyuma lw’ekiseera tofumiitiriza ku ebyo by’okola, by’oyogera, n’ekyokulabirako ky’oteerawo abalala? Ekyokulabirako kyaffe ekirungi kijja kusanyusa Yakuwa era kitusobozese okwogera ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.”—1 Kol. 11:1.