Kkiriza Yakuwa Okukubumba
“Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go, era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.”—ZAB. 73:24.
1, 2. (a) Kiki kye tulina okukola okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa? (b) Okwekenneenya engeri abantu abatali bamu aboogerwako mu Bayibuli gye beeyisaamu nga Katonda abakangavvudde, kinaatuganyula kitya?
“KIRUNGI nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange.” (Zab. 73:28) Ebigambo ebyo biraga nti omuwandiisi wa Zabbuli yali yeesiga Katonda. Kiki ekyamuleetera okwogera ebigambo ebyo? Bwe yali tannayogera bigambo ebyo, omuwandiisi wa Zabbuli yalaba abantu ababi nga balabika ng’abalina emirembe, era n’abakwatirwa obuggya. Yagamba nti: “Nnongooserezza bwereere omutima gwange, ne nnaaba mu ngalo zange n’obutayonoona.” (Zab. 73:2, 3, 13, 21) Kyokka bwe yagenda “mu watukuvu wa Katonda,” yakyusa endowooza ye n’asobola okusigala ng’alina enkolagana ennungi ne Katonda. (Zab. 73:16-18) Ekyo kyayamba omusajja oyo eyali atya Katonda okukitegeera nti: Omuntu okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, alina okubeera awamu n’abantu be, okukkiriza amagezi g’amuwa, n’okugakolerako.—Zab. 73:24.
2 Naffe twagala okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda ow’amazima. N’olwekyo, kikulu nnyo okukkiriza Yakuwa okutuwabula oba okutukangavvula. Bwe tukola tutyo, Yakuwa ajja kutubumba, kwe kugamba, ajja kutuyamba okufuuka abantu abasiimibwa mu maaso ge. Mu biseera by’edda, Katonda aliko abantu abatali bamu n’amawanga agatali gamu be yawa akakisa okukolera ku kukangavvula kwe yali abawadde. Ebikwata ku ngeri gye beeyisaamu nga Katonda abakagavvudde byawandiikibwa mu Bayibuli “okutuyigiriza” ‘n’okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’omulembe guno.’ (Bar. 15:4; 1 Kol. 10:11) Mu kitundu kino tujja kulaba ebimu ku byokulabirako ebyo. Ekyo kijja kutuyamba okutegeera obulungi endowooza ya Yakuwa n’engeri gye tuyinza okuganyulwa singa tumukkiriza okutubumba.
ENGERI OMUBUMBI GY’AKOZESAAMU OBUYINZA BWE
3. Ebigambo ebiri mu Isaaya 64:8 ne Yeremiya 18:1-6 biraga bitya obuyinza Katonda bw’alina ku bantu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 24.)
3 Bayibuli egeraageranya Yakuwa ku mubumbi, kubanga Yakuwa alina obuyinza ku bantu ne ku mawanga. Isaaya 64:8 wagamba nti: ‘Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe oli Mubumbi waffe; naffe ffenna tuli mulimu gwa mukono gwo.’ Omubumbi aba n’eddembe okukozesa ebbumba okubumba ekintu kyonna ky’aba ayagala. Ebbumba terisobola kulagira mubumbi kya kulibumbamu. Bwe kityo bwe kiri n’eri omuntu ne Katonda. Omuntu talina buyinza kulagira Katonda ngeri gy’ayagala abumbibwemu, nga n’ebbumba bwe litasobola kulagira mubumbi kintu ki lye kyagala alibumbemu.—Soma Yeremiya 18:1-6.
4. Yakuwa akaka abantu oba amawanga okumukkiriza okubabumba? Nnyonnyola.
4 Yakuwa yabumba Abaisiraeri ng’omubumbi bw’abumba ekintu mu bbumba. Naye Yakuwa ayawukana atya ku mubumbi? Yakuwa awa abantu n’amawanga eddembe ly’okwesalirawo. Yakuwa tabumba bantu bamu nga balungi ate abalala n’ababumba nga babi. Ate era takozesa buyinza bwe kukaka bantu kumugondera. Mu kifo ky’ekyo, awa abantu eddembe okwesalirawo obanga banaamukkiriza okubabumba.—Soma Yeremiya 18:7-10.
5. Abantu bwe bagaana okukkiriza Yakuwa okubabumba, kiki ky’akola?
5 Watya singa omuntu agaana okukkiriza Yakuwa, Omubumbi Omukulu, okumubumba? Mu mbeera ng’eyo, Yakuwa akozesa atya obuyinza bwe? Lowooza ku ekyo ekiyinza okubaawo singa omubumbi akiraba nti ebbumba ly’alina tasobola kulibumbamu kintu ky’aba ayagala okubumba. Omubumbi ayinza okusalawo okulibumbamu ekintu ekirala oba si ekyo, ayinza okusalawo okulisuula. Ebbumba bwe lyonooneka, ebiseera ebisinga obuzibu buba buvudde ku mubumbi. Kyokka ye Omubumbi waffe Omukulu bulijjo abumba abantu mu ngeri entuufu. (Ma. 32:4) Omuntu bw’agaana Yakuwa okumubumba, obuzibu buba ku muntu oyo, so si ku Yakuwa. Yakuwa asobola okukyusa mu ngeri gy’abumbamu abantu okusinziira ku ngeri gye beeyisaamu ng’ababumba. Abo abakkiriza Yakuwa okubabumba nga bw’ayagala, bafuuka ba mugaso gy’ali. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘bibya eby’okusaasira,’ ebibumbiddwa okuba ‘ebibya eby’ekitiibwa.’ Ku luuyi olulala, abo abagaana Katonda okubabumba bafuuka “ebibya eby’obusungu ebigwanidde okuzikirizibwa.”—Bar. 9:19-23.
6, 7. Engeri Kabaka Dawudi gye yeeyisaamu nga Yakuwa amuwabudde eyawukana etya ku ngeri Kabaka Sawulo gye yeeyisaamu?
6 Yakuwa asobola okubumba abantu ng’abawabula oba ng’abakangavvula. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yabumbamu bakabaka ba Isiraeri ababiri abaasooka, Sawulo ne Dawudi. Kabaka Dawudi bwe yayenda ku Basuseba, yeereetera ebizibu era n’abireetera n’abalala. Wadde nga Dawudi yali kabaka, Yakuwa yamukangavvula. Yatuma nnabbi Nasani okulaga Dawudi ensobi ye. (2 Sam. 12:1-12) Dawudi yeeyisa atya? Yawulira bubi nnyo era ne yeenenya. Olw’okuba Dawudi yeenenya, Katonda yamusonyiwa.—Soma 2 Samwiri 12:13.
7 Kyokka ye Kabaka Sawulo yagaana Yakuwa okumuwabula. Okuyitira mu nnabbi Samwiri, Yakuwa yagamba Sawulo okugenda mu kibuga ky’Abamaleki atte abantu bonna n’ebisolo byabwe byonna. Kyokka Sawulo yajeemera Yakuwa. Yawonyawo Agagi, kabaka w’Abamaleki, awamu n’ebisolo ebyali bisinga obulungi. Lwaki? Kiyinzika okuba nti yali ayagala kwenoonyeza ttutumu. (1 Sam. 15:1-3, 7-9, 12) Yakuwa bwe yatuma Samwiri okuwabula Sawulo, Sawulo yandibadde akkiriza Omubumbi Omukulu okumutereeza. Mu kifo ky’ekyo, yeewolereza ng’agamba nti yawonyaawo ebisolo ebisinga obulungi olw’okuba yali ayagala kubiwaayo nga ssaddaaka eri Yakuwa. Yakuwa yaggyako Sawulo obwakabaka, era Sawulo teyaddamu kuba na nkolagana nnungi ne Katonda ow’amazima.—Soma 1 Samwiri 15:13-15, 20-23.
Sawulo yagaana Yakuwa okumutereeza. Yagaana Yakuwa okumubumba! (Laba akatundu 7)
Dawudi yawulira bubi nnyo era yakkiriza Yakuwa okumutereeza. Yakkiriza Katonda okumubumba. Naawe bw’otyo bw’oli? (Laba akatundu 6)
KATONDA TASOSOLA
8. Engeri eggwanga lya Isiraeri gye lyeyisaamu nga Yakuwa alibumba etuyigiriza ki?
8 Yakuwa era awa n’amawanga akakisa okumukkiriza okugabumba. Mu 1513 E.E.T., Abaisiraeri, abaali banunuliddwa okuva mu buddu e Misiri, Yakuwa yakola nabo endagaano. Baafuka eggwanga lye eddonde era n’abasuubiza okubabumba. Kyokka, Abaisiraeri beeyongera okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, ne batuuka n’okusinza bakatonda b’amawanga agaali gabeetoolodde. Emirundi mingi, Yakuwa yatuma bannabbi be okukubiriza Abaisiraeri okutereeza amakubo gaabwe, naye ne bagaana okubawuliriza. (Yer. 35:12-15) Olw’okuba Abaisiraeri baajeemera Yakuwa, yababonereza. Okufaananako ebibya ebigwanidde okuzikirizibwa, obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi bwawambibwa Abasuuli ate bwo obwakabaka bwa Yuda ne buwambibwa Abababulooni. Ekyo kirina ekintu ekikulu kye kituyigiriza. Tetusobola kufuna miganyulo egiva mu kubumbibwa Yakuwa okuggyako nga tumukkirizza okutubumba.
9, 10. Kiki abantu b’omu Nineeve kye baakola nga Yakuwa abalabudde?
9 Abantu b’omu Nineeve, ekibuga kya Bwasuli ekikulu, nabo Yakuwa yabawa akakisa okumukkiriza okubabumba. Yakuwa yagamba Yona nti: “Golokoka, ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire; kubanga obubi bwabwe bulinnye butuuse mu maaso gange.” Nineeve kyali kigwana okuzikirizibwa.—Yon. 1:1, 2; 3:1-4.
10 Kyokka, Yona bwe yalangirira obubaka obw’omusango, “abantu ab’omu Nineeve [bakkiriza] Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto.” Ne kabaka waabwe bwe yawulira ebigambo bya Yona, yasituka ku ntebe ye ey’obwakabaka “n’ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n’atuula mu vvu.” Abantu b’omu Nineeve bakkiriza Yakuwa okubabumba era ne beenenya. N’ekyavaamu, Yakuwa teyazikiriza kibuga ekyo.—Yon. 3:5-10.
11. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri ne Nineeve?
11 Wadde ng’Abaisiraeri baali mu ggwanga lya Katonda eddonde, Yakuwa yababonereza. Abantu b’omu Nineeve bo tebaali mu ggwanga lya Katonda eddonde, naye bakkiriza Yakuwa okubabumba. N’ekyavaamu, Yakuwa yabasonyiwa era n’atazikiriza kibuga kyabwe. Ebyokulabirako ebyo ebibiri biraga nti Yakuwa Katonda waffe “tasosola.”—Bar. 2:11.
YAKUWA SI MUKAKANYAVU
12, 13. (a) Lwaki engeri abantu gye beeyisaamu nga Yakuwa ababumba emuleetera okukyusa mu ekyo ky’aba ategese okukola? (b) Yakuwa “yejjusa” atya ku Sawulo, era “yejjusa” atya ku Nineeve?
12 Engeri abantu gye beeyisaamu nga Yakuwa ababumba esobola okumuleetera okukyusa mu ekyo ky’aba ategese okukola. Ekyo kiri kityo olw’okuba Yakuwa si mukakanyavu. Bayibuli egamba nti Yakuwa yejjusa olw’okuba yali yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri. (1 Sam. 15:11) N’abantu b’omu Nineeve bwe beenenya ne baleka ebikolwa byabwe ebibi, “Katonda [yejjusa] obubi bwe yali ayogedde okubakola; n’atabubakola.”—Yon. 3:10.
13 Bayibuli bw’egamba nti Yakuwa “yejjusa,” eba etegeeza nti Yakuwa yakyusa endowooza gye yalina ku muntu oba nti yakyusa ekyo kye yali ateekateeka okukola. Yakuwa yali alonze Sawulo okuba kabaka wa Isiraeri, naye Sawulo bwe yamujeemera, Yakuwa yamuggyako obwakabaka. Okuba nti Yakuwa yaggyako Sawulo obwakabaka, tekitegeeza nti yali yakola nsobi okumulonda okuba kabaka wa Isiraeri. Naye yamuggyako obwakabaka olw’okuba yamujeemera. N’abantu b’omu Nineeve bwe beenenya, Katonda ow’amazima yejjusa, mu ngeri nti yakyusa ekyo kye yali ateeseteese okukola, n’atabazikiriza. Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa, Omubumbi waffe Omukulu, si mukakanyavu, wa kisa, era nti mwetegefu okukyusa mu ekyo ky’aba ategese okukola singa abantu ababi bakyusa enneeyisa yaabwe!
KKIRIZA YAKUWA OKUKUKANGAVVULA
14. (a) Katonda atubumba atya leero? (b) Tusaanidde kweyisa tutya nga Katonda atubumba?
14 Leero Yakuwa akozesa Ekigambo kye, Bayibuli, n’ekibiina kye okutubumba. (2 Tim. 3:16, 17) N’olwekyo, tusaanidde okumukkiriza okutuwabula n’okutukangavvula okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye. Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tubatiziddwa oba nga tulina nkizo ki mu kibiina, ffenna tusaanidde okukkiriza Yakuwa okututereeza tusobole okufuuka ebibya eby’ekitiibwa.
15, 16. (a) Omuntu ayinza kuwulira atya ng’akangavvuddwa era n’afiirwa n’enkizo mu kibiina? Waayo ekyokulabirako. (b) Kiki ekiyinza okutuyamba obutaggwaamu maanyi nga tukangavvuddwa?
15 Ebiseera ebimu Yakuwa atubumba ng’atuyigiriza oba ng’atutereeza. Naye oluusi bwe tuba tukoze ensobi, tuba twetaaga okukangavvulwa okw’amaanyi. Tuyinza n’okufiirwa enkizo zaffe. Lowooza ku Dennisa eyali aweereza ng’omukadde mu kibiina. Yakangavvulwa olw’obutakolera ku misingi gya Bayibuli ng’akola bizineesi. Dennis yawulira atya lwe baalangirira mu kibiina nti yali takyaweereza ng’omukadde? Agamba nti: “Nnawulira ng’eyali takyalina mugaso. Mu myaka 30 gye nnali mmaze nga mpeereza Yakuwa, nnali nfuniddemu enkizo nnyingi. Nnaweerezaako nga payoniya owa bulijjo, nnaweerezaako ku Beseri, nnaweerezaako ng’omuweereza mu kibiina era oluvannyuma ne nnondebwa okuweereza ng’omukadde. Ate era nnali nnaakawa emboozi yange esooka ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Kyokka, enkizo zonna ze nnalina nnazifiirwa. Nnawulira nga nswadde era nnali mpulira nga sikyalina mugaso mu kibiina.”
16 Dennis yali yeetaaga okukyusa enneeyisa ye. Naye kiki ekyamuyamba obutaggwaamu maanyi? Agamba nti teyalekera awo kusoma Bayibuli, kugenda mu nkuŋŋaana, n’okubuulira. Ab’oluganda mu kibiina nabo baamuzzaamu nnyo amaanyi, era n’ebintu bye yasoma mu bitabo byaffe byamuyamba nnyo. Yagattako nti: “Ekitundu ekyalina omutwe ‘Wali Obaddeko n’Enkizo? Wandyagadde Okuddamu Okugifuna?’ ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2009, kyali ng’ebbaluwa Yakuwa gye yali ampandiikidde ng’addamu okusaba kwange. Mu kitundu ekyo mwalimu amagezi gano amalungi ennyo: ‘Mu kiseera kino nga tolina nkizo mu kibiina, fuba okunyweza enkolagana yo ne Katonda.’” Dennis yaganyulwa atya mu kukangavvulwa okwamuweebwa? Agamba nti: ‘Oluvannyuma lw’ekiseera, nnaddamu okuweereza ng’omuweereza mu kibiina.’
17. Okugoba omwonoonyi mu kibiina kiyinza kumuganyula kitya? Waayo ekyokulabirako.
17 Okugoba omwonoonyi mu kibiina, ye ngeri endala Yakuwa gy’akangavvulamu abantu be. Kiyamba ekibiina okusigala nga kiyonjo era kiyamba n’omwonoonyi okwenenya. (1 Kol. 5:6, 7, 11) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Robert eyamala emyaka kumpi 16 ng’agobeddwa mu kibiina. Ebbanga lyonna lye yamala ng’agobeddwa mu kibiina, bazadde be ne baganda be baanywerera ku misingi gya Bayibuli ne beewala okukolagana naye wadde okumulamusa. Kati wayiseewo ekiseera nga Robert akomyewo mu kibiina era akulaakulana mu by’omwoyo. Bwe yabuuzibwa kiki ekyamuyamba okukomawo mu kibiina, yagamba nti ekimu ku bintu ebyamuyamba kwe kuba nti bazadde be ne baganda be baagaana okukolagana naye. Robert agamba nti: ‘Singa bazadde bange ne baganda bange baasigala nga bakolagana nange wadde akatono bwe kati, ekyo kyandibadde kimmala, era oboolyawo sandisikiriziddwa kwagala kudda eri Katonda.’
18. Tusaanidde kweyisa tutya ng’Omubumbi Omukulu atubumba?
18 Ffe tuyinza obutakangavvulwa mu ngeri eyo, naye tusaanidde okulowooza ku ngeri gye tuneeyisaamu ng’Omubumbi Omukulu atubumba oba ng’atukangavvudde. Tuneeyisa tutya? Tuneeyisa nga Dawudi oba tuneeyisa nga Sawulo? Kikulu okukijjukira nti Yakuwa, Omubumbi Omukulu, ye Kitaffe. Ate era tetusaanidde kwerabira nti Yakuwa “gw’ayagala gw’anenya.” N’olwekyo, ‘tonyoomanga kubuulirira kwa Yakuwa, so n’okunenya kwe kulemenga okukukooya.’—Nge. 3:11, 12.
a Amannya gakyusiddwa.