Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
MAAYI 2-8
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 27-29
“Enteekateeka ya Dawudi ey’Olutalo”
it-1-E lup. 41
Akisi
Dawudi bwe yali ng’adduka Sawulo, emirundi ebiri yaddukira mu kitundu ekyali kifugibwa Kabaka Akisi. Ku mulundi ogwasooka, Akisi bwe yeekengera Dawudi okuba omulabe we, Dawudi yeefuula ng’omutabufu w’omutwe era Akisa n’amuleka n’agenda nga tamukozeeko kabi konna. (1Sa 21:10-15; Zb 34:obugambo obusooka; 56:obugambo obusooka) Ku mulundi ogw’okubiri, Dawudi yagenda eri Akisi ng’ali wamu n’abasajja abalwanyi 600 awamu n’ab’omu maka gaabwe, era Akisi n’abawa ekitundu ky’e Zikulagi. Mu kiseera eky’omwaka ogumu n’emyezi ena kye baamala nga bali e Zikulagi, Akisi yalowoozanga nti Dawudi n’abasajja be baalinga balumba bibuga bya Yuda, so nga Dawudi yalumbanga Bagesuli, Bagiruzi, n’Abamaleki, n’anyaga ebitundu byabwe. (1Sa 27:1-12) Akisi yakkiriza ekyo Dawudi n’abasajja be kye baamugambanga nti baabanga balumbye bibuga bya Yuda, ne kiba nti yatuuka n’okumufuula omukuumi we, Abafirisuuti bwe baali bateekateeka okulumba Kabaka Sawulo. Kyokka ku ssaawa esembayo, “abaami” b’Abafirisuuti abalala ekyo baakigaana, era Dawudi n’abasajja be ne bagambibwa okuddayo e Zikulagi. (1Sa 28:2; 29:1-11) Dawudi bwe yafuuka kabaka n’alwanyisa abantu b’omu Gaasi, kirabika Akisi teyattibwa, kubanga Bayibuli eraga nti yali akyaliwo mu ne mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani.—1Sk 2:39-41; laba GAASI.
Ab’oluganda Abavubuka—Muyinza Mutya Okuleetera Abalala Okubeesiga?
8 Lowooza ku kusoomooza okulala Dawudi kwe yayolekagana nakwo. Oluvannyuma lw’okufukibwako amafuta okuba kabaka, Dawudi yalina okulindirira emyaka mingi nga tannafuulibwa kabaka wa Yuda mu butongole. (1 Sam. 16:13; 2 Sam. 2:3, 4) Kiki ekyayamba Dawudi okulindirira n’obugumiikiriza ekiseera ekyo kyonna? Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, Dawudi yeemalira ku ebyo bye yali asobola okukola mu kiseera ekyo. Ng’ekyokulabirako, bwe yali abeera mu kitundu ky’Abafirisuuti gye yali addukidde okufuna obubudamu, yakozesa ekiseera ekyo okulwanyisa abalabe ba Isirayiri. Mu kukola bw’atyo, yakuuma ensalo z’ekitundu kya Yuda.—1 Sam. 27:1-12.
it-2-E lup. 245 ¶6
Okulimba
Wadde nga Bayibuli evumirira okulimba, ekyo tekitegeeza nti singa omuntu abaako ebintu by’abuuzibwa naye ng’ababimubuuza tebateekeddwa kubimanya, alina okubibabuulira. Yesu yagamba nti: “Temuwanga mbwa kintu kitukuvu, wadde okusuulira embizzi luulu zammwe, zireme kuzirinnyirira ate oluvannyuma ne zikyuka ne zibaluma.” (Mat 7:6) Eyo ye nsonga lwaki emirundi egimu Yesu bwe baamubuuzanga ebibuuzo, teyabiddangamu butereevu oba teyababuuliranga byonna ebyabanga bizingirwamu, kasita kyabanga nti ekyo kyali kiyinza okuleetawo obuzibu. (Mat 15:1-6; 21:23-27; Yok 7:3-10) Kya lwatu, bwe kityo bwe kyali n’eri Ibulayimu, Isaaka, Lakabu, ne Erisa, bwe baagaana okubuulira abantu abaali batasinza Yakuwa ekituufu.—Lub 12:10-19; ssul 20; 26:1-10; Yos 2:1-6; Yak 2:25; 2Sk 6:11-23.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Abafu Basobola Okuyamba Abalamu?
Baibuli egamba nti omuntu bw’afa, ‘addayo mu ttaka’ era nti “ebirowoozo bye bisaanawo.” (Zabbuli 146:4) Sawulo ne Samwiri baali bakimanyi nti Katonda yali tayagala bantu be kukolagana na basamize. Era emabegako Sawulo ye yali awomye omutwe mu kumalawo abasamize abaali mu ggwanga lya Isirayiri.—Eby’Abaleevi 19:31.
Lowooza ku kino. Singa Samwiri yaliko w’ali nga mulamu, yandibadde amenya etteeka lya Katonda n’akolagana n’omusamize okusobola okwogera ne Sawulo? Yakuwa yali agaanye okwogera ne Sawulo. Omusamize yandisobodde okuwaliriza Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna okwogera ne Sawulo ng’ayitira mu Samwiri eyali afudde? Nedda. Kya lwatu, “Samwiri” oyo si ye yali nnabbi wa Katonda omwesigwa. Ogwo gwali mwoyo mubi, kwe kugamba dayimooni eyali yeefudde Samwiri eyafa.
MAAYI 9-15
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 30-31
“Funa Amaanyi olw’Obuyambi bwa Yakuwa Katonda Wo”
Tya Yakuwa—Beera Musanyufu!
12 Okutya Dawudi kwe yalina eri Yakuwa tekwakoma ku kumuziyiza kukola kikyamu kyokka, naye era kwamusobozesa n’okwoleka obuvumu n’amagezi ng’ali mu mbeera enzibu. Okumala omwaka gumu n’emyezi ena, Dawudi n’abasajja be badduka Sawulo ne beekweka e Zikulagi mu nsi y’Abafirisuuti. (1 Samwiri 27:5-7) Lumu abasajja nga tebali mu kibuga, Abamaleki baakizinda ne bakyokya ne batwala bakyala baabwe, abaana, era n’ebisibo byonna. Bwe baakomawo ne bategeera ekyali kibaddewo, Dawudi n’abasajja be baakaaba nnyo. Ennaku gye baalina yabaviirako okusunguwala era basajja ba Dawudi ne baagala n’okumukuba amayinja. Wadde Dawudi yanakuwala nnyo, teyaggwaamu maanyi. (Engero 24:10) Okutya Katonda kwamuleetera okwesiga Yakuwa era “yafuna amaanyi olw’obuyambi bwa Yakuwa Katonda we.” Dawudi n’abasajja be baawondera Abamaleki era ne bakomyawo byonna bye baali babanyazeeko.—1 Samwiri 30:1-20.
Yakuwa Atukuuma Tusobole Okufuna Obulokozi
14 Dawudi yayolekagana n’embeera enzibu nnyingi. (1 Sam. 30:3-6) Bayibuli eraga nti Yakuwa yali amanyi bulungi ebintu ebyali byeraliikiriza Dawudi. (Soma Zabbuli 34:18; 56:8.) Naffe Katonda amanyi bulungi ebitweraliikiriza. Bwe tuba ‘n’omutima ogumenyese,’ Yakuwa aba kumpi naffe. Ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi nga bwe kyazzaamu Dawudi amaanyi. Dawudi yagamba nti: “Nja kusanyuka nnyo olw’okwagala kwo okutajjulukuka, kubanga olabye obuyinike bwange; omanyi obulumi obw’amaanyi bwe ndimu.” (Zab. 31:7) Yakuwa amanyi bulungi ebitweraliikiriza. Atukuuma ng’atubudaabuda era ng’atuzzaamu amaanyi. Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu nkuŋŋaana zaffe.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka
30:23, 24. Ekyo ekyasalibwawo, ekituukana n’ebigambo ebiri mu Okubala 31:27, kiraga nti Yakuwa asiima obuweereza bwa buli omu mu kibiina. N’olwekyo, buli kye tukola, ka ‘tukikolenga n’omutima gwaffe gwonna ku lwa Yakuwa so si ku lw’abantu.’—Abakkolosaayi 3:23.
MAAYI 16-22
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 1-3
“Kiki Kye Tuyigira ku Luyimba Oluyitibwa ‘Omutego’?”
Musse Ekitiibwa mu Abo Abaweereddwa Obuyinza mu Mmwe
9 Dawudi yanakuwala bwe yali ng’ayisibwa obubi? Yagamba Yakuwa nti: “Abantu abakambwe baagala okusaanyaawo obulamu bwange.” (Zabbuli 54:3) Ate era yategeeza Yakuwa ekyamuli ku mutima. Yagamba nti: “Ai Katonda, mponya abalabe bange . . . Abasajja ab’amaanyi bannumba, naye si lwa kuba nti njeemye oba nti nnyonoonye, Ai Yakuwa. Badduka ne bateekateeka okunnumba. Bwe nkukoowoola, golokoka olabe.” (Zabbuli 59:1-4) Wali owuliddeko bw’otyo—nga tolina kibi ky’okoze muntu ali mu buyinza, naye n’akuyisa obubi? Dawudi teyalemererwa kussa kitiibwa mu Sawulo. Sawulo bwe yafa, mu kifo ky’okusanyuka, Dawudi yayiiya oluyimba olw’okukungubaga. Yagamba nti: “Sawulo ne Yonasaani, ababadde abaganzi era ababadde baagalibwa ennyo nga balamu, . . . babadde badduka ng’empungu, babadde ba maanyi okusinga empologoma. Mmwe abawala ba Isirayiri, mukaabire Sawulo.” (2 Samwiri 1:23, 24) Nga yateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okussa ekitiibwa ekya nnamaddala mu oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta, wadde nga Sawulo yayisa bubi Dawudi!
Okulyaŋŋanamu Enkwe Kucaase Nnyo Ennaku Zino!
8 Bayibuli era eyogera ne ku bantu bangi abaali abeesigwa. Ka tulabeyo babiri ku bo era tulabe n’ekyo kye tuyinza okubayigirako. Ka tusooke tulowooze ku Yonasaani, omusajja eyali omwesigwa eri Dawudi. Yonasaani ye yali mutabani wa Kabaka Sawulo omukulu era kirabika ye yali ajja okudda mu bigere bya kitaawe nga kabaka wa Isirayiri. Naye Yakuwa yalonda Dawudi okuba oyo eyandizze mu bigere bya Sawulo. Yonasaani yakkiriza ekyo Katonda kye yali asazeewo, era teyakwatirwa Dawudi buggya. Bayibuli egamba nti, “Yonasaani ne Dawudi ne bafuuka ba mukwano nnyo” era Yonasaani yeeyama okuba omwesigwa eri Dawudi. Yonasaani yatuuka n’okuwa Dawudi ebyambalo bye, ekitala kye, omutego gwe, n’omusipi gwe, bw’atyo n’alaga nti yali amuwadde ekitiibwa ekya waggulu. (1 Sam. 18:1-4) Yonasaani yakola kyonna ekisoboka okuzzaamu Dawudi amaanyi. Yatuuka n’okussa obulamu bwe mu kabi bwe yali agezaako okutangira Sawulo okutta Dawudi. Yonasaani yagamba Dawudi nti: “Ggwe ojja okuba kabaka wa Isirayiri nga nze nkuddirira mu buyinza.” (1 Sam. 20:30-34; 23:16, 17) Bwe kityo, tekyewuunyisa nti Yonasaani bwe yafa, Dawudi yayiiya oluyimba olwalaga nti yali ayagala nnyo mukwano gwe oyo era nti yali anakuwadde nnyo olw’okufa kwe.—2 Sam. 1:17, 26.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 369 ¶2
Ow’oluganda
Ekigambo “ow’oluganda” era kikozesebwa ku bantu abassa ekimu era abalina ekigendererwa kye kimu. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Kiramu owa Ttuulo yayita Kabaka Sulemaani muganda we, si lwa kuba nti bombi baalina ebitiibwa bye bimu n’ekifo kye kimu, wabula lwa kuba nti bombi baalina ekigendererwa kye kimu eky’okuleeta embaawo n’ebintu ebirala ebyandikozeseddwa mu kuzimba yeekaalu. (1Sk 9:13; 5:1-12) Dawudi yagamba nti: “Laba! Nga kirungi era nga kisanyusa ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!” Ekyo kitegeeza nti abantu okuba nga bazaalibwa wamu si kye kyokka ekibaviirako okuba mu mirembe n’okuba obumu. (Zb 133:1) Mu butuufu, okwagala Dawudi ne Yonasaani buli omu kwe yalina eri munne, n’olw’okuba nti bombi baali baagala ebintu bye bimu, kye kyaviirako Dawudi okuyita Yonasaani muganda we, so si lwa kuba nti bali bazaalibwa wamu. (2Sa 1:26) N’ab’emikwano abalina endowooza y’emu n’engeri ze zimu, ne bwe ziba nga mbi, kituukirawo okubayita ab’oluganda.—Nge 18:9.
MAAYI 23-29
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 4-6
“Weewalenga Okunyiiza Yakuwa”
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri eky’Okubiri
6:1-7. Wadde nga Dawudi yalina ebiruubirirwa ebirungi, bwe yagezaako okutwalira Essanduuko y’Endagaano ku ggaali, ebyavaamu tebyali birungi kubanga ekyo kyali kimenya etteeka lya Katonda. (Okuva 25:13, 14; Okubala 4:15, 19; 7:7-9) Uzza bwe yakwata ku Ssanduuko eyo nakyo kyalaga nti wadde ng’omuntu ayinza okukola ekintu ng’alina ekiruubirirwa ekirungi, ekyo tekikyusa mu ekyo Yakuwa ky’ayagala.
Bulijjo Yakuwa by’Akola Biba Bituufu
20 Kijjukire nti Uzza yali amanyi bulungi Amateeka. Essanduuko eyo yali ekiikirira okubeerawo kwa Yakuwa. Amateeka gaali gakyoleka bulungi nti yalina kukwatibwako abo bokka abaali bakkiriziddwa, era ne galabula nti omuntu yenna eyandigikutteko nga takkiriziddwa yandittiddwa. (Okubala 4:18-20; 7:89) N’olwekyo, okuggya essanduuko eyo entukuvu mu kifo ekimu okugizza mu kirala, bwali buvunaanyizibwa bwa maanyi. Uzza yali Muleevi (wadde nga teyali kabona), n’olwekyo ateekwa okuba nga yali amanyi bulungi Amateeka. Ng’oggyeko ekyo, Essanduuko eyo yali emaze emyaka egiwerako ng’ekuumirwa mu nnyumba ya kitaawe. (1 Samwiri 6:20–7:1) Yamalayo emyaka 70, okutuusa Dawudi lwe yasalawo okugiggyayo. N’olw’ensonga eyo, Uzza yali amanyi bulungi amateeka agakwata ku Ssanduuko okuviira ddala mu buto.
Bulijjo Yakuwa by’Akola Biba Bituufu
21 Nga bwe kyayogeddwako emabega, Yakuwa asobola okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu. Okuva bwe kiri nti ekyo Uzza kye yakola Bayibuli ekiyita ‘butawa tteeka lya Katonda kitiibwa,’ Yakuwa ateekwa okuba ng’alina ekiruubirirwa ekikyamu kye yamulabamu ekitaayogerwako mu nnyiriri ezo. Kyandiba nti Uzza yali muntu eyeetulinkiriza, ng’akola ekyo ky’atasaanidde kukola? (Engero 11:2) Kyandiba nti okukulembera mu lujjudde Essanduuko eyo amaka ge gye gaali gakuumidde mu kyama, kyamuleetera okuwulira nti wa kitalo nnyo? (Engero 8:13) Kyandiba nti Uzza teyalina kukkiriza nti Yakuwa asobola okuwanirira Essanduuko eyo entukuvu eyali ekiikirira okubeerawo kwe? Ka kibe ki ekyaliwo, tusobola okuba abakakafu nti ekyo Yakuwa kye yakola kyali kituufu. Ateekwa okuba ng’alina kye yalaba mu mutima gwa Uzza ekyamuleetera okumusalira omusango embagirawo.—Engero 21:2.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w96-E 4/1 lup. 29 ¶1
Bulijjo Tikkanga Yakuwa Omugugu Gwo
Olw’okuba Dawudi ye yali kabaka, naye yali avunaanyizibwa ku ekyo ekyaliwo. Engeri gye yeeyisaamu eraga nti n’abantu abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa oluusi bayinza obuteeyisa mu ngeri ya magezi bwe baba nga boolekagana n’okugezesebwa. Mu kusooka Dawudi yasunguwala, ate oluvannyuma n’atya. (2 Samwiri 6:8, 9) Obwesige bwe yalina mu Yakuwa bwagezesebwa. Ku luno yalemererwa okutikka Yakuwa omugugu gwe, bw’ataagondera biragiro bye. Ekyo nnaffe oluusi kiyinza okututuukako? Oluusi tunenya Yakuwa nga tufunye ebizibu ebiba bivudde mu butakolera ku bulagirizi bwe?—Engero 19:3.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
‘Ekiseera eky’Omusango Kituuse’!
14 Nga bwe tweyongera okuba obulindaala, biki bye tusuubira mu biseera eby’omu maaso? Ekitabo ky’Okubikkulirwa kitulaga ebintu nga bwe byandigenze biddiriŋŋana mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda. Bwe tuba nga twagala okusigala nga tuli beeteefuteefu, kikulu okukolera ku kulabula okuli mu kitabo ekyo. Obunnabbi obukirimu bulaga bulungi ebyo ebyandibaddewo mu “lunaku lwa Mukama waffe,” olwatandika mu 1914, Kristo bwe yatuuzibwa ku ntebe nga kabaka. (Okubikkulirwa 1:10) Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kitubuulira ku malayika alina “amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe.” Malayika oyo alangirira mu ddoboozi eddene nti: “Mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera kituuse asale omusango.” (Okubikkulirwa 14:6, 7) “Ekiseera” ekyo eky’okusala omusango kimpi, era kizingiramu ekiseera ky’okulangirira n’okutuukiririzaamu omusango ogwogeddwako mu bunnabbi. Ekiseera ekyo kye tulimu kati.
15 Ng’ekiseera ky’omusango tekinnaggwaako, tukubirizibwa nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa.” Kino kizingiramu ki? Okutya Katonda kwandituleetedde okwewala okukola ebintu ebibi. (Engero 8:13) Bwe tuba tuwa Katonda ekitiibwa, tujja kumugondera. Tetujja kubulwa biseera kusomanga Kigambo kye Bayibuli oba okubangawo mu nkuŋŋaana. (Abebbulaniya 10:24, 25) Tujja kugitwala nga nkizo okulangirira amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Masiya era tujja kugabuulira n’obunyiikivu. Tujja kwesiga Yakuwa ekiseera kyonna n’omutima gwaffe gwonna. (Zabbuli 62:8) Olw’okuba tukitegedde nti Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde bwonna, tumuwa ekitiibwa nga tugondera obufuzi bwe. Otya Katonda n’omuwa ekitiibwa ng’okola ebintu ebyo byonna?
MAAYI 30–JJUUNI 5
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 7-8
“Yakuwa Akola Endagaano ne Dawudi”
“Obwakabaka Bwo Bulifuuka bwa Nkalakkalira”
Yakuwa asanyukira nnyo ekyo Dawudi ky’ayagala okukola. Era olw’okuba Dawudi ayagala nnyo Katonda era n’okusinziira ku ebyo obunnabbi bye bwalaga, Katonda akola naye endagaano nti aliyimusa omuntu okuva mu zzadde lye alifuga emirembe gyonna. Nasani ategeeza Dawudi ekisuubizo kya Katonda kino: “Ennyumba yo n’obwakabaka bwo biriba binywevu emirembe n’emirembe mu maaso go; era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe.” (Olunyiriri 16) Ani Musika w’endagaano eno ow’enkalakkalira—alifuga emirembe gyonna?—Zabbuli 89:20, 29, 34-36.
w10 4/1 lup 20 ¶4
“Obwakabaka Bwo Bulifuuka bwa Nkalakkalira”
Yesu ow’e Nazaaleesi yali muzzukulu wa Dawudi. Malayika bwe yali ng’alangirira okuzaalibwa kwa Yesu, yagamba nti: “Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, era alifuga nga kabaka ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Lukka. 1:32, 33) N’olwekyo, endagaano eyakolebwa ne Dawudi etuukirizibwa ku Yesu Kristo. Bwe kityo Yesu afuga, si lwa kuba nti abantu be baamulonda, wabula olw’ekyo Katonda kye yasuubiza nti ajja kufuga emirembe gyonna. Ka tukijjukire nti bulijjo ebisuubizo bya Katonda bituukirira.—Isaaya 55:10, 11.
Ba n’Okukkiriza okw’Amaanyi mu Bwakabaka
14 Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yasuubiza Kabaka Dawudi owa Isirayiri ey’edda okuyitira mu ndagaano ya Dawudi. (Soma 2 Samwiri 7:12, 16.) Yakuwa yakola endagaano eyo ne Dawudi mu kiseera Dawudi bwe yali afuga nga kabaka mu Yerusaalemi, n’amusuubiza nti Masiya yali wa kuyitira mu lunyiriri lwe. (Luk. 1:30-33) Bwe kityo, Yakuwa yeeyongera okumanyisa ebikwata ku lunyiriri Masiya mwe yandiyitidde. Yakiraga nti omu ku bazzukulu ba Dawudi ye yandibadde ‘n’obwannannyini’ ku ntebe y’Obwakabaka bwa Masiya. (Ezk. 21:25-27) Obwakabaka bwa Dawudi bujja ‘kuba bunywevu ennaku zonna,’ kubanga Yesu, muzzukulu wa Dawudi, ‘ajja kubeerawo emirembe n’emirembe, n’entebe ye ey’obwakabaka ejja kuwangaala ng’enjuba.’ (Zab. 89:34-37) Mu butuufu, obufuzi bwa Masiya tebujja kusaanyizibwawo, era ebintu bye bunaakola bijja kuba bya lubeerera!
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 206 ¶2
Ennaku ez’Enkomerero
Obunnabbi bwa Balamu. Abayisirayiri bwe baali tebannayingira mu Nsi Nsuubize, nnabbi Balamu alina obunnabi bwe yategeeza Balaki kabaka wa Mowaabu. Yamugamba nti: “Jjangu nkubuulire abantu bano [Abayisirayiri] kye balikola abantu bo mu biseera eby’omu maaso. . . . Emmunyeenye eriva mu Yakobo, ddamula eriyimuka mu Isirayiri. Aliyasaayasa ekyenyi kya Mowaabu n’ekiwanga ky’abaana b’oluyoogaano bonna.” (Kbl 24:14-17) Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno okwasooka, “emmunyeenye” yali Kabaka Dawudi, eyawangula Abamowaabu. (2Sa 8:2) N’olwekyo, mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno okwasooka, ‘ebiseera eby’omu maaso’ byatandika Dawudi bwe yafuuka Kabaka. Okuva bwe kiri nti obwakabaka bwa Dawudi bwali busonga ku Bwakabaka bwa Masiya, obunnabbi obwo era butuukirira ne ku Yesu, Masiya Kabaka, mu kiseera w’awangulira abalabe be.—Is 9:7; Zb 2:8, 9.
JJUUNI 6-12
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 9-10
“Dawudi Yalaga Okwagala Okutajjulukuka”
w06-E 6/15 lup. 14 ¶6
Osobola Okufuna Essanyu
“Dawudi yagamba nti: “Alina essanyu oyo afaayo ku munaku.” Era yagattako nti: “Yakuwa alimununula ku lunaku olw’obuyinike. Yakuwa anaamukuumanga era n’amubeesaawo nga mulamu. Anaayitibwanga musanyufu.” (Zabbuli 41:1, 2) Okwagala Dawudi kwe yalaga Mefibosesi, omwana eyali omulema owa mukwano gwe Yonasaani, kyakulabirako ekiraga endowooza gye tusaanidde okuba nayo eri abantu abanaku.—2 Samwiri 9:1-13.
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri eky’Okubiri
9:1, 6, 7. Dawudi yatuukiriza ekisuubizo kye. Naffe tuteekwa okutuukiriza buli kye tweyama.
Baasobola Okwaŋŋanga Ekizibu ky’Eriggwa mu Mibiri Gyabwe
10 Nga wayiseewo emyaka, Kabaka Dawudi, yalaga Mefibosesi ekisa, olw’okuba Dawudi yali ayagala nnyo Yonasaani. Ebintu byonna ebyali ebya Sawulo yabiwa Mefibosesi era n’akwasa Ziba, eyali omuddu wa Sawulo, obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebintu ebyo. Era Dawudi yagamba Mefibosesi nti: “Ojja kuliiranga ku mmeeza yange.” (2 Samwiri 9:6-10) Awatali kubuusabuusa, ekisa Dawudi kye yalaga kyabudaabuda Mefibosesi era ne kikendeeza ku bulumi bwe yalina olw’okubeera omulema. Nga kyakuyiga kirungi nnyo! Naffe twandiraze ekisa abo abalina amaggwa mu mibiri.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 266
Ebirevu
Abantu ab’edda abaali babeera mu kitundu eky’ensi za Buwalabu, nga mwe muli n’Abayisirayiri, baali batwala ekirevu nga kya muwendo nnyo. Baali bakitwala nti kiraga ekitiibwa ky’omusajja. Mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, yabagaana okusalako “kakoba” n’okukomola ebirevu byabwe. (Lev 19:27; 21:5) Ekyo Yakuwa yakibagaana kubanga ako kaabanga kalombolombo abantu abamu ke baakolanga nga basinza bakatonda baabwe ab’obulimba.
JJUUNI 13-19
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 11-12
“Tokkiriza Kufugibwa Kwegomba Kubi”
Osobola Okuva mu Mitego gya Sitaani!
10 Omululu gwaleetera Kabaka Dawudi okwerabira ebyo byonna Yakuwa bye yali amuwadde, nga muno mwe mwali eby’obugagga, ettutumu, n’okuwangula abalabe be. Dawudi yagamba nti yali asiima ebyo byonna Yakuwa bye yali amukoledde era yagamba nti byali ‘bisusse obungi, nga tebimalikayo!’ (Zab. 40:5) Naye lumu Dawudi yeerabira ebyo byonna Yakuwa bye yali amukoledde. Yalekera awo okuba omumativu, era yayagala ekisingawo. Wadde nga Dawudi yalina abakazi bangi, yeegwanyiza mukazi wa munne. Yeegomba Basuseba, mukazi wa Uliya Omukiiti. Dawudi yeerowoozaako yekka ne yeegatta ne Basuseba, era Basuseba n’afuna olubuto. Okugatta ku ekyo, Dawudi yakola n’enteekateeka Uliya attibwe! (2 Sam. 11:2-15) Naye ddala kiki Dawudi kye yali alowooza? Yali alowooza nti Yakuwa talaba? Wadde nga Dawudi yali aweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala ebbanga ddene, yakkiriza omululu okumuleetera okukola ekibi era ekyo kyamuviiramu emitawaana mingi. Naye ekirungi kiri nti, oluvannyuma lw’ekiseera, Dawudi yakkiriza ensobi ye era ne yeenenya. Kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo Yakuwa bwe yamusonyiwa!—2 Sam. 12: 7-13.
Lwaki Tugondera Yakuwa era Ekyo Tukikola Tutya?
15 Yakuwa yalonda Dawudi okuba omutwe gw’amaka ge n’okuba omutwe gw’eggwanga lya Isirayiri. Olw’okuba Dawudi yali kabaka, yalina obuyinza bungi. Waliwo ebiseera lwe yakozesa obubi obuyinza bwe n’akola ensobi ez’amaanyi. (2 Sam. 11:14, 15) Naye yakiraga nti agondera Yakuwa bwe yakkiriza okuwabulwa. Yasaba Yakuwa n’amutegeeza ebyamuli ku mutima. Era yafuba okukolera ku kuwabula Yakuwa kwe yamuwa. (Zab. 51:1-4) Okugatta ku ekyo, yali mwetoowaze ne kiba nti yakkirizanga amagezi amalungi agaamuweebwa abasajja awamu n’abakazi. (1 Sam. 19:11, 12; 25:32, 33) Dawudi yayigira ku nsobi ze era ne yeemalira ku kuweereza Yakuwa.
Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
7 Tekitwetaagisa kusooka kufuna bizibu ebiva mu kumenya amateeka ga Katonda ne tulyoka tumanya ekituufu n’ekikyamu. Tusobola okuyigira ku nsobi z’abantu aboogerwako mu Bayibuli. Engero 1:5 wagamba nti: “Omuntu ow’amagezi awuliriza era ne yeeyongera okuyiga.” Tufuna obulagirizi obusingayo obulungi okuva eri Katonda bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku bintu ebyaliwo mu bulamu bw’abantu aboogerwako mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bulumi Kabaka Dawudi bwe yafuna oluvannyuma lw’okumenya etteeka lya Katonda n’ayenda ku Basuseba. (2 Sam. 12:7-14) Bwe tuba tusoma ku ekyo Dawudi kye yakola, tusobola okwebuuza nti: ‘Kabaka Dawudi yandisobodde atya okwewala obulumi obw’amaanyi bwe yafuna ng’ayenze ku Basuseba? Kiki kye nnandikoze nga njolekaganye n’ekikemo ng’ekyo? Nnandigudde mu bwenzi nga Dawudi, oba nnandibudduse nga Yusufu bwe yakola?’ (Lub. 39:11-15) Bwe tulowooza ku bizibu ebiva mu kukola ekibi, kituyamba okuba abamalirivu ‘okukyawa ekibi.’
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 590 ¶1
Dawudi
Kyokka Yakuwa yali alaba ebyali bigenda mu maaso, era yabyanika. Singa Yakuwa yaleka abalamuzi okukola ku nsonga ya Dawudi ne Basuseba nga bagoberera amateeka ge yabawa okuyitira mu Musa, Dawudi ne Basuseba bandibadde battibwa, era n’omwana eyali tannazaalibwa yandibadde afiira wamu ne maama we. (Ma 5:18; 22:22) Kyokka Yakuwa yasalawo okwekolera ku nsonga eyo era n’alaga Dawudi obusaasizi olw’endagaano y’Obwakabaka gye yali akoze naye (2Sa 7:11-16), n’olw’okuba nti Dawudi naye yali alaze abalala obusaasizi (1Sa 24:4-7; geraageranya Yak 2:13), era n’olw’okuba nti Yakuwa yakiraba nti Dawudi ne Basuseba baali beenenyezza mu bwesimbu. (Zb 51:1-4) Kyokka era baabonerezebwa. Okuyitira mu nnabbi Nassani, Yakuwa yagamba Dawudi nti: “Nja kukuleetera emitawaana nga gisibuka mu nnyumba yo mmwennyini.”—2Sa 12:1-12.
JJUUNI 20-26
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 13-14
“Amunoni Okwerowoozaako Yekka Kyavaamu Ebizibu Bingi”
it-1-E lup. 32
Abusaalomu
Amunoni Attibwa. Olw’okuba mwannyina wa Abusaalomu eyali ayitibwa Tamali yali alabika bulungi nnyo, kyaviirako Amunoni okumwegomba. Amunoni yeefuula omulwadde n’agamba kitaawe Dawudi agambe mwannyina Tamali ajje ewuwe amufumbire emmere. Tamali bwe yajja okumufumbira emmere, yamukwata n’amusobyako lwa mpaka. Kyokka okwagala Amunoni kwe yalina eri Tamali kwaggwaawo mu bwangu n’amukyayira ddala, era n’alagira bamufulumye mu nnyumba ye. Tamali yayuza ekyambalo kye ekyali kiraga nti yali muwala wa kabaka embeerera era ne yeeyiira evvu mu mutwe. Bwe yali agenda, yasisinkana mwannyina Abusaalomu. Ebyo Abusaalomu bye yayogera byalaga nti yali yeekengera Amunooni nti yeegomba mwannyina, era mangu ddala yasalawo eky’okukola. Yagamba mwannyina obutaabako gw’abuulira, era n’amutwala ewuwe abeere eyo.—2Sa 13:1-20.
Yiga Okwefuga
11 Bayibuli eyogera ku bantu abatali bamu abaalemererwa okwefuga ku bikwata ku kwegatta. Era eraga n’ebizibu ebiyinza okuvaamu singa omuntu alemererwa okwefuga ku bikwata ku kwegatta. Singa weesanga mu mbeera efaananako eya Kim, kikulu okufumiitiriza ku muvubuka atalina bumanyirivu ayogerwako mu Engero essuula 7. Ate era lowooza ku ekyo Amunoni kye yakola n’ebizibu ebyavaamu. (2 Sam. 13:1, 2, 10-15, 28-32) Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe okuyiga okwefuga bwe kituuka ku by’omukwano. Ekyo bayinza okukikola nga boogera ku nsonga eyo mu kusinza kw’amaka era nga bakozesa ebyokulabirako ebyogeddwako waggulu.
it-1-E lup. 33 ¶1
Abusaalomu
Waayitawo emyaka ebiri. Ekiseera eky’okusala ebyoya by’endiga bwe kyatuuka, Abusaalomu yateekateeka ekijjulo e Bbaali-kazoli ekyali kyesudde mayiro nga 14 mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi, era n’ayita abaana ba kabaka bonna awamu ne kabaka Dawudi kennyini. Dawudi bwe yagamba nti yali tajja kugenda ku kijjulo, Abusaalomu yamusaba akkirize Amunoni mutabani we omukulu agende mu kifo kye. (Nge 10:18) Bwe baali ku kijjulo nga Amunoni ‘omwenge gumukutte era nga mucamufu,’ Abusaalomu yalagira abaweereza be okumutta. Abaana ba Dawudi abalala baddayo e Yerusaalemi, era Abusaalomu n’agenda mu buwaŋŋanguse okubeera awamu ne jjajjaawe Omusuuli mu bwakabaka bwa Gesuli, ebuvanjuba w’e Nnyanja y’e Ggaliraaya. (2Sa 13:23-38) “Ekitala” nnabbi Nasani kye yayogerako kati kyali kiyingidde mu “nnyumba” ya Dawudi, era kyandyeyongedde okubeeramu ekiseera kyonna ekyali kisigaddeyo eky’obulamu bwe.—2Sa 12:10.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
g04-E 12/22 lup. 8-9
Obulungi Obusinga Okuba obw’Omuwendo
Okwawukana ku ekyo, lowooza ku Abusaalomu, omu ku batabani ba Dawudi. Wadde nga yali alabika bulungi nnyo, teyali muntu mulungi. Bayibuli egamba nti: “Mu Isirayiri yonna temwali musajja gwe baali batenda olw’okulabika obulungi nga Abusaalomu. Abusaalomu teyaliiko kamogo okuviira ddala ku bigere bye okutuukira ddala ku mutwe gwe.” (2 Samwiri 14:25) Kyokka olw’okuba Abusaalomu yali yeenoonyeza ebitiibwa, kyamuviirako okujeemera kitaawe era n’agezaako okweddiza obwakabaka bwe. Yatuuka n’okwegatta n’abazaana ba kitaawe. N’ekyavaamu, Yakuwa yasunguwalira Abusaalomu, era Abusaalomu yafa bubi.—2 Samwiri 15:10-14; 16:13-22; 17:14; 18:9, 15.
Owulira ng’oyagala Abusaalomu? Kya lwatu nedda. Okutwaliza awamu, Abusaalomu teyali muntu mulungi. Endabika ye ennungi teyamuleetera kuba muntu mulungi, kubanga yalina amalala, era teyali mwesigwa. Era endabika ye teyamulemesa kuzikirira. Ku luuyi olulala, Bayibuli eyogera ku bantu bangi abaali ab’amagezi era abaalina engeri ennungi, kyokka nga teyogera ku ndabika yaabwe. Awatali kubuusabuuka, obulungi obw’omunda bwe businga okuba obw’omuwendo.
JJUUNI 27–JJULAAYI 3
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 15-17
“Amalala Gaaviirako Abusaalomu Okujeema”
it-1-E lup. 860
Omuddusi
Mu nsi z’omu kitundu kya Buwalabu, yalinga nkola abaddusi okukulemberamu eggaali lya kabaka, okuteekateeka ekkubo n’okulangirira nti kabaka yabanga agenda kujja era n’okumuyamba we kyabanga kyetaagisa. (1Sa 8:11) Nga bakoppa enkola eyo, Abusaalomu ne Adoniya bassaawo abaddusi amakumi ataano bakulemberemu amagaali gaabwe, okusobola okwongera okuweebwa ekitiibwa n’okuleetera abantu okubawagira.—2Sa 15:1; 1Sk 1:5; laba ABADDUSI.
Weereza Katonda ow’Eddembe
5 Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abantu bangi abaaleetera abalala okukola ebintu ebikyamu. Lowooza ku Abusaalomu, mutabani wa Kabaka Dawudi. Abusaalomu yali alabika bulungi nnyo. Okufaananako Sitaani, Abusaalomu yakkiriza okwegomba okubi okuyingira mu mutima gwe. Yatandika okwegomba entebe ya kitaawe ey’obwakabaka era n’ayagala okugyeddiza. Okusobola okutuuka ku ekyo kye yali ayagala, Abusaalomu yeefuula eyali alumirirwa ennyo Bayisirayiri banne era n’abaleetera okulowooza nti Kabaka Dawudi yali tabafaako. Ng’Omulyolyomi bwe yakola mu lusuku Adeni, Abusaalomu yeefuula eyali ayagala okuyamba abantu era yayogera eby’obulimba ku kitaawe.—2 Sam. 15:1-5.
it-1-E lup. 1083-1084
Kebbulooni
Nga wayise emyaka, Abusaalomu mutabani wa Dawudi yaddayo e Kebbulooni, era bwe yali eyo yatandika okukola enteekateeka okwezza obwakabaka bwa kitaawe. (2Sa 15:7-10) Kirabika Abusaalomu yasalawo okutandikira e Kebbulooni olw’ebyafaayo by’ekibuga ekyo, kubanga lumu kyaliko ekibuga ekikulu ekya Yuda era nga gye yali asibuka. Oluvannyuma, Kabaka Lekobowaamu, muzukkulu wa Dawudi, yaddamu okuzimba Kebbulooni. (2By 11:5-10) Oluvannyuma lw’Abababulooni okufuula Yuda amatongo, abamu ku Bayudaaya abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse baagenda ne babeera e Kebbulooni (Kiriyasu-aluba).—Nek 11:25.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Omanyi Byonna Ebizingirwamu?
11 Ate era naffe kinnoomu tuyinza okwogerwako ebintu naye ng’ebimu ku byo si bituufu. Lowooza ku ekyo ekyaliwo wakati wa Kabaka Dawudi ne Mefibosesi. Dawudi yalaga Mefibosesi ekisa n’amuddiza ettaka lyonna eryali erya Sawulo, jjajjaawe. (2 Sam. 9:6, 7) Kyokka oluvannyuma Dawudi yawuliriza ebintu ebibi ebyayogerwa ku Mefibosesi. Nga tasoose kumanya byonna ebyali bizingirwamu, Dawudi yaggyako Mefibosesi ebintu byonna bye yali amuwadde. (2 Sam. 16:1-4) Oluvannyuma Dawudi bwe yayogerako ne Mefibosesi, yakiraba nti yali akoze nsobi era n’addiza Mefibosesi ebimu ku bintu ebyo. (2 Sam. 19:24-29) Naye obutali bwenkanya obwo bwandibadde bwewalibwa singa Dawudi yali asoose kumanya byonna ebyali bizingirwamu nga tannasalawo ku nsonga eyo.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Koppa Obwesigwa bwa Ittayi
Kirabika Ittayi yali nzaalwa y’e Gaasi, ekibuga ky’Abafirisuuti ekyali kimanyiddwa ennyo, Goliyaasi n’abalabe ba Isiraeri abalala gye baabeeranga. Mu kiseera Abusaalomu we yayagalira okuwamba obwakabaka bwa Dawudi, Bayibuli w’esookera okwogera ku Ittayi, omusajja eyali omulwanyi nnamige. Ittayi n’abasajja be Abafirisuuti 600 be yali babo mu buwaŋŋanguse baali babeera kumpi n’ekibuga Yerusaalemi.
Embeera Ittayi ne basajja be mwe baali yandiba nga yaleetera Dawudi okujjukira ekiseera ye n’abalwanyi be Abayisirayiri 600 we baabeerera mu buwaŋŋanguse mu kitundu ky’Abafirisuuti ekyali kifugibwa Akisi, kabaka wa Gaasi. (1 Sam. 27:2, 3) Ittayi ne basajja be bandikoze ki nga Dawudi alwana ne mutabani we Abusaalomu? Bandiwagidde Abusaalomu, bandisigadde nga tebaliiko ludda, oba bandiwagidde Dawudi n’abasajja be?
Kuba akafaananyi nga Dawudi adduse mu Yerusaalemi, era ayimiriddeko mu kifo ekiyitibwa Besu-meraki, ng’erinnya lino litegeeza “Ennyumba ey’Ewala.” Kirabika ennyumba eyo ye yali esembayo ku njegooyego y’ekibuga Yerusaalemi ku luuyi ewali Olusozi olwa Zeyituuni, nga tonnasala kiwonvu ky’e Kidulooni. (2 Sam. 15:17) Ng’ali mu kifo ekyo, Dawudi abala abalwanyi b’alina nga bwe bamuyitako. Yeewuunya okukizuula nti ku Bayisirayiri abeesigwa b’ali nabo kwegasseeko Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna. Era kuliko n’Abagitti bonna—Ittayi n’abalwanyi be 600.—2 Sam. 15:18.
Mu mutima omusaasizi, Dawudi agamba Ittayi nti: “Lwaki naawe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka omuggya, kubanga oli mugwira era omuwaŋŋanguse eyadduka ewammwe. Ggwe wazze ggulo, ate leero nkutwale ogende naffe yonna gye tunaagenda? Ddayo, era genda ne baganda bo; Yakuwa k’akulage okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa!”—2 Sam. 15:19, 20.
Engeri Ittayi gye yaddamu yalaga nti yali musajja mwesigwa. Yagamba: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga mukama wange kabaka bw’ali omulamu, yonna mukama wange kabaka gy’anaabeera, nange omuweereza wo gye nnaabeera.” (2 Sam. 15:21) Kino kiyinza okuba nga kyajjukiza Dawudi ebigambo ebifaananako bwe bityo ebyayogerwa jjajjaawe Luusi. (Luus. 1:16, 17) Ittayi bye yayogera byakwasa Dawudi ekisa era bw’atyo yamugamba nti: “Genda osomoke” ekiwonvu Kidulooni. Kino olwakiwulira, “Ittayi Omugitti n’asomoka n’abasajja be bonna n’abaana.”—2 Sam. 15:22.
“Byawandiikibwa Okutuyigiriza”
Abaruumi 15:4 wagamba: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza.” Kati olwo tuyiga ki mu kyokulabirako kya Ittayi? Lowooza ku kiyinza okuba nga kye kyamuleetera okuba omwesigwa eri Dawudi. Wadde nga yali mugwira era Mufirisuuti omuwaŋŋanguse, Ittayi yali akimanyi nti Yakuwa ye Katonda omulamu era nti Dawudi y’oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta. Ittayi teyatunuulira mpalana eyali wakati w’Abayisirayiri n’Abafirisuuti, era teyalowooza ku kya kuba nti Dawudi yali yatta Goliyaasi omulwanyi nnamige n’Abafirisuuti abalala. (1 Sam. 18:6, 7) Ittayi yali akimanyi nti Dawudi ayagala nnyo Yakuwa era nti musajja mulungi. Dawudi naye yakiraba nti Ittayi yali musajja eyeesigika, era yatuuka n’okumuwa aduumire ekitundu kimu kya kusatu eky’eggye lye bwe yali ng’alwana ne mutabani we Abusaalomu!—2 Sam. 18:2.
Naffe mu kifo ky’okulowooleza mu njawukana mu mawanga oba mu langi, tusaanidde kutunuulira ngeri ennungi abalala ze balina. Eky’okuba nti wajjawo enkolagana wakati wa Dawudi ne Ittayi kiraga nti okumanya Yakuwa n’okumwagala kisobola okutuyamba okuvvuunuka obunafu bwaffe.
Bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Ittayi tusobola okwebuuza: ‘Nange ndaga obwesige obuli ng’obwo eri oyo asinga Dawudi obukulu, Kristo Yesu? Obwesige bwange mbulaga nga mbuulira n’obunyiikivu amawulire g’Obwakabaka awamu n’okufuula abalala abayigirizwa?’ (Mat. 24:14; 28:19, 20) ‘Ndi mwetegefu kukola ki okulaga nti ndi mwesigwa?’
Emitwe gy’amaka nabo baganyulwa mu kyokulabirako kya Ittayi eky’obwesigwa. Eky’okuba nti yali mwesigwa eri Dawudi era n’asalawo okugenda ne kabaka oyo Katonda gwe yafukako amafuta, kyakwata nnyo ku basajja ba Ittayi. Mu ngeri y’emu, omutwe gw’amaka bw’asalawo okuwagira okusinza okw’amazima kikwata nnyo ku b’omu maka ge, wadde ng’okukikola kiyinza okuleetawo obuzibu mu kusooka. Naye Bayibuli etukakasa nti: ‘Yakuwa aba mwesigwa eri omuntu omwesigwa.’—Zab. 18:25.
Ebyawandiikibwa tebiddamu kwogera ku Ittayi ng’olutalo wakati wa Dawudi ne Abusaalomu luwedde. Naye era akatono ako ke tumusomako mu Kigambo kya Katonda katuganyula nnyo. Eky’okuba nti Ittayi ayogerwako mu Byawandiikibwa kiraga nti Yakuwa alaba abantu abeesigwa era abasasula.—Beb. 6:10.