1 Bassekabaka
5 Kiramu kabaka wa Ttuulo+ bwe yawulira nti Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka mu kifo kya kitaawe, n’atuma abaweereza be eri Sulemaani, kubanga Kiramu yali mukwano gwa Dawudi.*+ 2 Sulemaani naye yaweereza Kiramu obubaka obugamba nti:+ 3 “Okimanyi bulungi nti kitange Dawudi teyasobola kuzimba nnyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda we, olw’entalo ze yalwananga n’abo abaamulumbaga ku njuyi zonna, okutuusa Yakuwa lwe yassa abalabe be wansi w’ebigere bye.+ 4 Naye kaakano Yakuwa Katonda wange ampadde emirembe ku njuyi zonna.+ Tewali anziyiza, era tewali kabi konna.+ 5 Kale njagala okuzimbira erinnya lya Yakuwa Katonda wange ennyumba nga Yakuwa bwe yasuubiza kitange Dawudi ng’agamba nti: ‘Mutabani wo gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka okudda mu kifo kyo y’alizimbira erinnya lyange ennyumba.’+ 6 Kale kaakano lagira abantu bo bantemere entolokyo mu Lebanooni.+ Abaweereza bange bajja kukolera wamu n’ababo, era empeera y’abaweereza bo nja kugikuwa nga bw’onooba oŋŋambye, kubanga okimanyi bulungi nti tewali n’omu ku ffe amanyi kutema miti ng’Abasidoni.”+
7 Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Sulemaani, n’asanyuka nnyo n’agamba nti: “Yakuwa atenderezebwe leero kubanga yawa Dawudi omwana ow’amagezi okufuga abantu bano abangi ennyo!”+ 8 Awo Kiramu n’aweereza Sulemaani obubaka obugamba nti: “Obubaka bw’ompeerezza mbufunye. Nja kukuwa emiti gy’entolokyo n’egy’emiberosi+ gyonna gy’oyagala. 9 Abaweereza bange bajja kugiggya e Lebanooni bagiserengese ku nnyanja; era nja kugisiba wamu gibe ng’ebitindiro giseeyeeye ku nnyanja, gigobe mu kifo ky’onoŋŋamba. Nja kulagira bagisumululire eyo, ogitwale. Mu miti gye nnaabanga nkuwadde ojja kumpangamu emmere ey’okuliisa ab’omu maka gange gye nnaabanga nkusabye.”+
10 Awo Kiramu n’awa Sulemaani emiti gyonna egy’entolokyo n’egy’emiberosi gye yali ayagala. 11 Sulemaani yawa Kiramu koro* 20,000 ez’eŋŋaano okuliisanga ab’omu maka ge, ne koro 20 ez’amafuta g’ezzeyituuni amalungi ennyo. Ebyo Sulemaani bye yawanga Kiramu buli mwaka.+ 12 Yakuwa yawa Sulemaani amagezi nga bwe yamusuubiza.+ Ate era waaliwo emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, era baakola endagaano.
13 Kabaka Sulemaani yakozesa abantu emirimu egy’obuddu okuva mu Isirayiri yonna, era bonna awamu baali abasajja 30,000.+ 14 Yaweerezanga e Lebanooni abasajja 10,000 buli mwezi mu mpalo. Baamalanga omwezi gumu e Lebanooni, ate ne bamala emyezi ebiri ewaabwe; Adoniraamu+ ye yakuliranga abo abaakolanga emirimu egy’obuwaze. 15 Sulemaani yalina abakozi b’emirimu egy’enjawulo* 70,000 n’abantu 80,000+ abaatemanga amayinja mu nsozi,+ 16 era yalina n’abaami 3,300+ abaakuliranga abakozi. 17 Kabaka yalagira ne batema amayinja amanene ag’ebbeeyi ennyo,+ basobole okuzimba omusingi+ gw’ennyumba nga bakozesa amayinja ago amateme.+ 18 Abazimbi ba Sulemaani n’abazimbi ba Kiramu n’Abagebali+ baatema amayinja, era baategeka embaawo n’amayinja okuzimba ennyumba.