-
Okubala 3:36, 37Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
36 Abaana ba Merali be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira fuleemu+ za weema entukuvu, n’emiti+ gyayo, n’empagi+ zaayo, n’obutoffaali bwayo obulimu ebituli, n’ebintu+ byayo byonna, n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo,+ 37 n’empagi ezaali zeetooloola oluggya lwonna, n’obutoffaali bwazo obulimu ebituli,+ n’enninga zaazo, n’emiguwa gyazo.
-
-
Okubala 4:31-33Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
31 Bino bye balinanga okusitula+ mu buweereza bwabwe obukwata ku weema ey’okusisinkaniramu: fuleemu+ za weema entukuvu, emiti+ gyayo, empagi+ zaayo, obutoffaali bwayo obulimu ebituli,+ 32 empagi+ ez’oluggya olwetooloddewo, obutoffaali+ bwazo obulimu ebituli, enninga+ zaazo, emiguwa gyazo, ne byonna ebikozesebwa ku bintu bino, ne byonna ebikwata ku buweereza buno. Buli omu ojja kumuwanga ebintu by’alina okusitula. 33 Bwe batyo ab’empya z’abaana ba Merali+ bwe banaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”+
-