LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okufaayo ku nsolo y’omuntu omulala (1-4)

      • Okwambala engoye ez’omuntu bwe mutafaananya kikula (5)

      • Okulaga ebisolo ekisa (6, 7)

      • Omuziziko waggulu ku nju (8)

      • Okugattika ebintu okutakkirizibwa (9-11)

      • Ebijwenge ku ngoye (12)

      • Amateeka agakwata ku kwegatta (13-30)

Ekyamateeka 22:1

Marginal References

  • +Kuv 23:4

Ekyamateeka 22:2

Marginal References

  • +Mat 7:12

Ekyamateeka 22:4

Marginal References

  • +Kuv 23:5; Lev 19:18; Luk 10:27; Bag 6:10

Ekyamateeka 22:5

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 52

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2016, lup. 18

Ekyamateeka 22:6

Marginal References

  • +Lev 22:28; Zb 145:9; Nge 12:10; Mat 10:29

Ekyamateeka 22:8

Marginal References

  • +2Sa 11:2; Bik 10:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2013, lup. 10

    2/1/2001, lup. 3

Ekyamateeka 22:9

Marginal References

  • +Lev 19:19

Ekyamateeka 22:10

Marginal References

  • +Nge 12:10

Ekyamateeka 22:11

Marginal References

  • +Lev 19:19

Ekyamateeka 22:12

Marginal References

  • +Kbl 15:38; Mat 23:2, 5

Ekyamateeka 22:18

Marginal References

  • +Kuv 18:21; Ma 1:13; 16:18
  • +Ma 25:2; Nge 10:13; 19:29

Ekyamateeka 22:19

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Mal 2:16

Ekyamateeka 22:21

Footnotes

  • *

    Oba, “obwamalaaya.”

Marginal References

  • +Beb 13:4
  • +Lev 21:9
  • +Lev 11:45; 1Ko 5:13

Ekyamateeka 22:22

Marginal References

  • +Lub 20:3; Kuv 20:14; Lev 20:10; 1Ko 6:9, 10, 18

Ekyamateeka 22:24

Marginal References

  • +Lev 20:10; Ma 5:18; 1Se 4:3, 6; Beb 13:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2019, lup. 14

Ekyamateeka 22:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2019, lup. 14

Ekyamateeka 22:26

Marginal References

  • +Lub 4:8; Kbl 35:20, 21; Yak 2:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2019, lup. 14

Ekyamateeka 22:27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2019, lup. 14

Ekyamateeka 22:28

Marginal References

  • +Lub 34:2, 5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1991, lup. 16

Ekyamateeka 22:29

Marginal References

  • +Lub 34:11, 12; Kuv 22:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1991, lup. 16

Ekyamateeka 22:30

Footnotes

  • *

    Obut., “okubikkula ekyambalo kya kitaawe.”

Marginal References

  • +Lev 18:8; 20:11; Ma 27:20; 1Ko 5:1

General

Ma. 22:1Kuv 23:4
Ma. 22:2Mat 7:12
Ma. 22:4Kuv 23:5; Lev 19:18; Luk 10:27; Bag 6:10
Ma. 22:6Lev 22:28; Zb 145:9; Nge 12:10; Mat 10:29
Ma. 22:82Sa 11:2; Bik 10:9
Ma. 22:9Lev 19:19
Ma. 22:10Nge 12:10
Ma. 22:11Lev 19:19
Ma. 22:12Kbl 15:38; Mat 23:2, 5
Ma. 22:18Kuv 18:21; Ma 1:13; 16:18
Ma. 22:18Ma 25:2; Nge 10:13; 19:29
Ma. 22:19Mal 2:16
Ma. 22:21Beb 13:4
Ma. 22:21Lev 21:9
Ma. 22:21Lev 11:45; 1Ko 5:13
Ma. 22:22Lub 20:3; Kuv 20:14; Lev 20:10; 1Ko 6:9, 10, 18
Ma. 22:24Lev 20:10; Ma 5:18; 1Se 4:3, 6; Beb 13:4
Ma. 22:26Lub 4:8; Kbl 35:20, 21; Yak 2:11
Ma. 22:28Lub 34:2, 5
Ma. 22:29Lub 34:11, 12; Kuv 22:16
Ma. 22:30Lev 18:8; 20:11; Ma 27:20; 1Ko 5:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 22:1-30

Ekyamateeka

22 “Bw’olabanga ente ya muganda wo oba endiga ye ng’ebula, togirekanga mu bugenderevu.+ Ogizzangayo eri muganda wo. 2 Naye muganda wo bw’anaabanga tabeera kumpi naawe oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo n’obeera nayo okutuusa muganda wo lw’aliginoonya, olwo n’ogimuddiza.+ 3 Era bw’otyo bw’onookolanga ng’osanze endogoyi ye oba engoye ze oba ekintu kye ekirala kyonna ekinaabanga kimubuzeeko. Obifangako.

4 “Bw’olabanga endogoyi ya muganda wo oba ente ye ng’egudde ku kkubo, togirekangawo mu bugenderevu. Omuyambanga n’ogiyimusa.+

5 “Omukazi tayambalanga engoye z’abasajja, n’omusajja tayambalanga engoye z’abakazi, kubanga buli akola ekintu ekyo Yakuwa Katonda wo amukyayira ddala.

6 “Bw’obanga otambula n’osanga ekisu nga kirimu amagi oba obwana, ka kibe ku muti oba wansi, ng’ekinyonyi kitudde ku bwana oba ku magi, totwalanga ekinyonyi awamu n’obwana bwakyo.+ 7 Ekinyonyi okirekanga ne kigenda naye obwana oyinza okubutwala. Kolanga bw’otyo olyoke obeerenga bulungi era owangaale.

8 “Bw’ozimbanga ennyumba, waggulu ku nnyumba eyo oteekangako omuziziko,+ oleme kuleeta ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi singa wabaawo awanukayo n’agwa.

9 “Tosimbanga nsigo za bika bibiri+ mu nnimiro yo ey’emizabbibu. Bw’onoozisimbanga, ebibala byonna ebiva mu nsigo z’onoobanga osimbye era n’eby’ennimiro y’emizabbibu binaabanga bya kifo kitukuvu.

10 “Tolimisanga nte ng’eri wamu n’endogoyi.+

11 “Toyambalanga lugoye olwakolebwa mu wuzi ez’ebyoya by’endiga nga zitobekeddwamu wuzi eza kitaani.+

12 “Oteekanga ebijwenge ku nsonda ennya ez’engoye z’oyambala.+

13 “Omusajja bw’awasanga omukazi ne yeegatta naye kyokka n’amukyawa, 14 era n’amulumiriza nti yakola ebitasaana era n’ayonoona erinnya lye ng’agamba nti: ‘Nnawasa omukazi ono naye bwe nneegatta naye saalaba kiraga nti mbeerera;’ 15 kitaawe w’omuwala ne nnyina banaatwalanga obukakafu obulaga nti omuwala yali mbeerera eri abakadde ku mulyango gw’ekibuga. 16 Kitaawe w’omuwala anaagambanga abakadde nti, ‘Omusajja ono nnamuwa muwala wange amuwase kyokka n’amukyawa, 17 era kaakano amulumiriza nti yakola ebitasaana ng’agamba nti: “Nkizudde nti tewali kiraga nti muwala wo yali mbeerera.” Buno bwe bukakafu obulaga nti muwala wange yali mbeerera.’ Era banaayanjuluzanga olugoye mu maaso g’abakadde b’ekibuga. 18 Abakadde b’ekibuga ekyo+ banaatwalanga omusajja ne bamukangavvula.+ 19 Era banaamutanzanga sekeri* za ffeeza 100 ne baziwa kitaawe w’omuwala, kubanga omusajja oyo aliba ayonoonye erinnya ly’omuwala wa Isirayiri embeerera,+ era omuwala oyo anaasigalanga nga mukazi we. Takkirizibwenga kumugoba obulamu bwe bwonna.

20 “Naye ky’amulumiriza bwe kinaabanga ekituufu, nga ddala tewaliiwo bukakafu bulaga nti omuwala yali mbeerera, 21 banaaleetanga omuwala ku mulyango gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja b’ekibuga kye banaamukubanga amayinja n’afa, kubanga yakola eky’obuswavu+ mu Isirayiri bwe yakola ekintu eky’obugwenyufu* mu nnyumba ya kitaawe.+ Bw’otyo onoggyangawo ekibi mu mmwe.+

22 “Omusajja bw’anaasangibwanga nga yeebase n’omukazi ow’omusajja omulala, bombi banattibwanga, omusajja eyeebaka n’omukazi awamu n’omukazi oyo.+ Bw’otyo onoggyangawo ekibi mu Isirayiri.

23 “Bwe wanaabangawo omuwala embeerera eyalagaana okufumbiriganwa n’omusajja, omusajja omulala n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye, 24 bombi mubaleetanga ku mulyango gw’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, olw’okuba teyakuba nduulu ng’ali mu kibuga, ate ye omusajja olw’okuba yaweebuula muka munne.+ Bw’otyo onoggyangawo ekibi mu mmwe.

25 “Naye omusajja bw’anaasanganga ku ttale omuwala eyalagaana okufumbiriganwa n’omusajja, n’amusinza amaanyi ne yeebaka naye, omusajja eyeebaka n’omuwala y’anattibwanga yekka, 26 era omuwala tomukolanga kintu kyonna. Omuwala anaabanga talina kibi kimugwanyiza kuttibwa, kubanga ng’omuntu bw’afubutukira munne n’amutemula,+ na kino bwe kityo bwe kiri. 27 Kubanga omuwala oyo omusajja yamusanga ku ttale, era yakuba enduulu naye nga tewali ayinza kumuyamba.

28 “Omusajja bw’asanganga omuwala embeerera atannalagaana kufumbiriganwa na musajja, n’amukwata lwa mpaka ne yeebaka naye, ne kimanyibwa,+ 29 omusajja eyeebaka naye anaawanga kitaawe w’omuwala sekeri za ffeeza 50, era omuwala oyo anaafuukanga mukazi we.+ Olw’okuba anaabanga amuweebudde, takkirizibwenga kumugoba obulamu bwe bwonna.

30 “Omusajja tawasanga muka kitaawe, aleme kuweebuula kitaawe.*+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share