Ebirimu
Jjuuni 15, 2015
© 2015 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
JJULAAYI 27, 2015–AGUSITO 2, 2015
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 14, 109
AGUSITO 3-9, 2015
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 84, 99
AGUSITO 10-16, 2015
Tusobola Okusigala nga Tuli Balongoofu
OLUPAPULA 13 • ENNYIMBA: 83, 57
AGUSITO 17-23, 2015
Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu I
OLUPAPULA 20 • ENNYIMBA: 138 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa (luyimba lupya), 89
AGUSITO 24-30, 2015
Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu II
OLUPAPULA 25 • ENNYIMBA: 22, 68
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Kristo—Amaanyi ga Katonda
▪ Yayagala Nnyo Abantu
Ebitundu bino ebyogera ku byamagero Yesu bye yakola bituyamba okulaba engeri gye tuyinza okwolekamu omwoyo omugabi n’okuyambamu abalala. Era biraga ezimu ku ngeri za Yesu. Ate era biraga nti mu kiseera ekitali kya wala, tujja kulaba ebyamagero eby’ekitalo ku kigero eky’ensi yonna.
▪ Tusobola Okusigala nga Tuli Balongoofu
Mu nsi eno embi, si kyangu kusigala nga tuli balongoofu. Ekitundu kino kiraga engeri enkolagana yaffe ne Yakuwa, amagezi agali mu Kigambo kye, n’obuyambi bwa bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo gye biyinza okutuyamba okuziyiza okwegomba okubi n’okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.
▪ Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu I
▪ Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu II
Abakristaayo bwe baba basaba, tebaddiŋŋana bigambo ebiri mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako. Naye tulina kye tuyigira ku ebyo ebiri mu ssaala eyo. Ebitundu bino biraga engeri gye tuyinza okukolera ku ebyo ebiri mu ssaala eyo.
KU DDIBA: Abajulirwa ba Yakuwa mu Panama bakozesa amaato okutuuka ku bantu ababeera ku bizinga by’e Bocas del Toro. Ku bizinga ebyo babuulira abantu bangi nga mw’otwalidde n’abo aboogera olulimi oluyitibwa Ngabere
PANAMA
ABANTU
3,931,000
ABABUULIZI
16,217
BAPAYONIYA ABA BULIJJO
2,534
Mu bibiina 309 ebiri mu Panama mulimu bapayoniya ab’enjawulo abasukka mu 180. Ebibiina 35 n’ebibinja 15 bye bikozesa olulimi oluyitibwa Ngabere era birimu ababuulizi nga 1,100. Ate ebibiina 16 n’ebibinja 6 bye bikozesa olulimi lwa bakiggala era birimu ababuulizi nga 600