Tendeka Abaana Bo Okuweereza Yakuwa
1. Mu Zabbuli 148:12, 13 abazadde Abakristaayo bakubirizibwa kukola ki?
1 Yakuwa ayagala abaana abato bamutendereze. (Zab. 148:12, 13) N’olwekyo, abazadde Abakristaayo tebakoma ku kuyigiriza baana baabwe mazima agali mu Bayibuli n’amateeka ga Katonda agakwata ku mpisa, naye era babatendeka okuba ababuulizi b’amawulire amalungi. Kino bayinza batya okukikola ng’abaana bagenda bakula?
2. Ekyokulabirako ekirungi abazadde kye bassaawo kiyinza kitya okuyamba abaana baabwe?
2 Ekyokulabirako Ekirungi: Omulamuzi Gidiyoni yagamba abasajja be 300 nti: “Mulabire ku nze.” (Balam. 7:17) Kya mu butonde abaana okwetegereza bazadde baabwe bye bakola n’okubakoppa. Taata omu akola kiro, naye mu kifo ky’okwebaka ku Lwomukaaga ku makya ng’akomyewo awaka, atwala abaana be mu buweereza wadde ng’aba akooye. Wadde ng’aba takyogedde, aba ayigiriza abaana be nti obuweereza kye kintu ekisinga obukulu. (Mat. 6:33) Abaana bo bakiraba nti oba musanyufu nga weenyigira mu ngeri ez’enjawulo ez’okusinza, gamba ng’okusaba, okusoma Bayibuli, okubaako by’oddamu mu nkuŋŋaana, n’okubuulira? Kyo kituufu nti, tojja kubateerawo kyakulabirako kituukiridde. Naye abaana bo kijja kubanguyira okukolera ku ebyo by’obayigiriza okusinza Yakuwa singa bakulaba ng’oli munyiikivu mu kumuweereza.—Ma. 6:6, 7; Bar. 2:21, 22.
3. Biruubirirwa ki eby’eby’omwoyo, abazadde bye basobola okuyamba abaana baabwe okweteerawo n’okutuukako nga bagenda bakula?
3 Ebiruubirirwa eby’Enjawulo: Abazadde bafuba nnyo okuyigiriza abaana baabwe okutambula, okwogera, okweyambaza, n’okukola ebintu ebirala ebiri ng’ebyo. Abaana bwe babaako ekintu ekikulu ennyo kye baba bayize okukola, abazadde bafuba okubayamba okubaako ekintu ekirala ekikulu kye bayiga. Abazadde bwe baba nga Bakristaayo, era bayamba abaana baabwe okweteerawo n’okutuuka ku biruubirirwa eby’eby’omwoyo nga basinziira ku myaka n’obusobozi bwabwe. (1 Kol. 9:26) Oyigiriza abaana bo okuddamu mu bigambo byabwe nga bali mu nkuŋŋaana n’okwetegekera emboozi zaabwe mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda? (Zab. 35:18) Obatendeka okwenyigira mu ngeri ez’enjawulo ez’obuweereza? Obayamba okuba n’ekiruubirirwa eky’okubatizibwa n’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Olina ky’okolawo okubayamba okukola emikwano n’ababuulizi abasanyufu era abanyiikivu abajja okubakubiriza okutuuka ku biruubirirwa ebyo?—Nge. 13:20.
4. Abaana baganyulwa batya bazadde baabwe bwe batandika okubatendeka okuweereza Yakuwa nga bakyali bato?
4 Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; era okutuusa leero n[n]aabuuliranga ebikolwa byo eby’ekitalo.” (Zab. 71:17) Tandika okuyigiriza abaana bo okuweereza Yakuwa nga bakyali bato. Awatali kubuusabuusa, omusingi ogw’eby’omwoyo gw’obayamba okweteerawo gujja kubaganyula nga bakuze!—Nge. 22:6.