Kuuma Empisa Ennungi Eziweesa Katonda Ekitiibwa
1 Wonna wonna we tubeera empisa zaffe, ennyambala, era n’okwekolako bituwaako obujulirwa awamu ne Katonda gwe tusinza. Kino bwe kiba naddala ku nkuŋŋaana ennene ez’abantu ba Katonda, ng’abantu bangi batutunuulidde. Bwe tuteekawo ekyokulabirako ekirungi, erinnya lya Yakuwa liweebwa ekitiibwa. (1 Peet. 2:12) Kyokka, abantu batono bwe beeyisa obubi oba bwe bakola ebintu awatali kwegendereza kiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Katonda ne ku bantu be. (Mub. 9:18b) Bwe tujjukira nti olw’empisa zaffe abantu b’ebweru babaako endowooza gye bafuna ku ntegeka yaffe era ne ku Katonda gwe tusinza, kyandituleetedde okwegendereza ‘okukolanga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’—1 Kol. 10:31.
2 Enneeyisa Esaanidde mu Bifo Ebisulwamu: Mu mbeera ezisinga obungi, abakozi b’omu wooteeri oba ebifo ebisulwamu basiima nnyo enkola ennuŋŋamu, empisa ennungi, era n’obuyonjo bw’Abajulirwa ba Yakuwa. Maneja omu, ng’ayogera ku maka g’Abajulirwa agaasula mu wooteeri ye, yagamba: “Abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa be baana abasingayo obulungi be nnali ndabye! Baambala bulungi; ba ggonjebwa, ba kisa, era ba mpisa nnyo; era tebatuwadde kizibu kyonna. Ddala ddala mulina okwebazibwa ennyo olw’abaana bammwe. Tunyumiddwa okubeera n’abaana bammwe wano.” Ebigambo nga bino byogerwa olw’okuba abo abakolagana naffe balaba okwagala n’ekitiibwa ebiri mu bantu ba Yakuwa.
3 Ku luuyi olulala, ebigambo ebimu ebyogeddwa abakozi b’omu wooteeri oba ebifo ebisulwamu biraga nti wakyaliwo ekizibu ku ludda lw’abamu abateegendereza nneeyisa yaabwe oba abakozesa obubi ebintu by’omu wooteeri oba ebifo ebisulwamu. Kino kireetawo ebizibu era n’okuvumirira ebitandibaddewo. Bamaneja abamu beemulugunya nti abaana n’abatiini baleekaana nnyo era ba ddalu, nga bazadde baabwe tebabafaako nga bali mu kifo ekyo.
4 Wooteeri n’amasomero ebisinga obungi biba n’amateeka abagenyi abasulayo ge balina okugoberera. Ab’oluganda abamu bamenye amateeka agakwata ku kukuumira wansi amaloboozi oba obutafumbira mu bisenge byabwe. Okufumbira mu kifo gye kitakkirizibwa, kye kintu ekitera okukolebwa ekyonoona ekifo.
5 Tusaanidde okufuba okukolera awamu ne bannyini kifo. Mazima ddala, tetwagala kubawa kifaananyi kibi ku bantu ba Yakuwa. Nga Abakristaayo tuteekwa okubeera abeesigwa ebiseera byonna. Tetusaanidde kutwala kintu kyonna okuva mu bifo gye tusuze, kubanga okwo kuba kubba; era tusaanidde okwogera amazima nga tubategeeza abantu be tuteekateeka okusuza mu kifo oba mu kisenge.
6 Empisa Ezisaanira ku Lukuŋŋaana Olunene: Ka kibeere kifo kya ngeri ki ekikozesebwa, mu kiseera ky’olukuŋŋaana kiba kirina okutunuulirwa nga Kingdom Hall ennene. Twandyambadde era ne twekolako mu ngeri esaanira nga bwe kibeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina kyaffe. Mu kiseera ky’olukuŋŋaana era nga luwedde, baganda baffe ne bannyinaffe bandyewaze okwambala emisono egitasaana, egyolesa omwoyo gw’ensi era egitalaga nti tuli ba njawulo. Bannyinaffe basaanidde okwegendereza nti omusono n’obuwanvu bwa sikaati zaabwe n’ebiteeteeyi biba ebyo ebisaanira. (1 Tim. 2:9, 10) Ka tube nga tuli mu lukuŋŋaana, nga tuli mu wooteeri oba nga tugula bintu mu dduuka, ebiseera byonna twandibadde tukyoleka nti tuli baweereza ba Katonda, ne tutassaawo kyesittaza kyonna.—2 Kol. 6:3.
7 Okubatizibwa kujja kubaawo mu lukuŋŋaana olunene ku Lw’Omukaaga ku makya. Watchtower aka Apuli 1, 1995, olupapula 30, koogera ku nneeyisa gye tusaanidde okwoleka ku mukolo ogwo. Kalaga nti “tusaanidde okutwala omukolo gw’okubatizibwa nga gwa kitiibwa. Si kiseera kya kucaamuukirira ekisukkiridde, oba okwenyigira mu binyumu. Ku ludda olulala, si kiseera kya nnaku.” Kyandibadde tekisaana abo abagenda okubatizibwa okwambala engoye ez’okubatirizibwamu ezitababikka bulungi oba ezitangaala, ka babeere basajja oba bakazi. N’olwekyo, bonna basaanidde okwoleka ekitiibwa n’essanyu ly’okubatizibwa okw’Ekikristaayo.
8 Peetero atujjukiza ‘kye tugwanidde okubeera mu mpisa entukuvu n’ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.’ (2 Peet. 3:11, NW) Ebigambo byaffe n’ebikolwa byaffe ku Lukuŋŋaana lwa District Olwa “Abakolera ku Kigambo kya Katonda,” ka biyambe abatunuulizi ab’emitima emyesigwa okumanya era n’okusinza Katonda waffe omukulu, oyo agwanidde ekitiibwa kyonna n’ettendo.—1 Kol. 14:24, 25.