“Ekigambo Ekyogerwa mu Kiseera Ekituufu”
1 Okubuulira abalala obubaka obw’obulamu kusoomooza gy’oli? Muli owulira ng’oteekwa okwogera ekintu ekiraga nti olina okutegeera n’obuyigirize obw’amaanyi okusobola okuwuniikiriza abakuwuliriza? Yesu bwe yatuma abayigirizwa be, yabagamba: “Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (Mat. 10:7) Obubaka tebwali buzibu ate era bwali bwangu okubuulira abalala. Bwe kiri ne leero.
2 Emirundu mingi ebigambo bitono nnyo bye byetaagisa okutandika emboozi. Firipo bwe yasanga Omuwesiyopya omulaawe, yamubuuza: “Obitegedde by’osoma?” (Bik. 8:30) Nga ‘kigambo ekyayogerwa mu kiseera ekituufu’ ekyavaamu okukubaganya ebirowoozo okw’omuganyulo!—Nge. 25:11, NW.
3 Oyinza okutuukirira abantu mu ngeri y’emu mu buweereza bwo. Otya? Nga weetegereza era ng’okozesa ebigambo ebituukagana n’embeera. Buuza ekibuuzo, era owulirize engeri gye kiddibwamu.
4 Ebibuuzo Ebimu by’Oyinza Okubuuza: Okusobola okutandika emboozi, oyinza okukozesa ekimu ku bibuuzo bino:
◼ “Okozesa Essaala ya Mukama Waffe (oba, Eya Kitaffe) mu kusinza kwo?” (Mat. 6:9, 10) Yogera ku bimu ebiri mu ssaala, ate oluvannyuma ogambe nti: “Abantu abamu babuuza nti, ‘Erinnya lya Katonda, Yesu lye yagamba nti lirina okutukuzibwa (oba okugulumizibwa) lye liriwa?’ Abalala babuuza, ‘Obwakabaka Yesu bwe yagamba nti tulina okusaba kye ki?’ Wali ofunye eby’okuddamu ebimatiza ku bibuuzo bino?”
◼ “Wali weebuuzizzaako: ‘Amakulu g’obulamu ge galuwa?’” Laga nti gakwataganyizibwa n’okumanya Katonda.—Mub. 12:13; Yok. 17:3.
◼ “Olowooza nti okufa kulimalibwawo?” Kozesa Isaaya 25:8 n’Okubikkulirwa 21:4 okuwa eky’okuddamu ekyesigika.
◼ “Waliwo engeri ennyangu ey’okumalawo ebizibu ebiri mu nsi?” Laga nti Katonda ayigiriza nti “yagalanga muliraanwa wo.”—Mat. 22:39.
◼ “Akatyabaga mu bwengula ke kanaaviirako ensi yaffe okuzikirizibwa?” Mubuulire ekisuubizo kya Baibuli nti ensi ejja kubeerawo emirembe gyonna.—Zab. 104:5.
5 Buulira amawulire amalungi mu ngeri ennyangu, butereevu era n’ekisa. Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwo okubuulira abalala “ekigambo” eky’amazima.