LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/01 lup. 8
  • Ennyanjula Ennyangu Ze Zisinga Obulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyanjula Ennyangu Ze Zisinga Obulungi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Engeri y’Okukozesaamu Ennyanjula Ezituweereddwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Faayo ku Bantu—Ng’Otegeka Bulungi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Engeri y’Okuteekateeka Okugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Gaba Magazini Eziwa Obujulirwa ku Mazima
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 4/01 lup. 8

Ennyanjula Ennyangu Ze Zisinga Obulungi

1 Lwaki ababuulizi abato batera okuwulirizibwa abo be babuulira obubaka bw’Obwakabaka? Ensonga emu eri nti bye boogera byangu okutegeera. Ababuulizi abamu bayinza okulowooza nti okubuulira mu ngeri ematiza kyetaagisa ennyanjula esengekeddwa mu ngeri ey’obukugu. Kyokka ebibaddewo biraga nti ennyanjula ennyangu era etegeerekeka y’esinga obulungi.

2 Yesu yalangirira Obwakabaka bwa Katonda mu ngeri ennyangu, ng’atuukira ddala ku nsonga. Era yayigiriza abayigirizwa be okukola kye kimu. (Mat. 4:17; 10:5-7; Luk. 10:1, 9) Yakozesa ennyanjula ennyangu, ebibuuzo, n’ebyokulabirako okusobola okusikiriza abamuwuliriza era n’okutuuka ku mitima gyabwe. (Yok. 4:7-14) Kiba kirungi okukoppa ekyokulabirako kye n’okukozesa ennyanjula esobola okutegeerekeka amangu.

3 ‘Amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ bwe bubaka bwe tulina okulangirira. (Mat. 24:14) Okukozesa Obwakabaka ng’omutwe gwo omukulu kijja kukuyamba okukuuma ennyanjula yo nga nnyangu. Yogera ku bintu ebikwata ku bakuwuliriza. Abakazi bafaayo nnyo ku maka gaabwe okusinga ku nsonga ezikwata ku by’obufuzi. Taata asinga kufaayo ku mulimu gwe n’obutebenkevu bw’amaka ge. Abavubuka bafaayo nnyo ku biseera byabwe eby’omu maaso, ate abakulu bafaayo nnyo ku bulamu obulungi n’obukuumi. Abantu bafaayo nnyo ku bintu ebiri mu bitundu byabwe okusinga eby’ebunaayira. Ng’omaze okwogera ku nsonga ezikwata ku bantu mu kitundu, yogera ku mikisa abantu abawulize gye banaafuna wansi bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda. Ebigambo ebitonotono era nga byangu, ebitegekeddwa obulungi awamu n’ekyawandiikibwa bye biyinza okukozesebwa okusikiriza abakuwuliriza.

4 Oyinza okutandika emboozi ng’ogamba:

◼ “Awatali kubuusabuusa okikkiriza nti abantu boolekaganye n’endwadde nnyingi ezitawona. Naye obadde okimanyi nti Katonda asuubiza okuggyawo endwadde zonna, awamu n’okufa?” Muleke addemu, oluvannyuma soma Okubikkulirwa 21:3, 4.

5 Ng’okozesa ennyanjula ennyangu, ojja kutuuka ku mitima gy’abantu bangi mu kitundu ky’obuuliramu, ng’obayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa era n’okubeera n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.​—Yok. 17:3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share