Kye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Feb 1
“Waliwo obweraliikirivu bwa maanyi nnyo ku bikwata ku kwonoonebwa kw’obutonde. Naye wali olowoozezzaako ku kwonoonebwa kw’ebirowoozo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eggumiza obukulu bw’okubeera abayonjo mu mubiri ne mu by’omwoyo. [Soma 2 Abakkolinso 7:1.] Nkakasa nti ojja kuganyulwa nnyo mu kusoma ebiri mu magazini eno.”
Awake! Feb 8
“Awatali kubuusabuusa okirabye nti wadde ng’obufumbo bungi butandika bulungi, naye ate bungi ku bwo busasika. Nnandyagadde okukulekera magazini eno, kubanga ennyonnyola okuva mu Baibuli engeri obufumbo gye buyinza okufuulibwa obw’olubeerera era nga bwa ssanyu.”
The Watchtower Mar 1
“Wali olowoozezzaako ku ngeri gy’oyinza okufunamu obulagirizi obusingirayo ddala obulungi mu bulamu bwo era n’engeri gy’oyinza okusalawo obulungi ensonga enkulu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Obumu ku bulagirizi obusingayo obulungi, gamba ng’ekiragiro eky’okuyisa bannaffe obulungi nga bwe twagala batuyise, busangibwa mu Baibuli. [Soma Matayo 7:12.] Misingi ki emirala egisobola okutuganyula? Eky’okuddamu ojja kukisanga mu magazini eno.”
Awake! Feb 22
“Oyinza okuba ng’okirabye nti ebifo bingi awakolerwa emirimu bifuuse bya kabi nnyo. Magazini eno erimu ebirowoozo ebirungi ku ngeri gye biyinza okufuulibwamu ebirungi. Era eraga nti engeri gye tutunuuliramu emirimu gye tukola erina akakwate n’essanyu lye tufunamu. Wandyagadde okugisoma?”