Faayo ku Bantu—Ng’Obabuuza Ebibuuzo era ng’Obawuliriza
1 Abantu bangi baagala nnyo okuwa endowooza yaabwe naye tebaagala kubayigiriza oba kubabuuza bibuuzo bingi. N’olwekyo, ffe ng’abaweereza Abakristaayo tulina okuyiga okukozesa obulungi ebibuuzo okusobola okutegeera endowooza z’abantu.—Nge. 20:5.
2 Ebibuuzo bye tubuuza birina okuba nga bireetera omuntu okulowooza so si okumufeebya. Ow’oluganda omu bw’aba ng’abuulira nnyumba ku nnyumba abantu ababuuza bw’ati, “Olowooza ekiseera kirituuka abantu ne baba nga bassiŋŋanamu ekitiibwa?” Okusinziira ku ekyo omuntu ky’aba azzeemu, ayongerako bw’ati, “Olowooza kiki ekyetaagisa okusobola okuwaŋŋana ekitiibwa?” oba “Lwaki olowooza bw’otyo?” Ow’oluganda omulala bw’aba ng’abuulira embagirawo oba mu bifo eby’olukale, bw’ati bw’abuuza abazadde, “Kiki ekisinga okukusanyusa mu kubeera omuzadde?” Era n’ayongerako bw’ati, “Ate kiki ekisinga okukweraliikiriza gwe ng’omuzadde?” Weetegereze nti ebibuuzo bino bireetera omuntu okuwa endowooza ye so si okumufeebya. Olw’okuba embeera z’abantu tezifaanagana, kiyinza okutwetaagisa okukyusakyusa ebibuuzo bye tukozesa okusobola okutuukana n’abantu ab’omu kitundu kyaffe.
3 Okumanya Endowooza y’Abantu: Bwe baba bawa endowooza yaabwe, bawulirize bulungi nga tobasala kirimi. (Yak. 1:19) Basiime olw’ebyo bye baba boogedde. (Bak. 4:6) Oyinza okumugamba nti, “Weebale kumpa ndowooza yo.” Babuuzeeyo ebibuuzo ebirala ebinaakuyamba okumanya ensonga lwaki balowooza bwe batyo. Yogera ku bintu bye mukkiriziganyaako. Bw’oba ng’oyagala okumusomerayo ekyawandiikibwa, oyinza okumubuuza, “Wali olowoozezzaako ku nsonga eno?” Weewale okukalambira ku nsonga oba okukaayana.—2 Tim. 2:24, 25.
4 Engeri abantu gye baddamu bye tubabuuza esinziira ku ngeri gye tubawulirizaamu. Basobola okumanya oba nga tussizzaayo omwoyo ku bye boogera oba nedda. Omulabirizi atambula yagamba, “Bw’olaga nti oli mwetegefu okuwuliriza abantu, kibasikiriza era kiraga nti obafaako.” Ate era, okuwuliriza abalala kiraga nti obassaamu ekitiibwa era kiyinza n’okubasikiriza okuwuliriza amawulire amalungi ge tuba tubatwalidde.—Bar. 12:10.