EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 1-3
“Obwakabaka obw’Omu Ggulu Busembedde”
Engeri Yokaana Omubatiza gye yayambalangamu ne gye yalabikangamu byali biraga nti teyalina bintu bingi era nti yali yeemalidde ku kuweereza Katonda
Enkizo Yokaana gye yalina ey’okuteekerateekera Yesu ekkubo, yali esinga ekintu ekirala kyonna kye yali yeefiirizza
Bwe tuteetuumako bintu bingi kitusobozesa okukola ekisingawo mu buweereza bwaffe n’okuba abamativu. Tusobola okwewala okwetuumako ebintu nga . . .
tumanya ebintu byennyini bye twetaaga
twewala okugula ebintu bye tuteetaaga
tuba n’embalirira
tweggyako ebintu bye tutakozesa
twewala amabanja
twewala okukola emirimu emingi
Yokaana yalyanga nzige n’omubisi gw’enjuki
Bwe nneewala okunoonya ebintu ebingi kijja kunsobozesa okutuuka ku kiruubirirwa kyange kino