LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Febwali lup. 4
  • Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe Ebyesigamiziddwa ku Baibuli
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okugaba Ebitabo mu Kitundu mwe Boogera Ennimi Ezitali Zimu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • “Nja Kutwala Akatabo Ko Singa Naawe Otwala Akange”
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Febwali lup. 4
Omukyala awuliriza ng’Omujulirwa wa Yakuwa amuwa akaabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe

Yesu yagamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Mat 10:8) Tugondera ebigambo bya Yesu ebyo, era tetutunda Bayibuli zaffe oba ekitabo ekirala kyonna. (2Ko 2:17) Wadde kiri kityo, ebitabo byaffe birimu amazima agava mu Kigambo kya Katonda. Okukuba ebitabo byaffe n’okubituusa mu bitundu ebitali bimu kitwala ssente nnyingi nnyo. N’olwekyo, kiba kirungi okutwala ebyo byokka bye twetaaga.

Tomala gawa buwi bantu bitabo, ne bw’oba ng’obuulira mu bifo ebya lukale. (Mat 7:6) Nga tonnaba kuwa muntu kitabo, sooka oyogere naye olabe obanga anaakisoma. Bw’oba oyogera naye, weebuuze obanga alina ky’akoze ku ebyo ebiragiddwa mu kasanduuko. Bw’oba tokakasa obanga ekitabo ky’oyagala okumuwa anaakisoma, kiba kirungi n’omulekera tulakiti. Kyokka singa omuntu asaba magazini oba ekitabo ekirala, tusaanidde okumuwa ekyo ky’asabye.​—Nge 3:27, 28.

OMUNTU ONO . . .

  • awulirizza bulungi?

  • yeenyigidde mu mboozi?

  • akkirizza okusoma kye njagala okumuwa?

  • alina ky’awaddeyo okuwagira omulimu gwaffe?

  • asiimye bye mmusomedde mu Bayibuli

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share