Ebiseera mu Byawandiikibwa Ebitukuvu
Ebiseera mu Byawandiikibwa Ebitukuvu
Essomo lino linnyonnyola ebiseera ebikozesebwa mu Baibuli, kalenda ezikozesebwa ennyo, ennaku ez’ebyafaayo mu Baibuli, n’ensonga endala enkulu ezikwata ku ‘biseera.’
1, 2. Kiki Sulemaani kye yawandiika ekikwata ku biseera, era olw’okuba ebiseera bidduka nnyo, kiki kye twandikoze?
1 OMUNTU akimanyi bulungi nti ebiseera bigenda biyitawo. Buli akalimi k’essaawa lwe katambula, ebiseera byeyongerayo mu maaso. N’olwekyo, kiba kya magezi singa omuntu akozesa bulungi ebiseera bye. Nga Kabaka Sulemaani bwe yawandiika: “Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w’eggulu kiriko ekiseera kyakyo: ekiseera eky’okuzaalirwamu, n’ekiseera eky’okufiiramu; ekiseera eky’okusimbiramu, n’ekiseera eky’okusimbuliramu ekyo ekyasimbibwa; ekiseera eky’okuttiramu, n’ekiseera eky’okuwonyezaamu; ekiseera eky’okwabizaamu, n’ekiseera eky’okuzimbiramu; ekiseera eky’okukaabiramu amaziga, n’ekiseera eky’okusekeramu.” (Mub. 3:1-4) Ebiseera nga bidduka bulala! Emyaka 70 omuntu gy’awangaala mimpi nnyo ne kiba nti tayinza kuyiga buli kimu wadde n’okunyumirwa ebintu ebirala byonna ebirungi Yakuwa by’awadde omuntu ku nsi eno. “Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo. Era yateeka ebiseera ebitaggwaawo mu mutima gwabwe, abantu n’okuyinza ne batayinza kukebera mulimu Katonda ow’amazima gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.”—Mub. 3:11, NW; Zab. 90:10.
2 Yakuwa abaddewo okuva edda n’edda era ajja kubaawo emirembe n’emirembe. Kyokka, byo ebitonde bye abigerekera ebiseera nga bw’aba ayagadde. Bamalayika b’omu ggulu, nga mw’otwalidde ne Setaani omujeemu, nabo bategeera bulungi ebikwata ku biseera. (Dan. 10:13; Kub. 12:12) Abantu boogerwako bwe bati, ‘Bonna bibagwira bugwizi ebiseera n’ebigambo.’ (Mub. 9:11) Alina essanyu oyo ateerabira Katonda era akkiriza enteekateeka ya Katonda ey’okumuwa ‘emmere mu kiseera kyayo’!—Mat. 24:45.
3. Ebiseera n’ebbanga bifaanagana bitya?
3 Ebiseera Bidda Ludda Lumu. Wadde ebiseera bikwata ku buli muntu, tewali muntu ayinza kunnyonnyola kye biri. Okufaananako ebbanga, tebikoma. Tewali n’omu ayinza kunnyonnyola gye byava era ne gye biraga. Ebintu ebyo Yakuwa yekka y’abimanyi, era ayogerwako nga Katonda ‘ow’emirembe n’emirembe.’—Zab. 90:2.
4. Kiki ekiyinza okwogerwa ku ntambula y’ebiseera?
4 Ku luuyi olulala, waliwo ebintu ebimu bye tuyinza okutegeera ku biseera. Entambula yaabyo eyinza okupimibwa. Okugatta ku ekyo, bidda ludda lumu lwokka. Okufaananako ebidduka ebiri mu luguudo oludda oludda olumu, ebiseera nabyo bidda ludda lumu, mu maaso. Ka bibe nga biddukira ku sipiidi ki mu maaso, ebiseera tebisobola kudda mabega. Kati biyinza okulabika ng’ebitatambula, kyokka mu butuufu bitambula era tewali kiyinza kubiremesa kweyongera mu maaso.
5. Lwaki kiyinza okugambibwa nti twaganyulwa oba twafiirwa mu biseera ebyayita?
5 Ebiseera Ebyayita. Ebiseera ebyayita tebiyinza kukomezebwawo. Okugezaako okubikomyawo kiba nga okugezaako okuzza ekiyira ky’amazzi gye kiva, oba akasaale eri oyo akalasizza. Ensobi ze twakola mu biseera ebyayita zaalekawo ebbala, era Yakuwa yekka y’ayinza okulisangulawo. (Is. 43:25) Mu ngeri y’emu, ebintu ebirungi omuntu bye yakola mu biseera ebyayita ‘birikomawo gy’ali’ nga Yakuwa amuwa omukisa. (Nge. 12:14; 13:22) Tuyinza okuba twaganyulwa oba twafiirwa mu biseera ebyayita, kyokka ebiseera ebyo tetukyabirinako buyinza. Ababi boogerwako bwe bati: “Kubanga balisalwa mangu ng’essubi, baliwotoka ng’omuddo ogumera.”—Zab. 37:2.
6. Ebiseera eby’omu maaso byawukana bitya ku byayita, era lwaki twandyagadde okumanya ebibikwatako?
6 Ebiseera eby’Omu Maaso. Ebiseera eby’omu maaso bya njawulo. Byo bijja gye tuli. Nga tuyambibwako Ekigambo kya Katonda, tuyinza okumanya ebizibu ebiri mu maaso era ne twetegeka okubyaŋŋanga. Tuyinza okweterekera ‘eby’obuggaga mu ggulu.’ (Mat. 6:20) Okuyitawo kw’ebiseera tekuyinza kwonoona bya bugagga ebyo. Tebijja kutuggibwako era bijja kutuviiramu emikisa egy’olubeerera mu biseera eby’omu maaso. Twagala okukozesa obulungi ebiseera byaffe, kubanga engeri gye tubikozesaamu ekwata ku biseera byaffe eby’omu maaso.—Bef. 5:15, 16.
7. Biki ebipima ebiseera Yakuwa by’awadde omuntu?
7 Ebipima Ebiseera. Essaawa ez’omu kiseera kyaffe zituyamba okupima ebiseera. Mu ngeri y’emu, Yakuwa, Omutonzi, atuteereddewo ebipima ebiseera ebinene ennyo—ensi eyeetooloola, omwezi ogwetooloola ensi, n’enjuba—ne kiba nti, omuntu ayinza okumanya ebiseera ng’ali ku nsi. “Katonda n’ayogera nti wabeewo ebyaka mu bbanga ery’eggulu, byawulenga emisana n’ekiro: bibenga ng’obubonero, n’ebiro, n’ennaku n’emyaka.” (Lub. 1:14) Bwe kityo, ebitonde bino byonna eby’omu bwengula bipima bulungi nnyo ebiseera.
8. Ekigambo “olunaku” kikozesebwa mu ngeri ki ez’enjawulo mu Baibuli?
8 Olunaku. Mu Baibuli Ekigambo “olunaku” kirina amakulu agatali gamu, era nga bwe kikozesebwa mu ngeri ezitali zimu mu kiseera kyaffe. Ensi bwe yeetooloola omulundi gumu, ekyo kiba kyenkana olunaku lumu olw’essaawa 24. Mu ngeri eyo, olunaku lubaamu ekiseera eky’emisana n’eky’ekiro, byonna awamu ebiweza essaawa 24. (Yok. 20:19) Kyokka, ekiseera eky’emisana, ekirimu essaawa 12, era kiyitibwa olunaku. “Katonda obutangaavu n’abuyita Olunaku, n’ekizikiza n’akiyita Ekiro.” (Lub. 1:5, NW) Wano nno era we wava ekigambo “ekiro,” ekiseera eky’essaawa 12 ez’ekizikiza. (Kuv. 10:13) Amakulu amalala ag’ekigambo “olunaku” oba “ennaku” gategeeza ekiseera ekikwataganyizibwa n’omuntu omututumufu. Ng’ekyokulabirako, Isaaya yafuna okwolesebwa kwe mu “mirembe [nnaku] gya Uzziya, Yosamu, Akazi ne Keezeekiya” (Is. 1:1), era ennaku za Nuuwa ne Lutti zoogerwako ng’ez’obunnabbi. (Luk. 17:26-30) Peetero yalaga engeri endala ekigambo “olunaku” gye kikozesebwamu bwe yagamba nti ‘eri Yakuwa olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.’ (2 Peet. 3:8) Mu kitabo ky’Olubereberye, olunaku olwatonderwako ebintu kiseera kiwanvu nnyo nga kirimu enkumi n’enkumi z’emyaka. (Lub. 2:2, 3; Kuv. 20:11) Ekiba kyogerwako mu Baibuli kye kiraga engeri ekigambo “olunaku” gye kirina okukozesebwamu.
9. (a) Okugabanyamu olunaku essaawa 24 nga buli ssaawa erimu eddakiika 60 kwatandikira wa? (b) Biki ebiraga ebiseera ebyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?
9 Essaawa. Olunaku okugabanyizibwamu essaawa 24 kyatandikira mu Misiri. Essaawa okugigabanyamu eddakiika 60 kyava mu Babulooni. Olunaku okugabanyizibwamu essaawa tekyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.a Mu kifo ky’olunaku okugabanyizibwamu essaawa, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bikozesa ebigambo nga “enkya,” “mu ttuntu,” ne ‘obudde okuwungeera,’ okulaga ebiseera. (Lub. 24:11; 43:16; Ma. 28:29; 1 Bassek. 18:26) Ekiro kyagabanyizibwamu ebiseera bya mirundi esatu ebiyitibwa ‘ebisisimuka by’ekiro’ (Zab. 63:6), era nga bibiri ku byo mu Baibuli biyitibwa: “ekisisimuka ekya wakati” (Balam. 7:19) n’ekirala ‘ekisisimuka eky’enkya.’—Kuv. 14:24; 1 Sam. 11:11.
10. Abayudaaya baabala batya essaawa mu kiseera kya Yesu, era okumanya kino kituyamba kitya okumanya ekiseera Yesu we yafiira?
10 Kyokka, mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani ekigambo “essaawa” kikozesebwa nnyo. (Yok. 12:23, NW; Mat. 20:2-6) Essaawa zaabalibwa okuva ku kuvaayo kw’enjuba, kwe kugamba ku ssaawa nga 12 ez’oku makya. Baibuli eyogera ku ‘ssaawa ssatu’ ez’oku makya. ‘Essaawa mukaaga’ eyogerwako ng’ekiseera ekizikiza bwe kyabuutikira Yerusaalemi nga Yesu akomereddwa. Obwo bwali budde bwa ttuntu. Okufa kwa Yesu ku muti kigambibwa nti kwaliwo nga ‘ku ssaawa mwenda.’—Mak. 15:25; Luk. 23:44; Mat. 27:45, 46.
11. Okukozesa “wiiki” okupima ebiseera, kyatandika ddi?
11 Wiiki. Dda nnyo, omuntu yatandika okubala ennaku mu miganda gya nnaku musanvu musanvu. Mu kukola ekyo, yakoppa ekyokulabirako ky’Omutonzi eyagatta ku nnaku omukaaga ze yatonderamu ebintu olunaku olw’omusanvu. Nuuwa yabala ennaku mu miganda gya nnaku musanvu musanvu. Mu Lwebbulaniya, “wiiki” etegeeza ekiseera ekirimu ebitundu musanvu.—Lub. 2:2, 3; 8:10, 12; 29:27.
12. Emyezi egyogerwako mu Baibuli gye giruwa, era gyawukana gitya ku gy’omu kiseera kino?
12 Emyezi. Baibuli eyogera ku ‘myezi.’ (Kuv. 2:2; Ma. 21:13; 33:14; Ezer. 6:15) Emyezi egy’omu kiseera kyaffe si gye gimu n’egyo egyogerwako mu Baibuli, kubanga gyo tegipimirwa ku mwezi. Gyo gipimirwa ku njuba. So ng’ate emyezi egyogerwako mu Baibuli gipimirwa ku kuboneka kw’omwezi. Ekiseera wakati w’okuboneka kw’omwezi okumu okutuuka ku kuboneka kw’omwezi okulala kyenkana ennaku 29, essaawa 12, n’eddakiika 44 era kirimu ebisanja bina. Omuntu bw’atunuulira engeri omwezi gye gufaananamu ayinza okumanya olunaku lw’omwezi ogwo.
13. Ebiseera ebikwata ku Mataba byapimibwa bitya obulungi?
13 Nuuwa bwe yali awandiika ebintu ebikulu, teyasinziiranga ku kuboneka kwa mwezi okubalirira ebiseera, wabula omwezi yagutwalanga okuba nga gulimu ennaku 30. Okusinziira ku kipimo kye yateeka ku lyato, tutegeera nti amazzi g’Amataba gaayanjala ensi okumala ekiseera kya myezi etaano, oba ‘ennaku kikumi mu ataano.’ Oluvannyuma lw’emyezi 12 n’ennaku 10, ensi yaggwaako amazzi abaali mu lyato ne basobola okufuluma. Bwe kityo, ebiseera ebintu ebyo ebikulu we byabeererawo, byapimibwa bulungi.—Lub. 7:11, 24; 8:3, 4, 14-19.
14. (a) Yakuwa yateekateeka atya ebiro eby’enjawulo? (b) Enteekateeka y’ebiro erikoma ddi?
14 Ebiro. Mu kuteekateeka ensi abantu basobole okugibeerako, Yakuwa yakozesa bulungi ebiro eby’enjawulo. (Lub. 1:14) Ebiro eby’enjawulo bibaawo olw’okuba ensi yeewunzikamu nga yeetooloola enjuba. Olw’okwewunzika okwo, ekitundu eky’obukiika kkono kyewunzika eri enjuba ate oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, ekitundu eky’obukiika ddyo nakyo ne kyewunzika eri enjuba. Ekyo kisobozesa ebiro eby’enjawulo okuddiriŋŋana. Okukyuka kw’ebiro mu ngeri eyo, kusobozesa ebiseera eby’enjawulo eby’okusiga n’okukungula okubaawo. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti enteekateeka eno ey’okukyuka kw’ebiro mu mwaka, ejja kubaawo emirembe gyonna. “Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’okukungula, era empewo n’ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n’ekiro tebiggwengawo.”—Lub. 8:22.
15, 16. (a) Ekiseera eky’enkuba mu Nsi Ensuubize kiyinza kugabanyizibwamu kitya? (b) Nnyonnyola ebiro by’enkuba n’engeri gye bikwataganyizibwa n’obulimi.
15 Omwaka mu Nsi Ensuubize guyinza okwawulwamu ekiseera eky’enkuba n’ekiseera eky’ekyeya. Okuva mu makkati ga Apuli okutuuka mu makkati ga Okitobba, enkuba etonnya eba ntono. Ekiseera eky’enkuba kiyinza okwawulwamu eky’enkuba esooka oba enkuba ya ‘ttoggo’ (Okitobba-Noovemba); eky’enkuba ey’amaanyi n’obudde obunnyogovu (Ddesemba-Febwali); n’enkuba esembayo oba enkuba ya “ddumbi” (Maaki-Apuli). (Ma. 11:14; Yo. 2:23) Engeri eno ebiseera gye bigabanyizibwamu eyawukanamu mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Enkuba esooka egonza ettaka ekkalubo, bwe kityo ne kiba nti okuva mu Okitobba okutuuka mu Noovemba kiba kiseera kya ‘kulima’ ‘n’okusiga ensigo.’ (Kuv. 34:21; Leev. 26:5) Mu kiseera eky’enkuba ey’amaanyi okuva mu Ddesemba okutuuka mu Febwali, omuzira guyinza okugwa, era mu Jjanwali ne Febwali, obudde buba bunnyogogera ddala mu bifo by’ensozi. Baibuli egamba nti Benaya, omu ku basajja ba Dawudi ab’amaanyi, yatta empologoma “mu biro by’omuzira.”—2 Sam. 23:20.
16 Omwezi gwa Maaki ne Apuli (emyezi gya Nisaani ne Iyari egy’Abebbulaniya) myezi ‘gy’enkuba ya ddumbi.’ (Zek. 10:1) Eno ye nkuba esembayo, eyeetaagisa ensigo ezisigiddwa zisobole okukula obulungi, n’okufuna amakungula amangi. (Kos. 6:3; Yak. 5:7) Era kino kye kiseera eky’amakungula agasooka, era Katonda yalagira Isiraeri okuwaayo ebibala ebibereberye nga Nisaani 16. (Leev. 23:10; Luus. 1:22) Kino kiba kiseera kya ssanyu. “Ebimuli birabise ku ttaka; ebiro bituuse ennyonyi mwe ziyimbira, n’eddoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaffe; omutiini gwengeza ettiini zaagwo embisi, n’emizabbibu gimulisizza, giwunya akaloosa kaagyo.”—Lu. 2:12, 13.
17. (a) Ebimera bibeesebwawo bitya mu kiseera eky’ekyeya? (b) Laba ekipande “Omwaka gw’Abaisiraeri” era n’engeri omwaka gye gugabanyizibwamu okusinziira ku biro ebyogeddwako mu butundu 15-17. (c) Okukungula okusooka, okukungula ensigo, n’okukungula ebibala byonna kwabangawo ddi, era mbaga ki ezaakwataganyizibwa n’ebiseera ebyo?
17 Awo nga mu makkati ga Apuli ekiseera eky’ekyeya kitandika, naye mu kiseera kino, naddala ku mbalama z’ennyanja ne ku njuyi z’ensozi ez’ebugwanjuba, omusulo gubeesaawo ebimera. (Ma. 33:28) Mu Maayi, ensigo zikungulwa, era ku nkomerero y’omwezi guno Embaga eya Wiiki (Penteekoote) yakwatibwanga. (Leev. 23:15-21) Obudde bwe bweyongera okubuguma, n’ettaka okukala, emizabbibu gyengera era ne gikungulibwa, era oluvannyuma n’ebibala ebirala nga emizeyituuni, empirivuma n’ettiini nabyo bikungulwa. (2 Sam. 16:1) Ekiseera eky’ekyeya bwe kiggwaako, era enkuba esooka n’etandika, ebimera byonna mu nsi biba bimaze okukungulwa, era mu kiseera ekyo (nga ku ntandikwa ya Okitobba) Embaga ey’Ensiisira oba eya Weema, yakwatibwanga.—Kuv. 23:16; Leev. 23:39-43.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo ‘essaawa’ kirabika mu King James Version mu Dan. 3:6, 15; 4:19, 33; 5:5, okuva mu lulimi Olwamalayiki; kyokka ekitabo kya Strong ekiyitibwa Concordance, Hebrew and Chaldee Dictionary, kiwa amakulu g’ekigambo ekyo nga “akaseera.” Ne mu New World Translation of the Holy Scriptures kivvuunulwa nga “akaseera.”
[Akasanduuko ekiri ku lupapula 6
OMWAKA GW’ABAISIRAERI
Erinnya ly’Omwezi Gukwataganyizibwa ne Omwaka Omwaka Omutukuvu Ogwa Bulijjo Ebyawandiikibwa Embaga
Nisaani (Abibu) Maaki–Apuli Omwezi 1 Omwezi 7 Kuv. 13:4;
Nisaani 14 Okuyitako Nek. 2:1
Nisaani 15-21 Embaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse
Nisaani 16 Okuwaayo Ebibala Ebibereberye
Iyari (Zivu) Apuli-Maayi Omwezi 2 Omwezi 8 1 Bassek. 6:1
Sivani Maayi-Jjuuni Omwezi 3 Omwezi 9 Eseza 8:9 Sivani 6 Embaga eya Wiiki (Penteekoote)
Tammuzi Jjuuni–Jjulaayi Omwezi 4 Omwezi 10 Yer. 52:6
Abu Jjulaayi-Agusito Omwezi 5 Omwezi 11 Ezer. 7:8
Erulu Agusito-Ssebutemba Omwezi 6 Omwezi 12 Nek. 6:15
Tisiri (Esanimu) Ssebutemba-Okitobba Omwezi 7 Omwezi 1 1 Bassek. 8:2 Tisiri 1 Olunaku lw’okufuuwa amakondeere Tisiri 10 Olunaku olw’Okutangiririra
Tisiri 15-21 Embaga y’Ensiisira
Tisiri 22 Olukuŋŋaana olutukuvu
Kesivani (Buulu) Okitobba-Noovemba Omwezi 8 Omwezi 2 1 Bassek. 6:38
Kisirevu Noovemba-Ddesemba Omwezi 9 Omwezi 3 Nek. 1:1
Tebesi Ddesemba-Jjanwali Omwezi 10 Omwezi 4 Eseza 2:16
Ssebati Jjanwali-Febwali Omwezi 11 Omwezi 5 Zek. 1:7
Adari Febwali-Maaki Omwezi 12 Omwezi 6 Eseza 3:7
Veda (omwezi ogugattibwako) Omwezi 13