Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Okitobba 1
“Tulaga buli omu mu kitundu kino ekibuuzo kino. [Mulage ekibuuzo ekiri kungulu.] Abantu abamu balowooza nti okusaba kuba kumala biseera, era nti tewali awulira ssaala zaffe. Ate abalala bagamba nti Katonda awulira okusaba kwabwe. Ggwe olowooza ki ku nsonga eyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli ky’eyogera ku kusaba. [Soma Isaaya 30:19.] Akatabo kano kawa obukakafu obulaga nti Katonda awulira okusaba kwaffe bwe tumusaba mu ngeri entuufu.”
Awake! Okitobba
“Abantu bangi beebuuza ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. Olowooza kiba kikyamu okubuuza Katonda ensonga lwaki waliwo okubonaabona? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yobu, omusajja eyali omutuukirivu, yayagala okubaako by’abuuza Katonda. [Soma Yobu 23:3-5.] Akatabo kano kalimu ebibuuzo bisatu abantu bye bandyagadde okubuuza Katonda singa kisoboka, era kalaga engeri Bayibuli gy’ebiddamu.”