Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
JJULAAYI 4-10
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 18-19
“Baluzirayi Yassaawo Ekyokulabirako Ekirungi mu Kuba Omwetoowaze”
w07-E 7/15 lup. 14 ¶5
Baluzirayi Yali Amanyi Obusobozi Bwe We Bukoma
Awatali kubuusabuusa, Dawudi yasiima nnyo obuyambi Baluzirayi bwe yamuwa. Naye kirabika Dawudi yali tayagala bwagazi kusasula Baluzirayi olw’ebyo bye yamukolera. Baluzirayi yali mugagga era nga teyeetaaga bintu. Kirabika Dawudi yali ayagala Baluzirayi agende mu lubiri olw’engeri ennungi omusajja oyo omukadde ze yalina. Okubeera mu lubiri ekiseera kyonna kyandiweesezza Baluzirayi ekitiibwa, era yandifunye enkizo ey’okubeera okumpi ne Kabaka nga mukwano ggwe.
w07-E 7/15 lup. 14 ¶7
Baluzirayi Yali Amanyi Obusobozi Bwe We Bukoma
Emu ku nsonga eyinza okuba nga yaleetera Baluzirayi okugaana okugenda mu lubiri eri nti yali akaddiye. Ayinza okuba nga yakiraba nti yali tajja kumala kiseera kiwanvu ng’akyali mulamu. (Zabbuli 90:10) Yali akoze kye yali asobola okuwagira Dawudi, naye era yali amanyi obusobozi bwe we bukoma. Wadde nga yali akimanyi nti okubeera mu lubiri kyandimuviiriddeko okufuna ebitiibwa n’ettutumu, ekyo teyakikkiriza kumulemesa kumanya busobozi bwe we bukoma. Obutafaananako Abusaalomu eyali ow’amalala, Baluzirayi yayoleka obwetoowaze.—Engero 11:2.
w07-E 7/15 lup. 15 ¶1-2
Baluzirayi Yali Amanyi Obusobozi Bwe We Bukoma
Ebyo bye tusoma ku Baluzirayi bituyigiriza obutagwa lubege. Ku luuyi olumu, tetusaanidde kugaana nkizo ey’obuweereza oba obutaluubirira nkizo olw’okuba tetwagala kukaluubiriza bulamu bwaffe oba nga tuwulira nti tetusobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obuba butuweebwa. Katonda asobola okutuyamba singa tumwesiga nti ajja kutuwa amaanyi n’amagezi.—Abafiripi 4:13; Yakobo 4:17; 1 Peetero 4:11.
Ku luuyi olulala, twetaaga okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo ayinza okuba ng’alina eby’okukola bingi mu buweereza bwe eri Yakuwa. Bw’atyo n’akiraba nti singa akkiriza obuvunaanyizibwa obulala, kiyinza okumuviirako okulagajjalira obuvunaanyizibwa obukulu, gamba ng’okulabirira ob’omu maka ge. Mu mbeera ng’eyo, singa agaana okukkiriza obuvunaanyizibwa obulala obuba bumuweebwa, aba akiraga nti mwetoowaze era nti amanyi obusobozi bwe we bukoma.—Abafiripi 4:5; 1 Timoseewo 5:8.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
‘Maliriza Embiro’
19 Bw’oba ng’olina by’otosobola kukola era ng’owulira nti abalala tebakutegeera, ekyokulabirako kya Mefibosesi kisobola okukuzzaamu amaanyi. (2 Sam. 4:4) Mefibosesi yalina obulemu ku mubiri ate era Kabaka Dawudi yamulamula mu bukyamu. Ebizibu ebyo Mefibosesi si ye yabyereetera. Naye teyakkiriza mbeera eyo kumumalako ssanyu. Yasiima ebintu ebirungi bye yafuna mu bulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, yasiima nnyo ekisa Dawudi kye yali yamulaga emabega. (2 Sam. 9:6-10) N’olwekyo Dawudi bwe yamulamula obubi, Mefibosesi yalowooza ku byonna ebyali bizingirwamu. Teyakkiriza nsobi ya Dawudi kumumalako ssanyu. Era teyanenya Yakuwa olw’ekyo Dawudi kye yakola. Mefibosesi ebirowoozo yabissa ku ekyo kye yali asobola okukola okuwagira kabaka Yakuwa gwe yalonda. (2 Sam. 16:1-4; 19:24-30) Ekyokulabirako kya Mefibosesi Yakuwa yakiwandiisa mu Kigambo kye tusobole okukiganyulwamu.—Bar. 15:4.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Funa Essanyu mu Ebyo by’Osobola Okukola mu Buweereza Bwo
15 Biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo? Saba Yakuwa akuyambe okumanya ebiruubirirwa by’osobola okutuukako. (Nge. 16:3; Yak. 1:5) Oboolyawo oyinza okweteerawo ebimu ku biruubirirwa ebyogeddwako mu katundu akaasoose, gamba ng’okuweereza nga payoniya omuwagizi oba payoniya owa bulijjo, okuweereza ku Beseri, oba okuyambako mu mulimu gw’okuzimba. Oba oyinza okuba ng’osobola okuyiga olulimi olulala n’obuulira abantu aboogera olulimi olwo oba n’ogenda okubuulira mu kitundu ekirala. Osobola okumanya ebizingirwamu ng’osoma essuula 10 ey’akatabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, era ng’oyogera n’abakadde ab’omu kibiina kyo. Bw’ofuba okutuuka ku biruubirirwa ebyo, n’abalala bajja kukiraba nti okulaakulana mu by’omwoyo, era ojja kweyongera okufuna essanyu.
16 Watya singa ku biruubirirwa ebyo ebyogeddwako waggulu, tewali ky’osobola kutuukako mu kiseera kino? Osobola okulowooza ku kiruubirirwa ekirala ky’osobola okutuukako. Lowooza ku biruubirirwa bino wammanga.
17 Soma 1 Timoseewo 4:13, 15. Bw’oba ng’oli wa luganda mubatize, osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuba omwogezi omulungi era omuyigiriza omulungi. Kubanga bw’onoofuba okuba omusomi omulungi, omwogezi omulungi, era omuyigiriza omulungi, abalala bajja kuganyulwa nnyo. Weeteerewo ekiruubirirwa eky’okusoma n’okussa mu nkola buli ssomo eriri mu brocuwa, Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza. Soma buli ssomo ng’oli waka, weegezeemu enfunda n’enfunda, era okolerenga ku magezi g’onooba oyize ng’owa emboozi zo. Saba obuyambi okuva eri omukadde akola ng’omuwabuzi oba abakadde abalala “abakola ennyo mu kwogera ne mu kuyigiriza.” (1 Tim. 5:17) Ng’oggyeeko okussa mu nkola ebyo by’oyiga mu brocuwa, era fuba okuyiga engeri gy’oyinza okuyambamu abo abakuwuliriza okunyweza okukkiriza kwabwe n’okukolera ku ebyo bye bayiga. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okuba omusanyufu, era nabo bajja kuba basanyufu.
18 Ffenna twaweebwa enkizo ey’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20; Bar. 10:14) Wandyagadde okukuguka mu ngeri gy’okolamu omulimu guno omukulu ennyo? Bw’oba osoma brocuwa Okuyigiriza, weeteerewo ebiruubirirwa ebinaakuyamba okussa mu nkola ebyo by’onooba oyize mu brocuwa eyo. Osobola okufuna amagezi amalala aganaakuyamba mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe ne mu vidiyo eziragibwa mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki. Gezaako okussa mu nkola amagezi agatali gamu agaweebwa, olabe aganaasinga okukukolera. Bw’onossa mu nkola amagezi ago, ojja kufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira, era ekyo kijja kukuyamba okweyongera okufuna essanyu.—2 Tim. 4:5.
19 Ng’olowooza ku biruubirirwa eby’omwoyo by’osobola okweteerawo, teweerabira ekisinga obukulu, nga kwe kukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. (Bag. 5:22, 23; Bak. 3:12; 2 Peet. 1:5-8) Ekyo oyinza kukikola otya? Ka tugambe nti oyagala okuba n’okukkiriza okunywevu. Oyinza okusoma ebitundu ebifulumira mu bitabo byaffe ebiwa amagezi ku ngeri gy’osobola okunywezaamu okukkiriza kwo. Ate era ojja kuganyulwa nnyo bw’onoolaba vidiyo eziri ku JW Broadcasting® eziraga baganda baffe ne bannyinaffe aboolese okukkiriza okw’amaanyi, wadde nga boolekagana n’ebizibu. Oluvannyuma lowooza ku ngeri gy’oyinza okubakoppamu.
JJULAAYI 11-17
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 20-21
“Yakuwa Katonda wa Bwenkanya”
it-1-E lup. 932 ¶1
Gibiyoni
Abagibiyoni beeyongera okubaawo okumala ebyasa bingi, wadde nga Kabaka Sawulo yali ayagala kubazikiriza. Kyokka, Abagibiyoni baalindirira Yakuwa okukola ku nsonga eyo. Era ekyo Yakuwa yakikola ng’ayitira mu njala ey’amaanyi, eyamala emyaka esatu mu kiseera ky’obufuzi bwa Dawudi. Dawudi bwe yeebuuza ku Yakuwa era n’akimanya nti eggwanga lya Isirayiri lyaliko omusango gw’okuyiwa omusaayi, yeebuuza ku Bagibiyoni okumanya ekyali kisaanidde okukolebwa okusobola okuggibwako omusango ogwo. Abagibiyoni baamuddamu nti baali tebeetaaga “ffeeza oba zzaabu,” kubanga okusinziira ku Mateeka, tewali kinunulo ekyaweebwangayo ku lw’omutemu. (Kbl 35:30, 31) Ate era baali bakimanyi nti baali tebasobola kutta muntu nga tebakkiriziddwa mu mateeka. Dawudi bwe yeeyongera okubabuuza eky’okubakolera, baamusaba aweeyo gye bali “abaana” ba Sawulo musanvu. Okuba nti omusango gw’okuyiwa omusaayi gwali ku Sawulo ne ku b’omu nnyumba ye, kiraga nti wadde nga Sawulo ye yawoma omutwe mu kwagala okusaanyaawo Abagibiyoni, “abaana” be nabo bayinza okuba nga beenyigira mu kikolwa ekyo butereevu oba nga baakiwagira. (2Sa 21:1-9) Mu ngeri eyo, tekyandibadde nti abaana abo bandibadde battibwa olw’ebibi bya bakitaabwe (Ma 24:16) wabula omusango ogwo gwandibadde gwasalibwa mu bwenkanya era ‘obulamu bwandiweereddwayo olw’obulamu.’—Ma 19:21.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Abakadde mu Kibiina ‘Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’
14 Abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi beeyongera okuweereza Katonda n’obunyiikivu wadde nga Sitaani n’abo abali ku ludda lwe bagezaako okubaziyiza. Abamu ku ffe twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, naye olw’okuba twesiga Yakuwa, tusobodde okubigumira. Kyokka oluusi ebizibu bye tufuna bisobola okutunafuya. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo n’ebizibu bye twandisobodde okugumira bisobola okutumegga. Naye bwe tuba nga tuweddemu amaanyi ekyo omukadde asobola okukiraba era n’atuwa obuyambi bwe twetaaga ne tusobola okweyongera okuweereza Katonda nga tuli basanyufu. Mwannyinaffe omu ali mu myaka 60 era aweereza nga payoniya agamba nti: “Emabegako awo nnali seewulira bulungi era ng’okubuulira kunkooya. Naye omukadde bwe yakiraba nti nnali mpeddemu amaanyi, yantuukirira n’ayogerako nange. Yakozesa ebyawandiikibwa okunzizzaamu amaanyi. Nnakolera ku ebyo bye yaŋŋamba era ekyo kyannyamba nnyo. Ndi musanyufu nnyo okuba nti omukadde oyo yakiraba nti nnali mpeddemu amaanyi era n’annyamba.” Mu butuufu, ffenna kitusanyusa nnyo okukimanya nti tulina abakadde abatufaako era abeetegefu okutuyamba, nga Abisaayi bwe yali omwetegefu okuyamba Dawudi.
JJULAAYI 18-24
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 22
“Weesige Yakuwa Okukuyamba”
Ddala Oyinza ‘Okufuna Enkolagana Ennungi ne Katonda’?
11 Bw’osoma nti Katonda ‘alina amaanyi mangi,’ oyinza okukwatibwako mu ngeri emu. (Isaaya 40:26) Kyokka, ojja kukwatibwako nnyo n’okusingawo, bw’osoma ku ngeri gye yanunulamu eggwanga lya Isirayiri okuyita mu Nnyanja Emmyufu era n’alirabirira mu ddungu okumala emyaka 40. Oyinza okukuba ekafaananyi ng’amazzi geeyawulamu. Oyinza okukuba ekafaananyi ng’eggwanga eryo—oboolyawo abantu nga 3,000,000—bayita awakalu ku ntobo y’ennyanja, ng’amazzi geesimbye ng’ebisenge eruuyi n’eruuyi. (Okuva 14:21; 15:8) Oyinza okulaba engeri Katonda gye yakuumamu eggwanga eryo mu ddungu. Amazzi gaakulukuta okuva mu njazi. Emmere efaanana ensigo enjeru yalabika ku ttaka. (Okuva 16:31; Okubala 20:11) Wano Yakuwa talaga bulazi nti alina amaanyi naye era nti agakozesa ku lw’abantu be. Tekituzzaamu nnyo amaanyi okumanya nti essaala zaffe zituuka eri Katonda ow’amaanyi, ‘ekiddukiro kyaffe, amaanyi gaffe, era bulijjo abaawo okutuyamba nga tuli mu buzibu?’—Zabbuli 46:1.
w10-E 6/1 lup. 26 ¶4-6
“Eri Omwesigwa Naawe Oba Mwesigwa”
Kati ka twetegereze ebigambo bya Dawudi. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa nti “naawe oba mwesigwa” era kiyinza okuvvuunulwa nti “naawe ojja kwoleka okwagala okutajjulukuka.” Obwesigwa obwa nnamaddala busibuka mu kwagala. Yakuwa ayagala nnyo abo abeesigwa gy’ali.
Ate era, okuba omwesigwa kisingawo ku kubeera obubeezi n’enneewulira; omuntu omwesigwa eri abalala abaako ky’akolawo okubayamba. Dawudi yakiraba nti Yakuwa abaako ky’akolawo okuyamba abaweereza be abeesigwa. Mu biseera Dawudi we yabeerera n’ebizibu eby’amaanyi, Yakuwa yamukuuma era yamuwa obulagirizi. Dawudi yasiima nnyo ebyo Yakuwa bye yamukolera era yagamba nti ‘ye yamununula mu mukono gw’abalabe be bonna.’—2 Samwiri 22:1.
Biki bye tuyigira ku bigambo bya Dawudi ebyo? Yakuwa takyuka. (Yakobo 1:17) Anywerera ku mutindo gye era atuukiriza ebisuubizo bye. Dawudi yagamba nti: “Yakuwa . . . talyabulira abo abeesigwa gy’ali.”—Zabbuli 37:28.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Weetwale Okuba Owa Wansi
7 Eky’okuba nti Yakuwa mwetoowaze kyakwata nnyo ku Dawudi. Yayimbira Yakuwa ng’agamba nti: “Ompa engabo yo ey’obulokozi, era obwetoowaze bwo bunfuula wa kitiibwa.” (2 Sam. 22:36) Dawudi yali akimanyi nti ebintu byonna bye yakola mu Isirayiri, yasobola okubikola olw’okuba Yakuwa yeetoowaza n’amuyamba. (Zab. 113:5-7) Ate kiri kitya eri ffe? Naffe tusaanidde okukimanya nti engeri ennungi ze tulina, obusobozi bwe tulina, n’enkizo ze tulina byonna Yakuwa ye yabituwa. (1 Kol. 4:7) Omuntu eyeetwala okuba owa wansi aba “mukulu” mu ngeri nti aba wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. (Luk. 9:48) Kati ka tulabe ensonga lwaki kiri bwe kityo.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Yobu—Omusajja Eyagumiikiriza era Eyakuuma Obugolokofu
7 Wadde ng’Abakristaayo abasinga obungi leero tebabonaabona nga Yobu bwe yabonaabona, nabo batuukibwako ebizibu ebitali bimu. Bangi bayigganyizibwa oba balina ebizibu mu maka. Ebizibu mu by’enfuna oba obulwadde biyinza okuleetera omuntu okwennyamira. Abamu battiddwa olw’okukkiriza kwabwe. Kyokka, tetulina kukitwala nti Sitaani y’atuleetera buli kizibu kye tufuna. Mu butuufu ebizibu ebimu biyinza okujjawo olw’ensobi zaffe oba olw’obulwadde bwe twafuna okuva ku bazadde baffe. (Abaggalatiya 6:7) Ffenna tusobola okukaddiwa era n’okutuukibwako obutyabaga. Bayibuli ekiraga bulungi nti mu kiseera kino Yakuwa takuuma baweereza be mu ngeri ey’ekyamagero ne batafuna bizibu.—Omubuulizi 9:11.
8 Wadde kiri kityo, Sitaani asobola okukozesa ebizibu bye twolekagana nabyo okunafuya okukkiriza kwaffe. Omutume Pawulo yagamba nti ‘yalina eriggwa mu mubiri Sitaani lye yakozesa okumukuba.’ (2 Abakkolinso 12:7) Ka kibe nti eriggwa eryo bwali bulemu ku mubiri gwe, gamba ng’obutalaba bulungi oba kintu kirala, Pawulo yakitegeera nti Sitaani yali ayinza okukozesa ekizibu ekyo okumumalako essanyu n’okumenya obugolokofu bwe. (Engero 24:10) Leero, Sitaani ayinza okukozesa ab’omu maka gaffe, bayizi bannaffe, oba gavumenti eza bannakyemalira okuyigganya abaweereza ba Katonda mu ngeri emu oba endala.
JJULAAYI 25-31
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 SAMWIRI 23-24
“Weefiiriza Okusobola Okubaako ky’Owaayo?”
it-1-E lup. 146
Alawuna
Alawuna yali awaddeyo ekifo, ente ez’ekiweebwayo, n’ebibaawo eby’okukozesa ng’enku ku bwereere, naye ye Dawudi yagamba nti yalina okubigula. Ebiri mu 2 Samwiri 24:24 biraga nti egguuliro n’ente, Dawudi yabigula sekeri 50 eza ffeeza (ddoola 110). Kyokka, 1 Ebyomumirembe 21:25 walaga nti ekifo Dawudi yakigula sekeri 600 eza zzaabu (ddoola nga 77,000). Omuwandiisi wa 2 Samwiri ayogera ku kugulibwa kw’ekifo kyokka awaazimbibwa ekyoto n’ebintu ebyakozesebwa mu kuwaayo ssaddaaka, era kirabika ssente z’ayogerako zeezo zokka ezaakozesebwa okugula ebintu ebyo. Ku luuyi okulala, omuwandiisi wa 1 Ebyomumirembe ayogera ku bikwata ku yeekaalu eyazimbibwa mu kifo ekyo oluvannyuma, era ne ku kugula ebintu ebyakozesebwa okugizimba. (1By 22:1-6; 2By 3:1) Okuva bwe kiri nti ekifo awaazimbibwa yeekaalu kyali kinene nnyo, kirabika sekeri 600 eza zzaabu zaakozesebwa okugula ekifo ekyo, so si ekifo ekitono Dawudi kye yasooka okuzimbamu ekyoto.
Yigira ku ‘Bintu Ebikulu Ebikwata ku Mazima’
8 Omuyisirayiri bwe yawangayo ssaddaaka eri Yakuwa kyeyagalire okulaga nti asiima ebyo Yakuwa bye yabanga amukoledde, oba bwe yawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okusobola okusiimibwa Yakuwa, kiyinza okuba nga tekyamuzibuwaliranga kuwaayo nsolo eyabanga esingayo obulungi. Yabanga musanyufu okuwaayo ensolo eyo eri Yakuwa. Leero tetuwaayo ssaddaaka ng’ezo ezaalagirwa mu Mateeka ga Musa; tuwaayo ssaddaaka mu ngeri endala. Tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe mu kuweereza Yakuwa. ‘Okwatula mu lujjudde’ essuubi lyaffe ery’Ekikristaayo, ‘okukola ebirungi, n’okugabana ebintu n’abalala,’ omutume Pawulo yabyogerako nga ssaddaaka ezisanyusa Katonda. (Beb. 13:15, 16) Endowooza gye tuba nayo nga tuweereza Yakuwa eraga obanga tusiima ebintu ebirungi Yakuwa by’atukoledde. N’olwekyo, okufaananako Abayisirayiri, naffe tusaanidde okwekebera tulabe engeri gye tuweerezaamu Yakuwa n’ensonga lwaki tumuweereza.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri eky’Okubiri
23:15-17. Dawudi yali assa ekitiibwa mu mateeka ga Yakuwa agakwata ku bulamu n’omusaayi. Eyo ye nsonga lwaki ku lunaku olwo yeewala okukola ekyali kirabika ng’ekimenya amateeka ago. Tuteekwa okukulaakulanya okutya okw’engeri eyo bwe kituuka ku mateeka ga Katonda.
AGUSITO 1-7
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 1-2
“Oyigira ku Nsobi Zo?”
it-2-E lup. 987 ¶4
Sulemaani
Adoniya n’abo be yali yeekobaanye nabo bwe baawulira oluyoogaano okuva e Gikoni, awataali wala nnyo okuva we baali, era nga n’abantu baleekaana nti: “Kabaka Sulemaani awangaale!,” baatya nnyo era ne badduka. Sulemaani yakiragirawo nti Obwakabaka bwe bwandibaddemu emirembe bwe yagaana okwesasuza nga yaakafuulibwa kabaka. Singa Adoniya ye yali afuulibwa kabaka, oboolyawo Sulemaani yandifiiriddwa obulamu bwe. Adoniya yadduka ne yeekweka mu kifo ekitukuvu, era Sulemaani n’amutumya ne bamuleeta waali. Sulemaani yagamba Adoniya nti yandisigadde nga mulamu singa tewabaawo kintu kibi kyonna kizuulibwa mu ye, era oluvannyuma yasiibula Adoniya n’addayo mu nnyumba ye.—1Sk 1:41-53.
it-1-E lup. 49
Adoniya
Kyokka oluvannyuma lwa Dawudi okufa, Adoniya yatuukirira Basuseba n’amusaba agende amugambire Sulemaani amuwe Abisaagi, omuwala eyali alabirira Dawudi, abe mukazi we. Adoniya bwe yagamba nti “obwakabaka bwali bwa kuba bwange, era Abayisirayiri bonna nze gwe baali basuubira okuba kabaka,” yalaga nti yali akitwala nti kyali kikyamu obutamufuula kabaka, wadde nga mu kusooka yalaga ng’eyali akkirizza nti kyalimu omukono gwa Katonda. (1Sk 2:13-21) Ekyo kye yali asabye kiraga nti yali akyalina ekirowoozo ky’okufuuka kabaka, okuva bwe kiri nti mu biseera ebyo oyo yekka eyaddiranga kabaka mu bigere ye yali asobola okutwala bakazi be ne bazaana be. (Geraageranya 2Sa 3:7; 16:21.) Sulemaani bw’atyo bwe yatwala ekyo Adoniya kye yali amusabye okuyitira mu maama we, bw’atyo n’alagira nti Adoniya attibwe, era amangu ago Benaya n’akola ekyo Sulemaani kye yali alagidde.—1Sk 2:22-25.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka Ekisooka
2:37, 41-46. Nga kiba kya kabi nnyo omuntu okulowooza nti asobola okumenya etteeka lya Katonda n’asimattuka okubonerezebwa! Abo abava mu ‘kkubo ery’akanyigo eridda mu bulamu’ bajja kwolekagana n’ebyo ebiva mu kusalawo kwabwe okutali kwa magezi—Matayo 7:14.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Weeyongere Okukulaakulana mu Ngeri gy’Obuuliramu
1 Abakristaayo basaanidde okweyongera okukulaakulana mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yeeyongera okutendeka abayigirizwa be. (Luk. 9:1-5; 10:1-11) Era eyo ye nsonga lwaki Akula ne Pulisikira baatwala Apolo ewaabwe ne “bongera okumunnyonnyola obulungi ekkubo lya Katonda.” (Bik. 18:24-26) Ate era n’omutume Pawulo yakubiriza Timoseewo, omubuulizi eyalina obumanyirivu, okwemalira ku bintu bye yali ayigiriza abalala, okukulaakulana kwe kusobole ‘okweyoleka eri abantu bonna.’ (1 Tim. 4:13-15) Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tubuulira amawulire amalungi, tusaanidde okweyongera okufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira.
2 Yigira ku Balala: Emu ku ngeri gye tuyinza okufunamu obumanyirivu kwe kuyigira ku balala. (Nge. 27:17) N’olwekyo mubuulizi munno bw’aba abuulira, ssaayo mwoyo. Saba ababuulizi abalina obumanyirivu bakuwe ku magezi, era wuliriza bulungi nga balina bye bakugamba. (Nge. 1:5) Oyagala okumanya engeri gy’oyinza okuddira omuntu, okutandika okumuyigiriza Bayibuli, oba okwenyigira mu ngeri endala ez’okubuulira? Saba omulabirizi w’ekibinja kyo oba omubuulizi omulala alina obumanyirivu akuyambe. Ate era kijjukire nti omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu nagwo gusobola okukuyamba. N’olwekyo, gumusabe obutayosa.—Luk. 11:13.
3 Bw’oweebwa amagezi ku ngeri gy’oyinza okulongoosaamu, tonyiiga ne bwe kiba nti oyo agakuwadde obadde tomusabye kugakuwa. (Mub. 7:9) Okufaananako Apolo, beera muwombeefu era siima amagezi agaba gakuweereddwa. Bwe tukola tutyo tuba tulaga nti tuli ba magezi.—Nge. 12:15.
AGUSITO 8-14
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 3-4
“Omuganyulo Oguli mu Kuba n’Amagezi”
Kyakulabirako Kirungi gy’Oli Oba Kulabula gy’Oli?
4 Sulemaani bwe yali yaakatandika okufuga, Katonda yamulabikira mu kirooto n’amugamba okusaba ekintu kyonna ky’ayagala. Olw’okuba yali akimanyi nti teyalina bumanyiruvu, Sulemaani yasaba Katonda amuwe amagezi. (Soma 1 Bassekabaka 3:5-9.) Katonda yasanyuka nnyo Sulemaani bwe yamusaba amagezi mu kifo ky’okumusaba obugagga n’ekitiibwa, bw’atyo n’amuwa “omutima ogw’amagezi era omutegeevu” awamu n’obugagga. (1 Bassek. 3:10-14) Nga Yesu bwe yagamba, amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo ne kiba nti kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ebikwata ku magezi ga Sulemaani, yatindigga olugendo oluwanvu agende ageewulirireko.—1 Bassek. 10:1, 4-9.
5 Ffe tetusuubira kufuna magezi mu ngeri ya kyamagero. Sulemaani yagamba nti: “Yakuwa y’awa amagezi,” naye era yalaga nti tulina okufuba okufuna amagezi agava eri Katonda, kubanga yawandiika nti: ‘Oteganga okutu kwo n’owuliriza amagezi.’ Sulemaani era yagamba nti tulina ‘okukaabiriranga’ amagezi ‘n’okuganoonyanga.’ (Nge. 2:1-6) Ekyo kiraga nti tusobola okufuna amagezi.
6 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Okufaananako Sulemaani, nange amagezi agava eri Katonda ngatwala nga ga muwendo nnyo?’ Ebizibu by’eby’enfuna ebiriwo mu nsi leero bireetedde abantu bangi okwemalira ku buyigirize obwa waggulu, ku kunoonya ssente, ne ku mirimu gyabwe. Ate kiri kitya eri ggwe awamu n’ab’omu maka go? Ebintu by’osalawo okukola mu bulamu biraga nti onoonya amagezi agava eri Katonda ng’anoonya eby’obugagga? Kyandiba nti weetaaga okukyusa endowooza gy’olina ku ssente ne ku buyigirize kikuyambe okweyongera okufuna amagezi agava eri Katonda? Amagezi agava eri Katonda ge tufuna gajja kutuganyula emirembe gyonna. Sulemaani yagamba nti: “Ojja okutegeera eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya, enkola yonna ey’ebintu ebirungi.”—Nge. 2:9.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w98-E 2/1 lup. 11 ¶15
Yakuwa Ye Katonda Akola Endagaano
15 Bazzukulu ba Ibulayimu bwe baali bategekeddwa ng’eggwanga wansi w’Amateeka, Yakuwa yabawa emikisa ng’atuukiriza ekyo kye yasuubiza Ibulayimu. Mu 1473 E.E.T., Yoswa yaddira Musa mu bigere, n’akulembera Abayisirayiri n’abatuusa mu nsi ya Kanani. Buli kika bwe kyafuna omugabo gwakyo mu nsi, Yakuwa yatuukiriza endagaano gye yali akoze ne Ibulayimu ey’okuwa ezzadde lye Ensi Ensuubize. Ate era Abayisirayiri bwe baasigalanga nga beesigwa eri Yakuwa, Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo kye yabawa eky’okuwangula abalabe baabwe. Okusingira ddala ekyo kyaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Dawudi. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani mutabani wa Dawudi, ekintu eky’okusatu ekyali kizingirwa mu ndagaano kyatuukirizibwa. Bayibuli egamba nti: “Abantu b’omu Yuda ne Isirayiri baali bangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja; baalyanga, ne banywa, era ne basanyuka.”—1 Bassekabaka 4:20.
AGUSITO 15-21
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 5-6
“Baazimba n’Omutima Gwabwe Gwonna”
w11-E 2/1 lup. 15
Obadde Okimanyi?
Emiti gy’entolokyo eg’omu Lebanooni gyali gimanyiddwa nnyo okuba emiwangaazi, nga girabika bulungi, nga giwunya akaloosa era nga tegiriibwa biwuka. Bwe kityo Sulemaani yakozesa emiti egisingayo obulungi okuzimba yeekaalu. Leero, ebifo awaali ebibira ebyalimu emiti gy’entolokyo mu Lebanooni, kati birimu obuti butonotono.
it-1-E lup. 424
Entolokyo
Omulimu ogwali gwetaagisa okukozesa emiti gy’entolokyo emingi bwe gityo, gwali gwetaagisa abakozi bikumi na bikumi. Baalina okugitema, okukola ebintu okw’okugitambuliza nga bagiggya e Ttuulo oba e Sidoni nga bagiyisa ku nnyanja Meditereniyani, oboolyawo okugituusa e Yopa. Oluvannyuma baali balina okugikulula okugituusa e Yerusaalemi. Sulemaani yapangisa abasajja ba Kiramu okumukolera omulimu ogwo. (1Sk 5:6-18; 2By 2:3-10) Oluvannyuma embaawo nnyingi nnyo zaayongera okuleetebwa mu Isirayiri, ne kiba nti mu kiseera kya Sulemaani waaliwo ‘embaawo z’entolokyo nnyingi nnyo ng’emiti gy’emisukamooli.’—1Sk 10:27; geraageranya Is 9:9, 10.
it-2-E lup. 1077 ¶1
Yeekaalu
Bwe yali ateekateeka omulimu gw’okuzimba yeekaalu, Sulemaani yalonda mu Isirayiri abasajja emitwalo 30,000 n’abaawulamu ebibinja bisatu nga buli kibinja kirimu abasajja 10,000 n’abasindika e Lebanooni mu mpalo nga buli kibinja kimalayo omwezi gumu, era buli kibinja kyawummulanga okumala emyezi ebiri nga tekinnaddayo e Lebanoni. (1Sk 5:13, 14) Ate era yalonda mu “bagwira” abakozi 70,000 okukola emirimu egy’enjawulo, n’abasajja abalala 80,000 okutema amayinja. (1Sk 5:15; 9:20, 21; 2By 2:2) Era yalonda abasajja 550 okukulira abakozi n’abayambi baabwe 3,300. (1Sk 5:16; 9:22, 23) Kirabika ku basajja abo, 250 baali Bayisirayiri, ate 3,600 baali “bagwira” abaabeeranga mu Isirayiri.—2By 2:17, 18.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
g-E 5/12 lup. 17, akasanduuko
Bayibuli—Ekitabo Ekirimu Obunnabbi Obwesigika, Ekitundu 1
EBISEERA EBITUUFU
Ekyokulabirako ekimu ekiraga nti Bayibuli eyogera ku biseera byennyini ebintu we byabeererawo kiri mu 1 Bassekabaka 6:1, awalaga ekiseera Kabaka Sulemaani we yatandikira okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Wagamba nti: “Mu mwaka ogw’ebikumi ebina mu ekinaana [emyaka 479] ng’Abayisirayiri bavudde mu nsi ya Misiri, mu mwaka ogw’okuna okuva Sulemaani lwe yatandika okufuga Isirayiri, mu mwezi gwa Ziivu, (kwe kugamba, omwezi ogw’okubiri), Sulemaani yatandika okuzimba ennyumba ya Yakuwa.”
Bayibuli eraga nti mu mwaka gwa 1034 E.E.T., Sulemaani we yawereza omwaka ogw’okuna mu bufuzi. Bw’obala okuva mu mwaka ogwo ng’odda emabega, emyaka 479 giggweerako mu mwaka gwa 1513 E.E.T., era ng’ogwo gwe mwaka Abayisirayiri gwe baaviirako e Misiri.
AGUSITO 22-28
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 7
“Bye Tuyigira ku Mpagi Ebbiri”
‘Mu Nsozi Mujja Kusimamu Ekikomo’
Kabaka Sulemaani yakozesa ekikomo kingi nnyo ng’azimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Ekikomo ekisinga obungi kitaawe Dawudi ye yakifuna ng’alwanyisa Busuuli. (1 Ebyomumirembe 18:6-8) “Ttanka ey’ekikomo,” eyateekebwangamu amazzi bakabona ge baayozesanga, yali ya lita nga 66,000 era yali ezitowa kkiro nga 30,000. (1 Bassekabaka 7:23-26, 44-46) Era ne ku mulyango oguyingira mu yeekaalu waaliwo empagi bbiri ezaakolebwa mu kikomo. Zaali za ffuuti abiri mu mukaaga obuwanvu era nga waggulu zaaliko emitwe gya ffuuti nga musaanvu. Empagi ezo zaalimu emiwulenge, era nga za ffuuti nga ttaano n’ekitundu obugazi. (1 Bassekabaka 7:15, 16; 2 Ebyomumirembe 4:17) Teeberezaamu obungi bw’ekikomo ekyakozesebwa okukola ebintu ebyo byokka!
it-1-E lup. 348
Bowaazi, II
Ku kisasi kya yeekaalu Sulemaani gye yazimba baasimbako empagi ennene bbiri ez’ekikomo. Empagi eyali ku mukono ogwa kkono baagiyita Bowaazi, eriyinza okuba nga lyali litegeeza nti “Mu Maanyi.” Ate eyo eyali ku mukono ogwa ddyo baagiyita Yakini, eritegeeza nti “[Yakuwa] k’Anyweze.” N’olwekyo, okuteeka empagi ezo awamu era ng’omuntu bw’asoma ebigambo ebyo okuva ku ddyo okudda ku kkono ng’atunudde e buvanjuba, byandibadde bigamba nti ‘[Yakuwa] k’anyweze [yeekaalu] mu maanyi.’—1Sk 7:15-21; laba CAPITAL.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 263
Okunaaba
Yakuwa ayagala abo abamusinza babe bayonjo mu mubiri. Ekyo kyeyolekera bulungi mu nteekateeka y’okumusinziza ku weema entukuvu era n’oluvannyuma ku yeekaalu. Bwe baali batongozebwa ku bwa kabona, Alooni Kabona Asinga Obukulu ne batabani be baanaaba nga tebannaba kwambala byambalo by’obwa kabona. (Kuv 29:4-9; 40:12-15; Lev 8:6, 7) Bakabona baanaabanga engalo n’ebigere nga bakozesa amazzi agaabanga mu bbenseni ey’ekikomo eyali mu lujja lwa weema entukuvu, era oluvannyuma baakozesanga amazzi agaabanga mu ttanka ennene ey’ekikomo eyali ku yeekaalu Sulemaani gye yazimba. (Kuv 30:18-21; 40:30-32; 2By 4:2-6) Ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi, Kabona Asinga Obukulu yanaabanga emirundi ebiri. (Lev 16:4, 23, 24) Abo abaatwalanga embuzi ya Azazeri wabweru w’olusiisira, n’ebyabanga bisigaddewo ku ssaddaaka z’ebisolo, era n’ente emmyufu ey’ekiweebwayo, baasookanga kunaaba n’okwoza engoye zaabwe nga tebannadda mu lusiisira.—Lev 16:26-28; Kbl 19:2-10.
AGUSITO 29–SSEBUTEMBA 4
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 8
“Essaala ya Sulemaani Eyayoleka Obwetoowaze era Eyaviira Ddala ku Mutima”
Longoosa mu Ssaala Zo ng’Onyiikirira Okusoma Bayibuli
9 Essaala zaffe bwe ziba ez’okuddibwamu, zirina okuba nga ziva ku mutima. Essaala eri mu 1 Bassekabaka essuula 8 Sulemaani gye yasaba mu maaso g’abantu abaali bakuŋŋaanye mu Yerusaalemi nga yeekaalu eweebwayo eri Yakuwa mu 1026 E.E.T., yaviira ddala ku mutima. Ssanduuko y’endagaano bwe yayingizibwa mu Awasinga Obutukuvu era ekire kya Yakuwa ne kijjula mu yeekaalu yonna, Sulemaani yatendereza Katonda.
6 Weetegereze essaala ya Sulemaani olabe engeri gy’eyogera ku mutima. Sulemaani yagamba nti Yakuwa yekka y’amanyi ekiba mu mutima gw’omuntu. (1 Bassek. 8:38, 39) Essaala eyo era eraga nti omwonoonyi asonyiyibwa ‘bw’adda eri Katonda n’omutima gwe gwonna.’ Katonda yandiwulidde okusaba kw’abantu be bwe bandimukoowodde n’omutima gwabwe gwonna nga bawambiddwa abalabe. (1 Bassek. 8:48, 58, 61) N’olwekyo, essaala zo zisaanye okuba nga ziviira ddala ku mutima.
w99 2/1 lup. 15 ¶7-8
Muyimuse Emikono Emyesigwa mu Kusaba
7 Ka tube nga tukulembera abalala mu kusaba oba nga tusaba ffekka, omusingi omukulu ogw’omu Byawandiikibwa gwe tulina okujjukira kwe kubeera abeetoowaze nga tusaba. (2 Ebyomumirembe 7:13, 14) Kabaka Sulemaani yayoleka obwetoowaze ng’akulembera abalala mu kusaba ku kuwaayo yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi. Sulemaani yali yaakamala okuzimba ekimu ku bizimbe ebisingirayo ddala obulungi ebyali bibaddewo ku nsi. Kyokka, mu bwetoowaze yasaba nti: “Naye ddala Katonda anaabeera ku nsi? Laba! Eggulu, eggulu erisingayo okuba waggulu toligyaamu; olwo eno ennyumba gye nzimbye mw’onoogya?”—1 Bassekabaka 8:27.
8 Okufaananako Sulemaani, twandibadde beetoowaze nga tukulembera abalala mu kusaba. Wadde nga twandyewaze okwetwala okuba abatuukirivu mu kusaba, obwetoowaze buyinza okulabikira mu ddoboozi lyaffe. Okusaba okw’obwetoowaze tekubaamu kwewaana wadde obunnanfuusi. Tekugulumiza oyo asaba, wabula Oyo gwe basaba. (Matayo 6:5) Obwetoowaze era bweyolekera mu ebyo bye tusaba. Bwe tusaba n’obwetoowaze tetujja kuba ng’abalagira Katonda okukola ebintu nga bwe twagala. Wabula, tujja kusaba Yakuwa okubaako ky’akola mu ngeri etuukagana ne by’ayagala ebitukuvu. Omuwandiisi wa Zabbuli yayoleka endowooza entuufu bwe yasaba nti: “Ai Yakuwa, tukwegayiridde tulokole! Ai Yakuwa tuyambe tuwangule!”—Zabbuli 118:25; Lukka 18:9-14.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 1060 ¶4
Eggulu
Sulemaani eyazimba yeekaalu mu Yerusaalemi yagamba nti Katonda tayinza kugya mu ‘ggulu erisingayo okuba waggulu.’ (1Sk 8:27) Olw’okuba Yakuwa ye yatonda obwengula n’eggulu, ekifo ky’alimu kiri waggulu nnyo okusinga byonna, era “erinnya lye lisukkulumye ku malala gonna. Ekitiibwa kye kisukkiridde ensi n’eggulu.” (Zb 148:13) Yakuwa apima eggulu ng’omuntu bwe yandipimye ekintu ng’akozesa oluta lw’engalo, ekintu ekyo ne kiba nga kigya wakati w’olugalo lwe olusajja n’olwa nnaswi. (Is 40:12) Ebigambo bya Sulemaani ebyo tebitegeeza nti Katonda talina kifo ky’abeeramu. Era ebigambo ebyo tebitegeeza nti Katonda abeera buli wamu oba mu buli kintu. Sulemaani yagamba nti Yakuwa awulira okusaba ng’asinziira ‘mu kifo ky’abeeramu mu ggulu,’ nga kino kye kifo ebitonde eby’omwoyo gye bibeera.—1Sk 8:30, 39.