LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr23 Jjulaayi lup. 1-12
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu “Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu “Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe”
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2023
  • Subheadings
  • JJULAAYI 3-9
  • JJULAAYI 10-16
  • JJULAAYI 17-23
  • JJULAAYI 24-30
  • JJULAAYI 31–AGUSITO 6
  • BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
  • AGUSITO 7-13
  • BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
  • AGUSITO 14-20
  • AGUSITO 21-27
  • AGUSITO 28–SSEBUTEMBA 3
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2023
mwbr23 Jjulaayi lup. 1-12

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

© 2023 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania

JJULAAYI 3-9

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZERA 4-6

‘Omulimu Temugutaataaganya’

w22.03 lup. 18 ¶13

Olaba Ebyo Zekkaliya Bye Yalaba?

13 Omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu gwali guwereddwa. Wadde kyali kityo, abasajja abaali balondeddwa okutwala obukulembeze, kwe kugamba, Yesuwa (Yoswa) kabona asinga obukulu, ne Gavana Zerubbaberi, “baddamu okuzimba ennyumba ya Katonda.” (Ezer. 5:1, 2) Ekyo kiyinza okuba nga kyalabika ng’ekitaali kya magezi eri Abayudaaya abamu. Omulimu gw’okuzimba gwali teguyinza kukolebwa mu nkukutu, era abalabe baali bamalirivu okukola kyonna ekisoboka okulaba nga tegugenda mu maaso. Yoswa ne Zerubbaberi baali beetaaga okukakasibwa nti Yakuwa yali wamu nabo, era ddala obukakafu obwo baabufuna. Batya?

w86-E 2/1 lup. 29, kas. ¶2-3

Amaaso ga Yakuwa “Gaali ku Bakadde”

Nga wayise ekiseera ng’Abayudaaya bakomyewo okuva mu buwambe mu Babulooni, baamala emyaka 16 nga balekedde awo omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu. Nnabbi Kaggayi ne Zekkaliya baayamba Abayudaaya okuddamu okukola omulimu gw’okuzimba yeekaalu. Kyokka waayita ekiseera kitono abakungu ba Buperusi ne bagezaako okulemesa omulimu ogwo. Baabuuza nti: “Ani yabalagira okuzimba ennyumba eno n’okumaliriza ekizimbe kino?”​—Ezer. 5:1-3.

Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kyali kikulu nnyo. Singa abakadde bakkiriza okutiisibwatiisibwa, omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu gwandibadde gukoma mu bwangu. Ate singa abakadde abo baddamu abakungu abo mu ngeri ebanyiiza, omulimu ogwo gwandibadde guwerebwa. N’olwekyo, abakadde (kya lwatu nga bakulemberwa Gavana Zerubbaberi ne Kabona Asinga Obukulu Yoswa) baabaddamu mu ngeri ey’amagezi. Bajjukiza abakungu abo ekiragiro Kabaka Kuulo kye yali yayisa bwe yagamba Abayudaaya nti baddeyo mu Yerusaalemi bakole omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu. Olw’okuba abakungu abo baali bakimanyi nti amateeka ga Buperusi gaali tegasobola kukyusibwamu, beewala okuwakanya ekiragiro kya kabaka ekyo. Bwe kityo Abayudaaya baalekebwa ne bakola omulimu ogwo okutuusa Kabaka Daliyo lwe yabakkiriza mu butongole okuddamu okugukola!​—Ezer. 5:11-17; 6:6-12.

w22.03 lup. 15 ¶7

Olaba Ebyo Zekkaliya Bye Yalaba?

7 Waliwo enkyukakyuka eyajjawo eyayamba Abayudaaya abaali bazimba yeekaalu okufuna obuweerero. Nkyukakyuka ki eyo? Mu mwaka gwa 520 E.E.T., kabaka omupya eyali ayitibwa Daliyo ye yali afuga Buperusi. Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwe, yakizuula nti kyali kikyamu okuwera omulimu gw’okuzimba yeekaalu, era Daliyo yalagira nti Abayudaaya bazimbe yeekaalu bagimalirize. (Ezer. 6:1-3) Ekyo kabaka kye yalagira kyewuunyisa buli omu. Kyokka yakola n’ekisinga ku ekyo. Yalagira abantu b’omu mawanga agaali geetoolodde Abayudaaya okulekera awo okutaataaganya abaali bakola omulimu gw’okuzimba, era n’alagira babawe ebintu ebyali byetaagisa mu kukola omulimu ogwo. (Ezer. 6:7-12) N’ekyavaamu, Abayudaaya baamaliriza omulimu gw’okuzimba nga wayise emyaka ng’ena, mu 515 E.E.T.​—Ezer. 6:15.

w22.03 lup. 19 ¶16

Olaba Ebyo Zekkaliya Bye Yalaba?

16 Yakuwa era atuwa obulagirizi okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Oluusi omuddu omwesigwa ayinza okutuwa obulagirizi bwe tutategeera bulungi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuweebwa obulagirizi obukwata ku kweteekerateekera akatyabaga ke tulowooza nti tekayinza kubaawo mu kitundu kyaffe. Oba bwe wabalukawo ekirwadde, tuyinza okulowooza nti omuddu omwesigwa ayitirizza okwekengera embeera. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tuwulira nti obulagirizi obuba butuweereddwa tebukola? Tuyinza okulowooza ku ngeri Abayisirayiri gye baaganyulwa bwe baakolera ku bulagirizi obwabaweebwa Yoswa ne Zerubbaberi. Tuyinza n’okulowooza ku mbeera endala ezoogerwako mu Bayibuli ze twasomako. Waliwo abantu ba Katonda lwe baaweebwanga obulagirizi obwali bulabika ng’obutakola, kyokka nga bwe bwabayamba okuwonyaawo obulamu bwabwe.​—Balam. 7:7; 8:10.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w93-E 6/15 lup. 32 ¶3-5

Osobola Okwesiga Bayibuli?

Ennusu eyo yakolebwa mu Taluso, ekibuga ekyali mu bukiikaddyo w’ensi kati eyitibwa Butuluuki. Ennusu eyo yakolebwa mu kiseera ky’obufuzi bwa gavana wa Buperusi eyali ayitibwa Mazaeus mu kyasa ekyokuna E.E.T. Emwogerako nga gavana ow’essaza eriri “Emitala w’Omugga,” kwe kugamba, Omugga Fulaati.

Naye lwaki ebigambo ebyo bikulu? Kubanga ebigambo ebyo bisangibwa ne mu Bayibuli yo. Ezera 5:6–6:13 woogera ku bbaluwa gavana eyali ayitibwa Tattenayi gye yawandiikira kabaka wa Buperusi eyali ayitibwa Daliyo, n’eyo Daliyo gye yawandiikira Tattenayi. Ensonga enkulu eyali mu bbaluwa ezo yali ekwata ku mulimu Abayudaaya gwe baali bakola ogw’okuddamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Ezera yali mukoppolozi mukugu ow’Amateeka ga Katonda, era tumusuubira okuba nti yeegendereza nnyo ebyo bye yawandiika. Mu Ezera 5:6 ne 6:13, yayita Tattenayi “gavana ow’Emitala w’Omugga.”

Ebigambo ebyo Ezera yabiwandiika awo nga 460 E.E.T., emyaka nga 100 ng’ennusu eyo tennakolebwa. Abantu abamu bayinza okugamba nti ekyo Ezera kye yayogera ku mukungu oyo nti yali “gavana ow’Emitala w’Omugga,” si kikulu nnyo. Naye bwe kiba nti osobola okwesiga abawandiisi ba Bayibuli ne mu buntu obulabika ng’obutono bwe baawandiika, ekyo tekyandikuleetedde okwesiga n’ebirala bye baawandiika?

JJULAAYI 10-16

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZERA 7-8

“Engeri Ezera Gye Yeeyisaamu Yaweesa Yakuwa Ekitiibwa”

w00 10/1 lup. 23-24 ¶8

Okuyiga​—Kuganyula era Kuleeta Essanyu

8 Yee, okwagala kwe tulina eri Ekigambo kya Yakuwa kusaanidde kuva mu mutima. Tusaanidde okuwaayo ebiseera okulowooza ku bintu bye twakamala okusoma. Ate era tusaanidde okussaayo omwoyo ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda. Kino kyetaagisa okufumiitiriza n’okusaba. Okufaananako Ezera, tuteekwa okuteekateeka emitima gyaffe okusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda. Bayibuli egamba nti: “Ezera yateekateeka omutima gwe okunoonya Amateeka ga Yakuwa n’okugakolerako, era n’okuyigiriza mu Isirayiri ebiragiro n’ennamula ebyalimu.” (Ezer. 7:10) Weetegereze ebintu bino ebisatu ebyaleetera Ezera okuteekateeka omutima gwe: Okuyiga, okuteeka mu nkola, n’okuyigiriza. Naffe tusaanidde okumukoppa.

si-E lup. 75 ¶5

Ekitabo kya Bayibuli Ekya 13​—1 Ebyomumirembe

5 Ezera ye yali omutuufu okukuŋŋaanya ebyafaayo ebyo ebituufu era ebyesigika. Bayibuli egamba nti: “Ezera yateekateeka omutima gwe okunoonya Amateeka ga Yakuwa n’okugakolerako, era n’okuyigiriza mu Isirayiri ebiragiro n’ennamula ebyalimu.” (Ezer. 7:10) Yakuwa yamuwa omwoyo gwe omutukuvu. Kabaka wa Buperusi yakiraba nti Katonda yali awadde Ezera amagezi, era bwe kityo kabaka oyo yawa Ezera obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu ssaza lya Buyudaaya. (Ezer. 7:12-26) N’olwekyo, ng’ayambibwako omwoyo omutukuvu era ng’alina obuyinza okuva eri kabaka, Ezera yali asobola okukuŋŋaanya ebyo bye yawandiika ng’abiggya mu biwandiiko ebyali bisingayo okwesigika mu kiseera ekyo.

it-1-E lup. 1158 ¶4

Obwetoowaze

Awa Obulagirizi Obulungi. Omuntu eyeetoowaza mu maaso ga Katonda, Katonda amuwa obulagirizi. Ezera yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okukulemberamu Abayudaaya abaali basukka mu basajja 1,500, nga tobaliddeeko bakabona, Abanesinimu, abakazi, n’abaana, okuva e Babulooni okugenda e Yerusaalemi. Ate era abantu abo baagenda ne zzaabu ne ffeeza mungi nnyo ow’okulungiya yeekaalu. Abantu abo baali beetaaga obukuumi ku lugendo olwo. Naye Ezera yali tayagala kusaba kabaka wa Buperusi baweebwe abasirikale ab’okubakuuma, kubanga ekyo kyandibadde ng’ekiraga nti baali beesiga maanyi ga bantu. Emabegako, Ezera yali yagamba kabaka nti: “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku abo bonna abamunoonya.” N’olwekyo Ezera yalangirira nti wabeewo okusiiba abantu basobole okwetoowaza mu maaso ga Yakuwa. Ye n’abantu abo baasaba Yakuwa era Yakuwa n’abawuliriza, n’abakuuma, ne basobola okumalako olugendo olwo nga tebalumbiddwa bazigu. (Ezr 8:1-14, 21-32) Nnabbi Danyeri ng’ali mu buwambe e Babulooni, Yakuwa yamuwa okwolesebwa ng’ayitira mu malayika, olw’okuba Danyeri yeetoowaza mu maaso ga Katonda n’amusaba okumuwa obulagirizi.​—Dan 10:12.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 1/1 lup. 25 ¶11

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Ezera

7:28–8:20​—Lwaki Abayudaaya bangi abaali mu Babulooni tebaali beetegefu kugenda Yerusaalemi na Ezera? Wadde nga waali wayise emyaka egisukka mu 60 ng’ekibinja ekyasooka eky’Abayudaaya kimaze okuddayo e Yerusaalemi, ekibuga Yerusaalemi kyalimu abantu batono ddala. Bwe kityo omuntu okuddayo e Yerusaalemi yalina okutandika obulamu obuppya ate ng’embeera teyali nnyangu n’akamu. Ensi yali njavu ate nga mu Babulooni waaliyo eby’obugagga bingi. Ate era, ekkubo lye baalina okuyitamu baali basobola okufuniramu akabi. N’olwekyo omuntu okukkiriza okuddayo e Yerusaalemi kyali kimwetaagisa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, obuvumu, era ng’atwala okusinza okulongoofu ng’ekintu ekikulu. Olaba ne Ezera yasooka kusaba Yakuwa amuwe amaanyi n’obuvumu okusobola okutindigga olugendo olwo! Amaka agasukka mu 1,500, oboolyawo nga bano be bantu nga 6,000, bakkiriza okuddayo ku butaka Ezera bwe yabazzaamu amaanyi. Ate era Ezera bwe yeeyongera okukubiriza abantu okuddayo e Yerusaalemi, abaleevi 38 n’Abanesinimu 220 baayanukula omulanga gwe.

JJULAAYI 17-23

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZERA 9-10

“Ebizibu Ebiva mu Butaba Bawulize”

w06 1/1 lup. 26 ¶1

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Ezera

9:1, 2​—Lwaki tekyali kirungi n’akamu Abayisirayiri okuwasa abawala b’ab’amawanga? Eggwanga eryo eryali likomezeddwawo ku butaka lye lyali lisinza Katonda mu ngeri entuufu, era lyalina okulaba nti okusinza okwo tekwonoonebwa okutuusa Masiya lwe yandizze. N’olwekyo bwe baawasa abawala b’ab’amawanga, okusinza okwo kwali kuyinza okwonooneka. Olw’okuba abamu baali bawasizza abakazi abaali basinza bakatonda ab’obulimba, kyali kisobola okuviirako eggwanga lyonna okwetabika n’amawanga amakaafiiri. N’ekyandivuddemu, okusinza okulongoofu kwandiggwereddewo ddala. Kati olwo, Masiya yandijjiridde b’ani? N’olwekyo tekyewuunyisa nti Ezera yanyolwa olw’embeera gye yasanga mu Yerusaalemi!

w09-E 10/1 lup. 10 ¶6

Kiki Yakuwa ky’Atwetaagisa?

Bwe tugondera Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna tufuna emikisa. Musa yagamba nti: ‘Okwatanga ebiragiro bye nkulagira leero ku lw’obulungi bwo.’ (Olunyiriri 13) Buli kimu Yakuwa ky’atulagira, akitulagira ku lwa bulungi bwaffe. Ekyo kiri bwe kityo kubanga “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) N’olwekyo, ebiragiro byonna bye yatuwa, yabituwa olw’okuba akimanyi nti bwe tubikwata tuganyulwa. (Isaaya 48:17) Bwe tukola ebyo Yakuwa by’atugamba okukola kituyamba okwewala ebizibu bingi era kijja kutusobozesa okufuna emikisa egy’olubeerera ng’Obwakabaka bwe bufuga ensi yonna mu bujjuvu.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 1/1 lup. 26 ¶2

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Ezera

10:3, 44​—Lwaki Abayisirayiri bwe baagoba abakazi baagoberako n’abaana be baali babazaddemu? Singa abaana baali basigadde, abakazi abo baandikomyewo olw’abaana baabwe. Ate era abaana abo baali beetaaga okubeera ku lusegere lwa bamaama bwabwe.

JJULAAYI 24-30

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 1-2

“Amangu Ago ne Nsaba”

w08 2/15 lup. 3 ¶5

Kuumira Yakuwa mu Birowoozo Byo Bulijjo

5 Oluusi kiyinza okutwetaagisa okusaba essaala ey’amangu. Lumu, Kabaka Alutagizerugiizi owa Buperusi yalaba ng’omusenero we Nekkemiya mwennyamivu. Kabaka yamubuuza, “Kiki ky’oyagala?” ‘Amangu ago Nekkemiya yasaba Katonda w’eggulu.’ Nekkemiya yalina okusaba essaala ey’amangu era alabika ekyo yakikola mu kasirise. Wadde kyali kityo, Katonda yamwanukula kubanga kabaka yawa Nekkemiya obuyambi okuddamu okuzimba ebisenge bya Yerusaalemi. (Soma Nekkemiya 2:1-8.) Yee, n’essaala ennyimpi esabibwa mu kasirise esobola okuddibwamu.

be lup. 177 ¶4

Okuwa Emboozi nga by’Oyogera Tosoma Bisome

Singa osabibwa okunnyonnyola ebikwata ku nzikiriza yo nga tomaze kweteekateeka, kiki ekiyinza okukuyamba okubinnyonnyola obulungi? Koppa Nekkemiya eyasaba mu kasirise nga tannaba kuddamu kibuuzo ekyali kimubuuziddwa Kabaka Alutagizerugiizi. (Nek. 2:4) Oluvannyuma, sengeka mu birowoozo byo by’ogenda okwogera. Ekyo oyinza okukikola ng’ogoberera emitendera gino: (1) Londayo ensonga emu oba bbiri z’ononnyonnyola (oyinza okuziggya mu katabo Reasoning From the Scriptures). (2) Londa ebyawandiikibwa by’onookozesa. (3) Teekateeka engeri gy’onootandikamu okunnyonnyola omuntu oyo akubuuzizza asobole okuwuliriza. Bw’omala, tandika okwogera.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w86-E 2/15 lup. 25

Okusinza okw’Amazima Kugenda mu Maaso

Nekkemiya yamala ekiseera ng’asaba Yakuwa “emisana n’ekiro” olw’embeera embi ekibuga Yerusaalemi gye kyalimu. (1:4, 6) Nekkemiya bwe yafuna akakisa okugamba Kabaka Alutagizerugiizi nti yali ayagala okugenda addemu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi, ne ku luno yasaba, nga bwe yali azze akola emabega. Essaala ezo Yakuwa yaziwuliriza kubanga Nekkemiya yakkirizibwa okugenda okuddamu okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi.

Kye Tuyiga: Nekkemiya yanoonya obulagirizi bwa Yakuwa. Bwe wabaawo ebintu ebikulu bye tulina okusalawo, naffe tusaanidde ‘okunyiikirira okusaba’ era ne tukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa.​—Abaruumi 12:12.

JJULAAYI 31–AGUSITO 6

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 3-4

“Otwala Otya Emirimu gy’Emikono?”

w06 2/1 lup. 30 ¶1

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Nekkemiya

3:5, 27. Tetusaanidde kukitwala nti emirimu gy’emikono egikolebwa okuwagira okusinza okw’amazima gya wansi, nga “ab’ebitiibwa” b’Abatekowa bwe baakola. Mu kifo ky’okuba n’endowooza ng’eyo, tusaanidde okukoppa Abatekowa abataali bakungu abaakola emirimu egyo n’amaanyi gaabwe gonna.

w19.10 lup. 23 ¶11

Kiki Yakuwa ky’Anaakuleetera Okuba?

11 Nga wayise ebyasa bingi, bawala ba Salumu be bamu ku abo Yakuwa be yakozesa okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 2:20; 3:12) Wadde nga taata waabwe yali mwami, abawala abo baali beetegefu okukola omulimu ogwo ogutaali mwangu era ogwali gussa obulamu bwabwe mu kabi. (Nek. 4:15-18) Baali ba njawulo nnyo ku basajja Abatekowa ab’ebitiibwa, abaagaana okwetoowaza okukola omulimu ogwo! (Nek. 3:5) Lowooza ku ssanyu bawala ba Salumu lye baafuna ng’omulimu ogwo gumaliriziddwa mu nnaku 52 zokka! (Nek. 6:15) Ne leero, waliwo bannyinaffe bangi abeenyigira mu mulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza Yakuwa, era omulimu ogwo bagukola n’essanyu. Bannyinaffe abo abanyiikivu era abeesigwa beetaagibwa nnyo okusobola okukola omulimu ogwo.

w04 8/1 lup. 28 ¶16

Engeri y’Okufunamu Endowooza Kristo Gye Yalina ku Bukulu

16 Abakristaayo bonna, abakulu n’abato, balina okufuba okukulaakulanya endowooza Kristo gye yalina ku bukulu. Mu kibiina, mubaamu emirimu mingi egirina okukolebwa. Tonyoomanga mulimu gwonna oguyinza okulabika ng’ogwa wansi gw’oba osabiddwa okukola. (1 Samwiri 25:41; 2 Bassekabaka 3:11) Abazadde, mukubiriza abaana bammwe okukola n’essanyu omulimu gwonna oguba gubaweereddwa, ka gube ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu kifo ekitegekeddwamu olukuŋŋaana olunene? Bakulaba ng’okola emirimu egitwalibwa ng’egya wansi? Ow’oluganda omu kati akola ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa, ajjukira bulungi ekyokulabirako kya bazadde be. Yagamba: “Engeri gye baatwalangamu omulimu gw’okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka oba ekifo ekitegekeddwamu olukuŋŋaana olunene, yandaga nti omulimu ogwo baali bagutwala nga mukulu nnyo. Emirundi mingi baafubanga okukola emirimu egisobola okuganyula ekibiina oba ab’oluganda, wadde ng’emirimu egyo gyali girabika ng’egya wansi. Endowooza gye baalina enyambye okukkiriza okukola omulimu gwonna oguba gumpeereddwa ku Beseri.”

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 2/1 lup. 29 ¶1

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Nekkemiya

4:17, 18​—Abantu baasobola batya okuzimbisa omukono ogumu? Kino tekyali kizibu n’akamu eri abeetissi b’emigugu. Bwe beetikanga omugugu ku mutwe oba ku kibegabega, omukono gumu gwali gusobola okuguwanirira ate “ng’omulala gukutte kya kulwanyisa.” Olw’okuba abazimbi kyali kibeetaagisa okukozesa emikono gyombi, “buli muzimbi yazimbanga asibye ekitala mu kiwato.” Bonna baali beetegefu okwerwanako singa waabaawo omulabe abalumbye.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

km 11/12 lup. 1

Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo

1 Omuntu bw’alaba ebirungi ebiva mu kufuba kwe, kimusanyusa. (Mub. 3:13) Kyokka bwe tulaba nti obuweereza bwaffe tebuvaamu kalungi konna, kiyinza okutumalamu amaanyi ne tulekera awo okubuulira n’obunyiikivu. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu?

2 Tosuubira nti Bonna Bajja Kukuwuliriza: Kijjukire nti wadde ng’abantu abakkiriza obubaka bwa Yesu baali batono, obuweereza bwe bwavaamu ebirungi bingi. (Yok. 17:4) Mu lugero lwe olukwata ku musizi, Yesu yalaga nti abantu abasinga obungi tebandikkirizza bubaka bw’Obwakabaka. (Mat. 13:3-8, 18-22) Wadde kiri kityo, okufuba kwaffe kuvaamu ebirungi bingi.

3 Engeri Gye Tubala Ebibala Ebingi: Okusinziira ku lugero lwa Yesu, abo abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka ‘babala ebibala.’ (Mat. 13:23) Omukristaayo tabala bibala ng’afuna abayigirizwa abapya kyokka, wabula nga yeeyongera okusiga ensigo z’Obwakabaka. Ekyo kivaamu ebirungi ebituleetera essanyu ka kibe nti abantu tebasiima bubaka bwaffe. Tuba tutukuza erinnya lya Yakuwa. (Is. 43:10-12; Mat. 6:9) Tuba n’enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda. (1 Kol. 3:9) Ate era ekyo kiba ‘kibala eky’emimwa’ ekisanyusa ennyo Yakuwa.​—Beb. 13:15, 16.

4 Okugatta ku ekyo, okufuba kwaffe kuyinza okuba nga kuvaamu ebirungi naye nga tetukimanyi. Kirabika abamu ku bantu abaawuliriza Yesu ng’abuulira baafuuka abayigirizwa be luvannyuma nga Yesu amalirizza obuweereza bwe obw’oku nsi. Mu ngeri y’emu, ensigo z’Obwakabaka ze tusiga ziyinza obutakulirawo mu mutima gw’omuntu, naye oluvannyuma ayinza okuyiga amazima nga tetutegedde. Mu butuufu, obuweereza bwaffe buvaamu ebirungi bingi. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere “okubala ebibala bingi” tukirage nti tuli bayigirizwa ba Yesu.​—Yok. 15:8.

AGUSITO 7-13

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 5-7

“Nekkemiya Yali Ayagala Okuweereza So Si Okuweerezebwa”

w02-E 11/1 lup. 27 ¶3

Abawagizi b’Okusinza okw’Amazima​—Mu Biseera eby’Edda, ne mu Kiseera Kyaffe

Nekkemiya teyakoma ku kuwaayo biseera bye na ku kuteekateeka bulungi bantu. Yakozesa n’ebintu bye okuwagira okusinza okw’amazima. Yakozesa ssente ze okununula Abayudaaya abaali batundiddwa mu buddu. Yawolanga abantu ssente awatali kubasaba magoba. Olw’okuba yali gavana, waliwo omutemwa gwa ssente abantu gwe baalinanga okumuwa, naye teyaggya ku bantu ssente ezo olw’okuba yali tayagala ‘kubanyigiriza.’ Mu kifo ky’ekyo, yaliisanga abantu ‘150, awamu n’abo abajjanga gy’ali okuva mu mawanga agaali galiraanyewo.’ Buli lunaku yawangayo “ente ennume emu, endiga ennungi ennyo mukaaga, awamu n’enkoko,” eby’okufumbira abagenyi be. Ate era buli luvannyuma lwa nnaku kkumi, yabawanga “omwenge mungi ogwa buli kika.”​—Nekkemiya 5:8, 10, 14-18.

w16.09 lup. 6 ¶16

“Toggwaamu Maanyi”

16 Yakuwa yanyweza emikono gya Nekkemiya ne banne ne basobola okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi era omulimu ogwo baagumalira mu nnaku 52 zokka! (Nek. 2:18, obugambo obuli wansi; 6:15, 16) Nekkemiya teyakola gwa kulabirira bulabirizi mulimu ogwo. Naye yeenyigira butereevu mu kuzimba bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 5:16) Leero, waliwo abakadde bangi abakoppye Nekkemiya nga beenyigira mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe ebikozesebwa mu mulimu gw’Obwakabaka era nga beenyigira ne mu kulongoosa n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka mwe bakuŋŋaanira. Era banyweza emikono gya bakkiriza bannaabwe nga babuulirako wamu nabo era nga babakyalira okubazzaamu amaanyi.​—Soma Isaaya 35:3, 4.

w00 2/1 lup. 32

Yakuwa Anaakujjukira Atya?

Mu ngeri etuukagana n’ekyo, Bayibuli eraga nti eri Katonda, ‘okujjukira’ kitegeeza okubaako ky’okola. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’ennaku 150 ng’ensi ebikkiddwa amazzi g’amataba, ‘Katonda yajjukira Nuuwa n’akunsa empewo ku nsi amazzi ne gatandika okukendeera.’ (Olubereberye 8:1) Nga wayiseewo emyaka mingi, Samusooni, eyali aggiddwamu amaaso era ng’asibiddwa Abafirisuuti enjegere, yasaba Katonda n’amugamba nti: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nkwegayiridde, nzijukira ompe amaanyi omulundi guno gwokka.” Yakuwa yajjukira Samusooni ng’amuwa amaanyi agasinga ku g’obuntu, asobole okuwoolera eggwanga abalabe ba Katonda. (Ekyabalamuzi 16:28-30) Ku bikwata ku Nekkemiya, Yakuwa yawa omukisa okufuba kwe, era okusinza okw’amazima ne kuzzibwawo mu Yerusaalemi.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w07 7/1 lup. 31 ¶15

“Wangulanga Obubi olw’Obulungi”

15 Ey’okusatu, abalabe ba Nekkemiya baakozesa Semaaya, omusajja Omuyisirayiri, baleetere Nekkemiya okumenya Etteeka lya Katonda. Semaaya yagamba Nekkemiya nti: “Tulagaane ekiseera tusisinkane mu nnyumba ya Katonda ow’amazima, munda mu yeekaalu, era tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta.” Semaaya yagamba Nekkemiya nti waaliwo abaagala okumutta naye nti yali asobola okuwona singa yeekweka mu yeekaalu. Kyokka, Nekkemiya teyali kabona. Okwekweka mu nnyumba ya Katonda yandibadde akoze kibi. Yandimenye etteeka lya Katonda asobole okuwonya obulamu bwe? Nekkemiya yaddamu nti: “Omuntu alinga nze ayinza okuyingira mu yeekaalu n’asigala nga mulamu? Sijja kuyingirayo!” Nekkemiya yasobola atya okubuuka akatego kano? Kubanga yali akimanyi nti wadde nga Semaaya naye yali Muyisirayiri, “Katonda si ye yali amutumye.” Mu butuufu, nnabbi ow’amazima yali tasobola kumuwa magezi ga kumenya tteeka lya Katonda. Ne ku mulundi guno, Nekkemiya teyaganya balabe be kumuwangula. Oluvannyuma yawandiika nti: “Bbugwe yaggwa okuzimbibwa ku lunaku olw’abiri mu ettaano olw’omwezi gwa Eruli; yazimbibwa mu nnaku 52.”​—Nekkemiya 6:10-15; Okubala 1:51; 18:7.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w13 5/15 lup. 7 ¶17-19

“Ababuulizi b’Enjiri Abalungi Bayambagana”

17 Yesu bwe yali asindika abayigirizwa be okugenda okubuulira yabasindika babiri babiri. (Mak. 6:7; Luk. 10:1) Omutume Pawulo aliko abantu be yayita ‘bakozi banne’ olw’okuba baali ‘bafubye okukolera awamu naye ku lw’amawulire amalungi.’ (Baf. 4:3) Mu 1953, ekibiina kya Yakuwa ky’assaawo enteekateeka ey’enjawulo ng’ababuulizi batendeka babuulizi bannaabwe mu mulimu gw’okubuulira.

18 Bw’oba n’omubuulizi omulala nga mubuulira, oyinza otya okukiraga nti okolera wamu naye? (Soma 1 Abakkolinso 3:6-9.) Bw’aba asomera omuntu ebyawandiikibwa bikula Bayibuli yo naawe ogoberere. Muwulirize ng’ayogera era wuliriza n’omuntu gw’aba ayogera naye. Ekyo kijja kukuyamba okugoberera obulungi bye boogera era ojja kusobola okuyamba mubuulizi munno bwe kiba kyetaagisizza. (Mub. 4:12) Naye weewale okusala mubuulizi munno ekirimi bw’abaako ekintu ky’annyonnyola era weewala n’okusala ekirimi omuntu gw’aba abuulira. Bw’oyingira mu mboozi we kiteetaagisiza, oyinza okumalamu mubuulizi munno amaanyi era oyinza okutabulatabula omuntu gw’aba abuulira. Wadde ng’oluusi kiyinza okukwetaagisa okubaako ky’oyogera, bw’oba oyogera gezaako okuyita mu bufunze. Oluvannyuma leka mubuulizi munno agende mu maaso.

19 Bw’oba ne mubuulizi munno nga mutambula okuva ku nju emu okudda ku ndala, muyinza mutya okuyambagana? Kiba kirungi okukozesa ebiseera ebyo okwogera ku ngeri gye muyinza okulongoosa mu nnyanjula zammwe. Mufube okwogera ku bintu ebirungi ku bantu abali mu kitundu mwe mubuulira. Ate era mwewale okwogera obubi ku bakkiriza bannammwe. (Nge. 18:24) Tulina okukijjukira nti tuli bibya eby’ebbumba. Yakuwa atulaze ekisa eky’ensusso n’atuwa enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi. (Soma 2 Abakkolinso 4:1, 7.) N’olwekyo, ka ffenna tukirage nti tusiima enkizo eyo nga tufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe ng’ababuulizi b’enjiri.

AGUSITO 14-20

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 8-9

“Essanyu lya Yakuwa Kye Kigo Kyammwe”

w13 10/15 lup. 21 ¶2

Bye Tuyigira ku Ssaala Entegeke Obulungi

2 Olukuŋŋaana olwo we lwabeererawo, waali waakayita omwezi gumu bukya Abayudaaya bamaliriza okuddamu okuzimba ebisenge bya Yerusaalemi. (Nek. 6:15) Abantu ba Katonda baazimba ebisenge bya Yerusaalemi mu nnaku 52 zokka. Era ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwaddako oguyitibwa Tisiri, baakuŋŋaanira mu kibangirizi okuwuliriza Ezera awamu n’Abaleevi abalala nga basoma era nga bannyonnyola Amateeka ga Katonda. (Ekifaananyi 1) Abantu ba Katonda bonna, nga mw’otwalidde n’abaana, baayimirira ne bawuliriza “okuva ku makya okutuuka mu ttuntu.” Abayisirayiri abo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Wadde nga ffe tuyinza okuba nga tukuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka nga tutudde bulungi, oluusi ebirowoozo byaffe biyinza okuwuguka ne bidda ku bintu ebirala ebitali bikulu nnyo. Naye Abayisirayiri abo baawuliriza bulungi ebyali byogerwa, ne babifumiitirizaako, era ne bakaaba olw’okukiraba nti eggwanga lyabwe lyali livudde ku Mateeka ga Katonda.​—Nek. 8:1-9.

w07 8/1 lup. 12 ¶9-10

‘Oneeyongera Okutambulira mu Mwoyo’?

9 Yakuwa ‘Katonda musanyufu.’ (1 Timoseewo 1:11; Zabbuli 104:31) Omwana asanyukira okukola Kitaawe by’ayagala. (Zabbuli 40:8; Abebbulaniya 10:7-9) Era “essanyu lya Yakuwa kye kigo [kyaffe].”​—Nekkemiya 8:10.

10 Essanyu Katonda ly’atuwa lituyamba okuba abamativu nga tukola by’ayagala, ka tube nga tuli mu biseera ebizibu, tulina ennaku, oba nga tuyigganyizibwa. Mazima ddala ‘okumanya okukwata ku Katonda’ kuleetera essanyu lingi nnyo! (Engero 2:1-5) Enkolagana yaffe ennungi ne Katonda yesigamye ku kuba nti tumukkiririzaamu, tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu era tulina okumanya okutuufu. (1 Yokaana 2:1, 2) Okubeera n’oluganda olwa nnamaddala olw’ensi yonna nakyo kituleetera essanyu. (Zeffaniya 3:9; Kaggayi 2:7) Essuubi lyaffe ery’Obwakabaka n’enkizo ey’ekitalo ey’okulangirira amawulire amalungi gye tulina nabyo bituleetera essanyu. (Matayo 6:9, 10; 24:14) Essuubi ly’okufuna obulamu obutaggwaawo nalyo lituleetera essanyu. (Yokaana 17:3) Essuubi ng’eryo ery’ekitalo, lisaanye kutuleetera ‘ssanyu jjereere.’​—Ekyamateeka 16:15.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 145 ¶2

Olulamayiki

Nga wayise emyaka oluvannyuma lw’Abayudaaya okukomawo okuva mu buwambe e Babulooni, Ezera kabona yasomera Abayudaaya abaali bakuŋŋaanye mu Yerusaalemi ekitabo ky’Amateeka, era abaleevi abatali bamu bannyonnyola abantu Amateeka ago. Nekkemiya 8:8 wagamba nti: “Ne beeyongera okusoma ekitabo, kwe kugamba, Amateeka ga Katonda ow’amazima, mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bagannyonnyola bulungi era ne baggyayo amakulu; bwe batyo ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.” Okunnyonnyola okwo kuyinza okuba nga kwali kuzingiramu okwogera Amateeka ago mu Lulamayiki, kirabika Abayudaaya lwe baayogeranga nga bali e Babulooni. Ate era kwali kuzingiramu okuwa kalonda akwata ku Mateeka ne kiba nti wadde ng’Abayudaaya baali bamanyi Olwebbulaniya, baali basobola okutegeerera ddala amakulu g’ebyo ebyali bisomebwa.

AGUSITO 21-27

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 10-11

“Beefiiriza ku lwa Yakuwa”

w98-E 10/15 lup. 22 ¶13

Yerusaalemi Ekyali Kituukana n’Erinnya Lyakyo

13 “Endagaano ey’enkalakkalira” eyassibwako akabonero mu kiseera kya Nekkemiya, yayamba abantu ba Katonda mu biseera eby’edda okweteekerateekera olunaku olw’okutongoza bbugwe wa Yerusaalemi. Naye waliwo ekizibu ekyali kyetaaga okukolebwako mu bwangu. Olw’okuba ekibuga Yerusaalemi kyali kyetooloddwa bbugwe omunene eyaliko emiryango 12, kyali kyetaaga okubaamu abantu abawerako. Wadde nga waaliwo Abayisirayiri abaali babeeramu, “ekibuga kyali kigazi era kinene, naye abantu abaakirimu baali batono.” (Nekkemiya 7:4) Okusobola okugonjoola ekizibu ekyo, abantu “baakuba obululu okuleeta omuntu omu ku buli bantu kkumi okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu.” Abantu baasabira omukisa “abo bonna abeewaayo okubeera mu Yerusaalemi.” (Nekkemiya 11:1, 2) Abaweereza ba Yakuwa leero embeera be zisobozesa okugenda okuweereza mu kitundu ekirala awali obwetaavu, abantu abo baabateerawo ekyokulabirako ekirungi!

w86-E 2/15 lup. 26

Okusinza okw’Amazima Kugenda mu Maaso

Abayudaaya bwe baalekayo eby’obusika byabwe ne baddayo e Yerusaalemi, kyabaviirako okubaako ebintu bye bafiirwa, era waliwo embeera ezitaali nnyangu ze baayolekagana nazo. Ate era waliwo n’ebintu ebyali biyinza okussa obulamu bw’abantu abaali baabeera mu kibuga ekyo mu kabi. Eyo y’ensonga lwaki abo abeewaayo okuddayo e Yerusaalemi bannaabwe baabatendereza era ne basaba Yakuwa abawe emikisa.

w16.04 lup. 8 ¶15

Bwe Twoleka Okukkiriza, Tusiimibwa Katonda

15 Bwe twewaayo eri Yakuwa, tweyama okukola by’ayagala n’omutima gwaffe gwonna. Twali tukimanyi nti ekyo kyandizingiddemu okwefiiriza. Naye tweyisa tutya nga tusabiddwa okukola ekintu kye tutaagala kukola? Bwe twoleka omwoyo ogw’okwefiiriza ne tweyongera okuweereza Yakuwa ne mu mbeera enzibu, kiba kiraga nti tulina okukkiriza. Era emikisa egivaamu giba mingi nnyo bw’ogigeraageranya ku ebyo bye tuba twefiirizza. (Mal. 3:10) Kati ka tulowooze ku muwala wa Yefusa.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 2/1 lup. 31 ¶2

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Nekkemiya

10:34​—Lwaki abantu baagambibwa okuleetanga enku? Mu Mateeka ga Musa temwalimu tteeka liragira kuwaayo nku. Wadde kyali kityo, etteeka eryo lyateekebwawo olw’obwetaavu obwaliwo. Baali beetaaga enku nnyingi okusobola okwokya ebiweebwayo ebyateekebwanga ku kyoto. Kirabika n’Abanesinimu, nga be bantu abataali Bayisirayiri abaalinanga okuleeta enku, baali batono. Bwe kityo, baakuba akalulu basobole okufunayo abantu abalala abanaaleetanga enku.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w11 2/15 lup. 15-16 ¶12-15

Ssaddaaka Ezisiimibwa Katonda Leero

12 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, omutume Pawulo yagamba nti: “[Muweeyo] emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda, musobole okutuukiriza obuweereza obutukuvu nga mukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza.” (Bar. 12:1) Okusobola okusiimibwa Katonda, omuntu alina okufuba okukuuma omubiri gwe nga muyonjo. Singa omuntu ayonoona omubiri gwe ng’anywa sigala, enjaga, ng’alya amayirungi, oba nga yeekamirira omwenge, Katonda tasobola kusiima ssaddaaka ye. (2 Kol. 7:1) Ate era okuva bwe kiri nti “oyo eyeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu aba akola ekibi ku mubiri gwe,” omuntu ng’oyo Yakuwa tasiima buweereza bwe. (1 Kol. 6:18) Okusobola okusanyusa Katonda, omuntu ateekwa ‘okuba omutukuvu mu nneeyisa ye yonna.’​—1 Peet. 1:14-16.

13 Ate era tusobola okuwaayo ssaddaaka esiimibwa Yakuwa okuyitira mu ebyo bye twogera. Abo abaagala Yakuwa bamwogerako bulungi mu lujjudde ne mu maka gaabwe. (Soma Zabbuli 34:1-3.) Soma Zabbuli 148-150, olabe engeri zabbuli zino esatu gye zitukubirizaamu okutendereza Yakuwa. Mu butuufu, “abagolokofu bagwanidde okumutendereza.” (Zab. 33:1) Yesu Kristo yalaga obukulu bw’okutendereza Katonda ng’abuulira amawulire amalungi.​—Luk. 4:18, 43, 44.

14 Bwe tubuulira n’obunyiikivu tuba tulaga nti twagala Yakuwa era nti twagala okusiimibwa mu maaso ge. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo nnabbi Koseya bye yagamba Abayisirayiri abaali beenyigidde mu kusinza okw’obulimba era abaali tebakyasiimibwa Katonda. (Kos. 13:1-3) Koseya yabagamba beegayirire Yakuwa nti: “Tusonyiwe ensobi zaffe, okkirize ebirungi,naffe tujja kuwaayo okutendereza okw’emimwa gyaffe nga bwe twandiwaddeyo ente ento ennume.”​—Kos. 14:1, 2.

15 Ente ennume kye kisolo ekyali kisingayo okuba eky’ebbeeyi Omuyisirayiri kye yali asobola okuwaayo eri Yakuwa. Bwe kityo, “okutendereza okw’emimwa gyaffe nga bwe twandiwaddeyo ente ento ennume,” bye bigambo ebirungi omuntu bye yayogeranga ng’atendereza Katonda ow’amazima. Yakuwa yatwalanga atya abo abaawangayo ssaddaaka ng’ezo? Yagamba nti: “Ndibaagala okuviira ddala ku mutima.” (Kos. 14:4) Abo abaawangayo ssaddaaka ng’ezo ez’okutendereza, Yakuwa yabasonyiwanga, yabasiimanga, era baafuuka mikwano gye.

AGUSITO 28–SSEBUTEMBA 3

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 12-13

“Beera Mwesigwa eri Yakuwa ng’Olonda Emikwano”

it-1-E lup. 95 ¶5

Abaamoni

Oluvannyuma lwa Tobiya okugobebwa ku yeekaalu, etteeka Katonda lye yali awadde Abayisirayiri eriri mu Ekyamateeka 23:3-6 eryali ligaana Abaamoni n’Abamowaabu okujja mu kibiina kya Isirayiri lyasomebwa era ne balikolerako. (Nek 13:1-3) Yakuwa yali yawa Abayisirayiri etteeka eryo emyaka nga 1,000 emabega olw’okuba Abamowaabu n’Abaamoni baagaana okuyamba Abayisirayiri nga banaatera okuyingira ensi ensuubize. N’olwekyo Abaamoni n’Abamowaabu okutwalira awamu baali tebasobola kwegatta ku ggwanga lya Isirayiri ne babeerera ddala ng’Abayisirayiri, nga basobola okuba n’enkizo ezitali zimu Abayisirayiri ze baabanga nazo. Naye ekyo tekitegeeza nti Abaamoni n’Abamowaabu kinnoomu baali tebasobola kubeera wamu na Bayisirayiri oba okubeera mu Bayisirayiri ne baganyulwa mu mikisa Katonda gye yali awa abantu be. Ekyo tukirabira ku ky’okuba nti Zereki, Omwamoni, yali omu ku balwanyi ba Dawudi abakulu, era tukirabira ne ku ebyo bye tusoma ku Luusi Omumowaabu.​—Lus 1:4, 16-18.

w13 8/15 lup. 4 ¶5-6

Mutukuziddwa

5 Soma Nekkemiya 13:4-9. Olw’okuba twetooloddwa abantu ababi, si kyangu kusigala nga tuli batukuvu. Lowooza ku Eriyasibu ne Tobiya. Eriyasibu yali kabona asinga obukulu, ate Tobiya yali Mwamoni era nga kirabika yali muweereza wa kabaka wa Buperusi mu Buyudaaya. Emabegako, Tobiya ne banne baali bagezezzaako okuziyiza Nekkemiya okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 2:10) Abaamoni baali tebakkirizibwa kusemberera yeekaalu. (Ma. 23:3) Kati olwo lwaki Eriyasibu yakkiriza Tobiya okukozesa ekisenge ekiriirwamu mu yeekaalu?

6 Tobiya yali afuuse mukwano gwa Eriyasibu ow’oku lusegere. Tobiya ne mutabani we Yekokanani baali bawasizza abakazi Abayudaaya, era Abayudaaya bangi baali boogera bulungi ku Tobiya. (Nek. 6:17-19) Omu ku bazzukulu ba Eriyasibu yawasa muwala wa Sanubalaati, eyali gavana wa Samaliya, ate nga Sanubalaati yali mukwano gwa Tobiya. (Nek. 13:28) Ebyo biyinza okuba nga bye byaleetera Kabona Asinga Obukulu Eriyasibu okukkiriza omusajja ataali muweereza wa Yakuwa era eyali aziyiza omulimu gw’abantu ba Katonda okumukozesa ekintu ekikyamu. Kyokka ye Nekkemiya yakiraga nti yali anyweredde ku mateeka ga Yakuwa bwe yasuula ebintu bya Tobiya byonna ebweru.

w96-E 3/15 lup. 16 ¶6

Okuba Abeesigwa eri Yakuwa

6 Bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa, twewala okukola omukwano n’abo bonna b’akyawa. Eyo y’ensonga lwaki omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Mmwe abakazi abenzi, temumanyi nti okubeera mukwano gw’ensi bwe bulabe eri Katonda? N’olwekyo, buli ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” (Yak. 4:4) Naffe twagala okuba abeesigwa nga Kabaka Dawudi eyagamba Katonda nti: “Abo abatakwagala sibakyawa, Ai Yakuwa, era ne nneetamwa abo abakujeemera? Mbakyayira ddala; bafuuse balabe bange ddala.” (Zab. 139:21, 22) Tetwagala kukola mikwano na bantu abakola ebibi mu bugenderevu kubanga tetulina kye tufaananya nabo. Okuba abeesigwa eri Katonda tekyandituleetedde okwewala okukolagana n’abalabe ba Yakuwa abo, ka kibe kukolagana nabo butereevu oba okuyitira ku mikutu gy’empuliziganya?

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 452 ¶9

Okuyimba

Okuyimba ku yeekaalu kwali kutwalibwa nga kukulu nnyo. Kino kyeyolekera ku kuba nti Ebyawandiikibwa bingi byogera ku bayimbi, ne ku kuba nti baali “baggibwako emirimu emirala gyonna” abaleevi bonna gye baali bakola, basobole okwemalira ku buweereza bwabwe. (1By 9:33) Ekiraga nti abayimbi beeyongera okuba nga baawuddwa ku Baleevi abalala kwe kuba nti Bayibuli bw’eba eyogera ku bibinja by’abantu abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni, eyogera ne ku kibinja ky’abayimbi. (Ezr 2:40, 41) Mu bibinja by’abantu kabaka wa Buperusi ayitibwa Alutagizerugizi (Longimanusi) be yagamba nti baali tebalina kuwa “musolo oba mpooza oba musolo ogw’oku nguudo,” mwe mwali n’abayimbi. (Ezr 7:24) Oluvannyuma kabaka oyo yalagira nti abayimbi baalina “okuweebwanga ebintu buli lunaku okusinziira ku bwetaavu bwabwe.” Wadde nga Alutagizerugizi y’agambibwa okuba nga ye yayisa ekiragiro ekyo, kirabika Ezera ye yayisa ekiragiro ekyo ng’akozesa obuyinza obwamuweebwa Alutagizerugizi. (Nek 11:23; Ezr 7:18-26) N’olwekyo tekyewuunyisa nti wadde ng’abayimbi bonna baali Baleevi, Bayibuli bw’eba eboogerako, eboogerako ng’ekibinja ekyetongodde. Ng’ekyokulabirako, eyogera ku ‘bayimbi n’Abaleevi.’​—Nek 7:1; 13:10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share