Lwakuna, Okitobba 16
Mwerule ekkubo lya Yakuwa! Mukolere Katonda waffe oluguudo olutereevu oluyita mu ddungu.—Is. 40:3.
Abayisirayiri kyandibatwalidde emyezi ng’ena okutambula okuva e Babulooni okutuuka mu Isirayiri. Era olugendo olwo terwandibadde lwangu. Kyokka Yakuwa yasuubiza nti yandiggyeewo emisanvu gyonna egyandibadde gibalemesa okuddayo. Abayudaaya abeesigwa baali bakimanyi nti emiganyulo gye bandifunye nga bazzeeyo mu Isirayiri gyandisingidde wala ekintu kyonna kye bandyefiirizza. Omuganyulo ogusinga gyonna gwali gukwata ku kusinza. Mu Babulooni tewaaliyo yeekaalu ya Yakuwa. Tewaaliyo kyoto Abayisirayiri kwe baali basobola okuweerayo ssaddaaka nga bwe baali balagiddwa mu Mateeka ga Musa, era tewaaliyo na bakabona abaali bateekeddwateekeddwa okuwaayo ssaddaaka ezo. Ate era abantu ba Yakuwa mu kibuga ekyo baali batono nnyo bw’obageraageranya ku bantu abaali basinza bakatonda ab’obulimba era abaali batassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. N’olwekyo, Abayudaaya bangi abaali baagala Yakuwa baali beesunga nnyo okuddayo mu nsi yaabwe bazzeewo okusinza okulongoofu. w23.05 14-15 ¶3-4
Lwakutaano, Okitobba 17
Mweyongere okutambula ng’abaana b’ekitangaala.—Bef. 5:8.
Twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu tusobole okweyongera okweyisa “ng’abaana b’ekitangaala.” Lwaki? Kubanga kizibu nnyo okusigala nga tuli balongoofu mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu. (1 Bas. 4:3-5, 7, 8) Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okwewala endowooza y’ensi ezingiramu obufirosoofo n’ebintu ebikyamu ebikontana n’endowooza ya Katonda. Ate era gusobola okutuyamba okukulaakulanya “obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.” (Bef. 5:9) Engeri emu gye tuyinza okufunamu omwoyo omutukuvu kwe kusaba Katonda agutuwe. Yesu yagamba nti Yakuwa awa “omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Luk. 11:13) Ate era bwe tutendereza Yakuwa nga tuli wamu ne bannaffe mu nkuŋŋaana, tufuna omwoyo omutukuvu. (Bef. 5:19, 20) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gutuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda. w24.03 23-24 ¶13-15
Lwamukaaga, Okitobba 18
Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.—Luk. 11:9.
Weetaaga okweyongera okuba omugumiikiriza? Bwe kiba kityo, saba Yakuwa akuyambe. Obugumiikiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Tusobola okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu kituyambe okukulaakulanya ekibala kyagwo. Bwe twolekagana n’embeera etwetaagisa okuba abagumiikiriza, tusaanidde ‘okusabanga’ Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okuba abagumiikiriza. (Luk. 11:13) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Oluvannyuma lw’okusaba, tulina okufuba ennyo okuba abagumiikiriza buli lunaku. Gye tukoma okusaba Yakuwa atuyambe okuba abagumiikiriza, era ne tufuba okwoleka obugumiikiriza, ajja kutuyamba okubwoleka wadde nga mu kusooka tetwali bantu bagumiikiriza. Okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli nakyo kijja kukuyamba. Bayibuli eyogera ku bantu bangi abaayoleka obugumiikiriza. Bwe tufumiitiriza ku ebyo by’eboogerako, tuyinza okuyiga okwoleka obugumiikiriza. w23.08 22 ¶10-11